• November 21, 2024

Lwaki abaali abagalana bawanyisiganya ebisongovvu?

 Lwaki abaali abagalana bawanyisiganya ebisongovvu?

Naku zaluberera, mu bulamu obwa bulijjo, tulaba abantu bangi ng’oluvvanyuma lw’okwawukana n’abaali abagalwa baabwe, ate bukyaayi bwebubalukawo. Abantu bano batabuka nebatuuka n’okwerangira buli omu kyasanze.

Ku luuyi lw’abakyala, oluba okwawukana n’omusajja gwabadde ayagala, olwo lwamulangira obutamalako, era mbu ewuwe abadde yegamyeyo nkuba. Abandi batuuka n’okutuuma banaabwe amannya agasomooza. Gwensembyeyo okulaba n’agange, yabatiza eyali bba we erinnya “basajja kubula.” Nga mu bufunze, ensonga eyali emusibye ku musajja oyo, lwakuba yali tanafuna musajja mutuufu.

Ku ludda lw’abaami, nagwo bwegutyo. Bwosanga omusajja omugwenyufu eyanaaba ensonyi ku maaso, omulangira akulangira; olumulangira obutamalako, nga naye akutuuma erya ab’olugavve (Nabukalu) mbu newa ssenga tewalinnyayo kigere.

Jjuuzi nina benalabiddeko ddala nga buli omu alangira munne kino nakiri. Olwo nno nga babadde bafumbo aberinamu n’abalongo. Muli newebuuza nti abalongo bagula bagule mu dduuka? Gwe ate munange, omukazi nti kasajja gwe tomalako. Omusajja nti eee, nawe obadde wakalanguka nnyo; kakazi gwe nkuwonye nyabula. Byonna oleka nonyeenya mutwe, kubanga bibeera bya mpuna.

Watu awo wenkubuliza gwe omusomi waffe, nti nga gwe walikomye wa mu kuwanyisiganya ebigambo n’abadde omwagalwa wo, oba muganzi wo? Ddala omukwano gwamwe bwegubeera guyiise nga tegukyasobola kuddawo, kya buntu okwatulira munno ekikubadde ku mwoyo okumala ebbanga lyonna lyemumaze nga muli mwembi?

Ekibuuzo:

Lwaki abaali abagalana bawanyisiganya ebisongovvu, oluvvanyuma lw’omukwano okuyiika?

Mukwano, kozesa akabangirizi akali wamanga (comment section) tukubaganye ebirowoozo ku nsonga eno.

Webale!

Digiqole ad

Makanga Abubakar

https://gpraxy.com

Related post

12 Comments

  • Naye nze ndowooza nti ssi kyampisa, era ssi kyabuvunaanyizibwa abantu ababadde bakolagana mubuli kimu okutuuka ku ssa eryokuwaanyisiganya ebisongovu
    Yadde okunyiiga kubeerawo, naye ate asirise teyejjusa
    Lowooza nnyo ku bantu ababalaba nga mwelangira ebisongovu mulujjudde, kale kibeera kyabuswaavu nnyo ddala
    Musobola okwogerezeganya mwembi nemulaba oba mutuuka kunzikiriziganya
    Wabula ensonga bweziba zigaanye kuba kyabuntu ,
    Mwawukane mubulungi mukuume ekitiibwa
    Kuba tomanya, ensi madaala,…..
    olimutunulako otya nga muzeemu okusisinkana
    Asirise teyeyejjusa…..! eyo yendowooza yange

    • Makula.
      Nkulamusizaako. Nyooo.
      Kati kanzire emasaka ntereze
      Byoona.
      Abe luweero oba ndabira

      • Abe Masaka nange obandabira. Hahaha

    • Muli ndowooza nti ekireeta ekyo kwekuba nga tewaliwo mukwano mu kusooka nga batandika enkolagana yabwe. Tebereza oli okulangira munne buli kyasaanze nga kwatadde n’okuwayiriza, kuba tayagala kusemba nakyo!
      Ate nno kikwewunyisa nga babeera balina n’abaana abatagenda kuvvaawo.
      Nga bwogambye, asirise teyejjusa.

    • Mbu babeera bagezaako kwemala ggoga
      Kyokka nga beerabidde nti abantu babalaba….

  • Kiba babeera balina memories nyijji

    • Kituufu, naye nze ndowooza nti kisoboka buli omu okusigaza memories ezo nemuteswaaza mu bantu.

  • Kuba babeera belinako memories nyijji

    • Naye nze ngamba nti memories (byebajjukira) musobola buli omu okubisigaza ku mutima nemwawukanira awo awatali kwanika bitanyuma mu bantu abalala.

  • Ekyo kiviira ddala kuntandikwa yo mukwano gwamwe.
    Emboozi zemwanyumya NGA.
    Mu kino nandikuwa ekyokulabirako NGA abantu abekwana NGA ate bwebageya bebagadde ko oba abo bebavuganya, ekirala ne mu kwefuna ebiseera ebisinga bakozesa nyoo olulimi olwo kwesoma koo nolwo olwewanikiriza.
    Kati bagenda okugwa mukwano NGA guliwo lwa bigambo ebyo bulimba saako nebyo ebyo busungu bye bavumaganyisa aboo bebali bagadde ko.
    Nyumiza nti mwe bwe muli nyiga gana temwelangire NGA kuba nokwematiza okwagalana wasooka kuvuma na kulangira Bali abasooka.

    • Kyogamba nti omusingi gw’omukwano kikulu mu kusalawo ebiyinza okuddirira mu maaso!? Awo mba nkufuna mwatu.

  • Bubeera busiru just.

    Nga lwaki nnyonoona obudde bwange mbu nkulangire byenali nagumira!? I just keep quite gwe noyatika wekka. 😂

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *