Kiwulikika kitya ng’osisinkanye omuntu omutuufu.
Omuntu asobola okumala ebbanga eddene ng’atomera abantu ab’enjawulo mu mukwano naye nga bonna bakyamu. Omuntu omukyamu asobola okulabika ng’omutuufu singa oba tewegendereza. Abantu bakweka ekyo kyebali naddala singa babeera balina kyebagoba.
Ekituufu kiri nti, libeera ssanyu na ddembe nga osisinkanye oyo bulijjo gwewetaaga. Abantu abamu basiiba mu makanisa nga basabirira kufuna bantu batuufu, oluusi nebesanga nga mukanisa mwenyinni mwebalonze abakyamu. Ebintu by’okwagala emirundi egisinga katonda akusasira busasizi.
Okusisinkana omuntu omutuufu mu kadde akatuufu kiwulirika nga kyabutonde ekitalimu kukaka. Temulinyumya mboozi nga nkake, muyinza n’okwerabira byemutekeddwa okukola nga muli ku ssimu. Omuntu omutuufu osobola omusisinkana ku myaka gyonna, era muli oyinza okitegeera nti ye taliwo kunnenya kwebyo ebitagenda bulungi mu biseera biri.
Omuntu omutuufu, mu kadde akatuufu, kiwulikika ng’ekirabo okuvva eri mu ba jjajja wo abaffa naye nga bakufaako. Olunaku lw’osooka okumusisinkana, oba emboozi gyemusooka okunyumya, kikumala okugamba nti wewawo!
Ng’ovudde kwebyo byonna, waliwo obubonero bwosobola okulabirako ng’osisinkanye omutuufu, era nga tolina kububusa maaso. Ngenda kuwako bwendowoza nti busobola okukuyamba, ate nawe kwonegatira obubo okusinziira ku ki kyowulira.
1. onyumirwa okumuwuliriza singa abeera alinako kyagamba.
Kisoboka okuba nti tokiriziganya na buli kyayogera, naye ate obeera oyagala okuwulira ku ndowoza ye. Musobola okubeera ne ndowooza ez’enjawulo ku intu ebimu gamba nga omupiira, eby’obufuzi, eddiini, n’ebintu ebirala bingi, kyoka nemusigala nga mweyagala olw’ekyo kyemuli. Omanyi lwaki kiri kityo? Kubanga okwagala tekitegeeza kukiriziganya ku buli kintu buli kadde.
Mwandibeera ng’omu awagira langi ya kyenvu ate ng’omulala awagira myufu, ekyo tekisobola kubasanyawo. Omukwano gwamwe munywevvu kubanga tegulimu bukwakulizo bwonna. Obutakiriziganya bwamwe musobolera ddala okubugonjoola, ate nemusigala nga muli basanyufu na buli omu kyayita nti ky’ekituufu.
2.Okulowooleza okumu.
Kiwulikika nga ekitasoboka? Nkitegeera. Naye amazima gaali nti, bwosisinkana omuntu omutuufu bingi bisoboka. Olw’okuba ng’emboozi tebeera yakukaka, mubeera mwetegeera era nga munyumirwa buli kadde kemumala mwembi. Musobola okubako kyemunyumyako, ogenda okuwulira nga oli ayogedde ekyo kyenyini kyobadde ogenda okwogera. Kiri kityo kubanga ebibagata bibeera bingi okuviira ddala kumpulira zamwe.
3. Kizibu okubulwa eby’okunyumyako
Emboozi eyinza okuvva ku kintu kyonna. Musobola okufuna akasirikiriro, naye emitima jisigala jinyumya. Obudde nga mulina nebwemutabeera na mulamwa, musobola okutandikira ku bazanyi b’omupiira ne muwunzikira ku lufuula gyebasalira endiga. Kizibu okubulwa eby’okwogera ng’oli n’ontu wo omutuufu. Kyangu okufuna emboozi enyuvvu kubanga obeera oli ne mukwano gwo asingayo.
4. Kyangu okuzuula ebinyiiza oba ebisanyusa omuntu wo.
Teyewulira bulungi ku makya gano? Mukwano gwange wano tewamunyumidde? alina ebimusumbuwa? Bwoba osobola okumanya enewulira ya mukwano gwo wadde nga talina kyakugambye, kiriza nti oli ku katuufu. Totekeddwa kulowooza oba kweralikirira nnyo olwokua tomanyi kisumbuwa muntu wo. Obeera wakitegedde dda, kubanga olina engeri jobeera oyungiddwa ku bulamu bwe. Ekisinga obukulu, obeera omanyi engeri y’okumuleteera okuwulira obulungi wadde ng’alina ebimusumbuwa.
