• November 21, 2024

Lwaki abantu bafa?

 Lwaki abantu bafa?

kufa

Awatali kubuusabuusa, nzikiriza nti katonda gyaali. Nga sesigamye ku byawandiikibwa, njagala kuddamu ekibuuzo ekyo wagulu nga nsinziira ku butonde bw’omuntu. Abantu bafa kubanga balina okufa. Okufa kya butonde nga n’okuzaalibwa bwekuli okw’obutonde.

Obulamu n’okufa.

Wano ku nsi tuliko ebitonde bingi. Ebitonde ebirina obulamu n’ebitalina bulamu. Abantu twatondebwa mu ngeri yemu n’ebitonde ebirala byonna ebirina obulamu. Kale wakiri tufaanaganya ebintu bisatu mu bulamu. Tuzaalibwa, tuwangaala, era ne tufa. Buli kitonde kitegeerera mu butonde bwaakyo. Enjawulo gyetulina eri mu ngeri gyetutuukirizamu ebintu ebibiri ebisooka; kuzaalibwa n’okuwangaala. Omuntu bwazaala, ate omuti si bweguzaala. Enkoko bwezaala ate embuzi si bwezaala. Omuntu bwawangaala ate enkoko si bwewangaala. mu butuufu ebitonde byonna birina enjawulo mu buwangaazi bwabyo n’okuzaalibwa kwabyo. Okufa ky’ekintu fena ebitonde kyetufaanaganya. Ffenna bwetufa, tubeera tetukyaliwo.

Nga bwenkugmbye wagulu, okufa kya butonde. Nga nvudde ku bitonde ebirala, obulamu bw’omuntu buyitira mu mitendera esatu. Kuzaalibwa, kuwangaala, n’okufa. Omuntu talina buvunaanyizibwa ku mutendera ogusooka mu bulamu bwe. Omuntu teyesalirawo ku ani ateekeddwa okumuzaala. Emitendera ebiri egiddako, buvvunaanyibwa bwa muntu ssekinnoomu. Eyo y’ensonga lwaki omuntu asobola okusalawo ku ngeri ki gyalina okuwangaalamu oba biki byalina okuwangaaliramu. Era bwegutyo, omuntu asobola okusalawo okwegya mu bulamu bw’ensi. Ebyo byebagamba mbu katonda bwatyo bweyamuteekerateekera, nedda. Katonda tavvunaanyiziwa ku biki byosalawo okukola oba okwekola.

Obulamu kye ki?

Obulamu bwe bulamu. Bibuzabuza? Kituufu. Kale obulamu katubuyite omuka, omusaayi, okutegeera, okuwulira, okwogera, okulowooza, okukola, okufumitiriza, n’ebirala byonna omuntu byakola ng’akyassa. Obulamu kintu kinene era kya muwendo, naye ate okufiirwa obulamu tekitwala na ddakiika. Omuntu asobola okufiira wonna wabeera ali. Omuganda kyeyavva alugera nti “olumbe musolo, werukusanga woguweera.” Omuntu okufa abeera takyalina bulamu, abeera takyaliwo. Kati lwaki omuntu alina okufa?

Omuntu asobola okufa ku lw’ensonga eziwerako. Naye ate zonna zisobola okuzingirwa mu bintu bibiri. Omuntu asobola okufa, kubanga omubiri gubeera gukooye. Omuntu asobola okufa olw’ebigwa tebiraze kiyite entuuko. Omubiri gusobola okukoowa omuntu nafa? Iyeee.

Abantu abasinga bafa kubanga omubiri gubeera gukooye. Omuntu okulumbibwa endwadde enyingi oba ez’amaanyi, kikooya omubiri. Abantu abamu balowooza nti omubiri ogukooye gwe gw’omuntu akaddiye. Omuntu asobola okubeera omuto naye ate omubiri gwe negukoowa olw’ebyo byabeera ayisemu. Kino njogera mazima ddala, ojja kusanga omuntu ow’emyaka 20 ng’alinga owa 38. Ate osaange owa 50 ng’alinga owa 26. Kino kiri kityo kubanga tuyita mu mbeera za njawulo.

Omuntu ayise mu mbeera ezitalimu kukakkalukana, kulwala ndwadde nkambwe, kweralikirira, nga alya bulungi awamu n’okunywa ekimala, awatali kubuusabuusa omubiri gw’omuntu oyo gusigala guli bulungi wadde ng’emyaka gibeera gigeenderedde. Omuntu okukula mu myaka tekitegeeza mubiri gwe kukoowa. Gwe lya bulungi, webake bulungi ate mu budde, ebikweralikiriza tobiwa budde, genda mu ddwaaliro buli lw’owulira obubi, goberera amateeka g’abasawo singa obeera olagiddwa okubako kyokola, mu butuufu omubiri gwo togukubako njawulo ng’ogukulusanya, ojja kubeera wa mulembe era owangaale ekimala.