5. Okwegaddanga kusuka ku kya bulijjo.
Temutekeddwa kumala kiseera kiwanvu, kukozesa maanyi mangi oba kukola bitakolebwa nga, ekikulu kya kuwulira ekyo kyotawulirangako. Omusajja wamanyira nti yandiba nga ye gwe, kwekuba nga asobola okubeera nawe mu ngeri jatabeerangako na muntu mulala. Ng’omukyala, okwegaddanga kusobola obutakoma ku kubeera kulungi, naye okuwulira ng’oli n’omuntu omwegendereza afaayo gyooli.
Ng’oli n’omuntu omutuufu mu kadde akatuufu, okuwulira obulungi kutandikira mu mboozi ne kutuuka mu buliri. Omuntu omutuufu kirabo kyotekeddwa okwebaza buli kaseera.
6. Tosobola kwesigaliza byaama ng’olina omutuufu mu bulamu bwo.
Osobola okubeera ekitabo ekibikule eri omuntu wo nga tosobola kubako kyomukisa. Olw’okuba muyina ekibagata ekisinga ku kya bulijjo, tobeera na nsonga lwaki ebimu obyesigaliza. Wali olabyeko amaka nga buli omu alinga mbega wa munne? Babeera wali wakyamu mu kadde akatuufu.
7. Abeera mukwano gwo nfa nfe.
Bwosisinkana omuntu omutuufu okitegeera, kubanga obeera ng’azudde mukwano gwe munsi yonna. Ng’otandikira ddala ku mboozi, buli kadde komala n’omuntu oyo kabeera kanyuvvu awatali kuwuubaala. Afuuka mukwano gwo nnyo, jobeera nti mumanyiganye kuvva buto. Tebereza okuwasa oba okufumbirwa mukwano gwo nfa nfe!
8. Ng’olina ebikusobedde ye muntu asooka okukujira mu bwongo.
Ng’afunye olunaku oluzibu gamba ku mulimu waliwo ebitagenze bulungi, muli akiwulira ng’atekeddwa okubulirako. Kino tekitekeddwa kutegeeza nti wa kyejjo nnyo,naye olw’okuba nti oli katundutundu ku bulamu bwe, muli awulira nga gwe muntu asobola okumutegeera.
Era kino kitegeeza nti akwesiga okusinga omuntu omulala yenna. Takusubira kumalawo kizibu kye naye asubira okuwulira ebigambo ebimuzaamu amaanyi awatali ku munnenya. Omukwano bweguti simwangu kuzuula era singa oba omusisinkanye, bambi tobaamu kwebuuza bingi.
9. Wabeerawo akasirikiriro ak’emirembe.
Nga mwatondebwa kubeera babiri, tekikwetaagisa kupalapalanya na mboozi etaliyo. Wadde nga bwemubeera ababiri kyangu okufuna emboozi, tekitegeeza nti temusobola kubeerawo awatali mboozi. Musobola okubeera awamu naye nga buli omu asoma katabo kake. Musobola okumala akawungeezi kamwe mu miti emingi buli omu natambuza ebirowoozo.
10. Kiwulikika ng’okusisinkana omuntu asembayo.
Obulamu si bwangu. Okutandikira ku kusoma, kufuna mulimu, kutondawo nkolagana nnungi ne bazadde bo, kunyumirwa bulamu bwo, byonna si byangu. Bwosisinkana omuntu omutuufu, owulira ng’obulamu bujjuvvu.
Nebwosisinkana ebizibu ebikuyuuya mu bulamu, obeera mumativvu ng’omuntu wo ali ku ludda lwo. Era obeera mukakafu nti talikuleka ka kibe ki. Ensi esobola okukwefulira naye ye abeerawo buli kadde.
Nfundikira nga nkubuuza nti, “wasisinkanye omuntu oyo?” Bwolimusisinkana, ojja kukitegeera munange. Obubonero bungi kwosobola okulabira nokiriza nti y’ono. Topapa kusalawo, gumikiriza buli kimu kijja kwekola kyokka.