Omubiri ogukooye si mwangu gwakuwaliriza kubeerawo. Gutuuka ne gukoowa nga gwagala kuwumula. Obulamu obulungi bubeera mu mubiri omulungi. Tukitwaale nti tetumanyi bulamu gyebulaga wadde okuvva, naye ate emibiri gyaffe tugivvunaanyizibwako 100 ku 100. Ensobi zetukola, kwe kwekubako enjawulo. Omuntu omusanga yeyisa ng’atayagala bulamu. kyoka mwatu ate ng’abwetaaga.

Abantu abalala bafa olw’ebyo ebigwa tebiraze, kiyite entuuko. Kituufu waliwo abantu abafa nga tebanatuusa. Abamu bafa lwa bulagajavvu bwabwe, abalala bafiira bwemage. Abantu abafa obulagajavvu, bebo abakola ebintu ebiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga k’okufa. Lowooza ku muntu akeera nayingira Kiyiira mbu ye ayagala kuwuga. Omuntu oyo abeera azanyisa bulamu bwe. Nze nyinza n’okugamba nti abeera tateeka kitiibwa mu bulamu bwe. Kale wadde obumanyirivvu bubeerawo, naye jjukira nti n’ennyanja etta muvvubi. Era nkusaba olowooze ku muvvubuka agenda mu kwekalakasa okw’ebyobufuzi. Alaba abaserikale bakuba amasasi, kyoka ye aleeta buleesi mubiri ogutali kyuuma. Amazima ajja kukubwa amasasi afiire abewaabwe. So ng’ate, waliwo ne bano abafiira mu bintu byebatategeddeko. Lowooza ku muntu abadde atambula ng’ayita e Bwaise, waliwo abali mukwekalakasa, ye ali ku bibye atambula, essasi nerivva eri nerimukuba mu butanwa era nafa. Omuntu oyo abeera afiridde bwemage.

Waliwo mukwano gwange omu nabadde njogerako naye, nemubuuza nti “wamma gwe olowooza lwaki tufa?” Yambuuziza nti “kati lwaki oyogera ku kufa?” Namusekeredde. Okufa kwa butonde era teeka eri yenna eyazalibwa. Osobola okwewala okwogera ku bikwata ku kuzaala era notazaala. Osobola okugaana okugenda mu ddwaaliro nga olwadde n’okendeeza ku buwangaazi bwo. Naye mazima nkukakasa nti nebwoligaana okwogera ku kufa, nogaana okumanya ku biki ebibaawo omuntu ng’afudde, era ojja kufa. Abantu bangi batya okufa. Nange kenyini, kuvva buto nga ntya nnyo okuwulira omuntu afudde. Naye ensangi zino, amazima si kyatya nnyo kufa. Ng’ogyeko nti abaana bange bakyaali bato, okufa wekugyira libeera ddembe. Obeera omaliriza emirimu gyo.

Waliwo omuwendo mungi ogw’abantu abalowooza nti omuntu tafa ng’ekiseera kye tekinatuuka. Eyo ndowooza ya kitumbaavvu. Ate bwegutuuse ku bataputa ebyawandiikibwa, abantu bangi abawubisiddwa. Kale nebwekiba nga katonda yavvunaanyizibwa ku bulamu bwafe, talikeera ku makya nagamba omuntu nti “genda wesule mu nnyanja oba nnywa obutwa”. Oli nasalawo okukozesa omubiri gwe mu ngeri yona gyalabye, mbu nebwoyenda, nebwobuuka okuva ku kizimbe ekiwaanvu, newesuula mu luguddo lw’egali y’omuka, okufa tekuliyita linnya lyo nga ekiseera kyo katonda kyeyakutegekera tekinatuuka… hehe.

Okweyisa mu ngeri ekooye obulamu; okuvvuga obubi, okugaana okugenda okugenda mu ddwaaliro nga bukyaali singa obeera olina obulumi bwonna, okwekatankira ebirgalagala, bireetedde bangi okuserengeta ezirakumwa. Waliwo abantu abanywa omwenge nebakisusa. Omwenge si mubi, abagunywa bebabi. Nzikiriza nti Jjajja wa gundi yandibadde akyaali mulamu, singa yali tanywa mwenge gwa kisiru okutuuka okwegobako abantu bonna awaka. Yagoba abakyala bonna, nagoba abaana, nagoba abakozi beyalina awaka, anti nga buli lwanywa omwenge, abasuza bweru. Lumu yanywa omwenge nadda awaka, nayingira enyumba ye neyesibiramu ate ng’atamidde nnyo. Olumbe lwamukwata mu kiro ng’ali bwomu mu nju, nabulwa amuwa obuyambi. Omukyala eyali akeddewo yeyamuwulira nga alajanira mu nju nakuba enduulu. Bamenya enziji okumutuukako mu kisenge, basooka kulowooza nti njala yemuluma engeri gyeyali asuze nga anywedde ate natafuna mere, naye amazima kyaali kikerezi jjajja wa gundi yafa. Nkulaga kino nti singa yali tanywa mwenge bwegutyo ogwamugobako abantu, oba oli awo nekakati singa waali. Anti nebwekyandibadde kirwadde, yandifunye obuyambi mu budde. Ssente ze yalina eziwera, naye olw’okuba yali anywa omwenge mu ngeri etasiima bulamu, kyamuvviirako okufa nga tanatuusa oba oli awo.

Abantu abalala babakebera nebabasanga n’endwadde ez’amaanyi, gamba nga kansa, sirimu,….. nebagaana okumira eddagala oba okugoberera amateeka g’abasawo. Abalala babagaana okulya oba okunywa ebintu ebimu kulw’obulamu bwabwe, okugeza omusawo asobola okugaana okunywa omwenge, gwe nogulemerako nga owoza kimu “oba kufa nga nfa “anti katonda bwabeera yantegekera“. Ojja kufa bibyo nga katonda tabirinamu mukono.

Abantu abamu bazanyisa obulamu mu ngeri ekulowoozesa nti babeera babukooye. Owa bodaboda agenda neyenyigiriza wakati w’emotoka, nolabira ddala nga bagenda kubanyigira wakati. Amazima si kibi okusalinkiza kubanga nange mbeera njagala kutuuka mangu, naye si kutuuka nga ndi mulambo. Obulamu mbwetaaga n’okusinga kyenyiinza okukunyonyola. Era tewali kya muwendo nga kuwangaalira mu mbeera ennungi.

Ku bubenje obutuukawo mu nsi yonna, butono obutavva ku nvuga mbi. Oli nakola efujjo lyonna ku kidduka mbu kubanga ye mumanyi, olumala ng’afuna akabenje ng’afa, olwo nga bawoza “ezo ntegeka za katonda” ebya wa?

Okufa lugendo lwotambula obw’omu.

Nina ab’enganda, abamanye, n’abemikwano bemanyidde ddala nga bandibadde balamu singa tekwaali kufuweeta sigala oba enjaaga. Okunonyereza kwakolebwa emabega nekulaga nti abantu abafuweeta, balina emikisa mingi egy’okufuna kansa, endwadde z’emitima, senyiga, akafuba, n’endwadde endala nnyingi nnyo ezirumbagana amawugwe okusinga ate abo abatafuweeta.

Era okusinziira ku kibiina ekikola ku by’endwadde (Center of Disease Control) Kigamba nti okufuweeta kututte obulamu bw’abantu bangi nnyo buli mwaka okusinga n’okufa okuvva ku sirimu, obubenje bwebidduka, okukozesa eddagala mu ngeri emenya amateeka, okuffa okuva mu kukozesa eby’okulwanyisa, byonna awamu nga obigase . Kitegeeza ki kino? Endwadde ezivva ku kufuweeta zitutte abantu bangi nnyo. Ekisinga okukwasa enaku, abantu bafuweeta kyeyagalire. Okunonyereza era kwalaga nti Amerika yokka, efiirwa abantu abakunukiriza 480’000 buli mwaka. Okunonyereza era nekulaga nti abantu abafa olw’okufuweeta mu nsi yonna, basinga abantu abafiira mu ntalo zonna Amerika zeyali yetabyemu. Okufa lugendo lw’otambula obw’omu nga tewali akuwerekera. Omuntu yenna ng’akozesa amagezi amazaale, bwomala okulaba okunonyereza okwo kwonna wagulu, okitegeera butegeezi nti okufuweeta kwekukyasiinze okutwala obulamu bw’abantu. Oli nanywa sigala kubanga yagufuula muzembu ye anyumirwa, kyoka ng’akimanyidde ddala nti kiteeka obulamu bwe mu katyabaga k’endwadde. Kati awo tolaba ng’abantu abamu bafa lwa kwesiruwaza nga nekiseera kyabwe eky’okufa kibeera tekinatuuka?

Ki ekibeerawo ng’omuntu afudde?

Kale tumaze okukiraba nti okufa teeka, wadde omubiri gwo gukooye oba nedda. Omuntu afudde akabenje, oluusi kikwetaagisa okukuba endulu, okuyita polisi ekuyambe, oba abasawo okukola okunonyereza ku ki ekituusewo.

Omuntu okufa kubanga omubiri gukooye, kyenjagala okwogerako. Amazima omuntu oyo asobola okufiira awaka we nga waliwo ab’enganda oba okufiira mu ddwaliro ng’ayambibwako abasawo.

Okufa kwa njawulo eri buli muntu nga bwekiri nti n’obulamu bwa njawulo ku buli muntu. Abantu abamu okufa libeera ddembe kubanga babeera bafunye okuwumula okwolubeerera nga tebaliddamu kusumbukana na bulamu bwa nsi obw’okusika omuguwa. Abalala wadde nga babeera bayita mu bulumi obuyitirivu, tebagalira ddala kuwulira kigambo kufa era nga kibakuba entiisa okutegeera nti kati y’essaawa. Abantu abafa nga batidde, bebo bosanga nga balwana, besuula eno neri, abamu bakaaba, abalala bakwata ababali okumpi nebabanyweeza okutuusa obulamu lwebwabulira omubiri. Abantu abamu bwebabeera bafa, baba tebakyategeera wadde okutegeera abo abababeera ku lusegere. Ate abalala batuusa kusa muka gusemba nga bategeera buli kimu, era ogya kukiraba nti abantu bwebati, batera okukulukusa amaziga olw’enyike, obulumi n’obutagaane mwebagendera nga balaba abagalwa babwe bebaleka.

Omuntu okufa asobola okuyita mu mbeera ez’enjawulo. Abantu abamu bazirika nga bwebadda engulu ate bweddamu okuzirika, bebo bobuwulira nti leero omulwadde azirise emirundi esatu. Ate abalala bazirika lumu nga lwa mugaaso nebatadda ngulu, okuleka okukutuka obukutusi. Okufa kwa ntiisa eri ab’enganda ababeera okumpi n’omuntu afa. Abantu abamu bafa bayayaana. Abalala bafa tebalwana nga bazikira buzikizi nga bwolaba akataala ka tadooba.

Okufa kwa ntiisa mu buli mbeera zekujiramu. Naye ekisinga obukulu kwekumanya nti kwa butonde, era nga teri alivva mu nsi nga takulozezako. Kintu kimu kyoteekeddwa okukola; weyise bulungi. Siima obulamu bwo mu mbeera zonna zewatondebwamu. Teweteeka mu katyabaga katwala bulamu bwo nga okyabwetaaga. Ebizibu by’ensi bingi era nga buli omu abiraba bubwe, tewegya mu nsi kubanga lumu oteekeddwa okugenda obutadda ate nga si gwe eyesaliddewo. Eri abakiriza mu byawandikibwa, essubi mulina ddene okusinga abatalina kukiriza. Okufa tekuteekeddwa kubeera kintu kimu kyolina okumalirako eborowozo, naye ate olina okweyisa ng’omuntu asobola okufa essaawa yonna. Wetegekere olugendo lwo. Tegeka boleka e mabega nga kikukakatako.

Nkwagaliza obulamu obulungi buli kadde!

Digiqole ad

Related post

7 Comments

  • Onjagaziza oluganda

  • Olambise bulungi ensonga.
    Webale nnyabo

  • Okufa kwo teeka nga bwoyogedde era ensonga zonna ozilambise bulungi,
    Wabula kyetututeekeddwa okuteeka mu nkola, omuntu offa naye ogenze otya??? Kuba ebyawandiikibwa bilaga nti waliyo obulamu obulala nga tuvudde mu nai muno naye ate abo abalibwesiimiramu b’ebo abakelera obulamu bwokunsi mungeri y’okweyisa obulungi
    Kubanga tewali amanyi ddi lwagenda okufa, nolwekyo tubeere bantu balungi eri bantu banaffe

    • Mazima ddala!
      Okweyisa obulungi omuntu kyeyandikulembeza mu ngeri eraga nti asiima obulamu.

  • Oh my dear owadiika oluganda

    • Anti era kyangu nnyo okulowooza n’okufumitiriza ng’oli mu lulimi lw’ozaaliddwaamu. haha

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *