Lwaki omuyisa nga gwotayagala?
Omukazi mayembe ga gaali bwogata nga weraga, ssebo ekivvaamu kigwo… Bwentyo nowange bweyansimatuka nakwata mu bbanga enkoona nenoga.
Fred Ssebatta
Olunaku luja kukya mu bulamu bwo ekintu kyotasuubira kituukewo. Omukyala oyo gwoyisa ng’atalina walaga akyuuse mu ndaba y’ebintu. Ajja kusiba omutima alekulire byonna byosuubira nti tayinza kubireka. Esaawa eno olabanga ekitasoboka, naye kijjakuluma nga kituusewo. Ojja kulowooza ku biseera byonna byobadde naye ng’omuyisa ng’ekyokutale nga tebikyaliwo. Ojjakulumwa nnyo okugenda kwe kubanga obadde omuyisa nga gwewasibira awo.
Kati muli ogamba nti nebwagenda tosalwa kubanga, abamufaanana bangi ate ng’abamu bamusinga. Kyaali tokiraba, okufaayo kwalina gyooli tokulaba, obuntu bulamu bwalina gyooli tobulaba, okwerekereza byonna ku lw’omukwano gwamwe tokulaba, olowooza talina bamulaba naye lwolitegeera nti abadde yeresa bweresa kigyakuba kikerezi. Ajja kuba agenze. Ajja kuba takyaliwo. Ajja kuba mupya mu byonna… Nga wewamumanyira yavvaawo dda.
Ojja kuzukuka mu buliri ng’omukyala oyo taliwo__ ng’oli bwomu bwanamungina. Oba olyawo omukazi ali obukunya agyakubeera awo okumpi nawe nga yebase. Ajja kuba alabika bulungi nnyo, nga mubalagavvu naye ojja kuba olumwa obwomu nga olina mubiri omutima gwagenda. Okubeerawo kwo kugya kuba tekukyalina makulu gyali. Omanyi lwaki? Kubanga wamujjolonga nnyo mu buli kyeyali akola. Okutoba kwe musobole okubeera obumu tewakulabawo. Ajja kukwabulira mu mwoyo, ate oluvvanyuma ne mu mubiri akulekewo. Ojja kuzukuka kikeerezi, ojjkunoonya omutima gwe nga tokyasobola yadde kutegeera kifo wagukuumira.
Ajja kusiba ebibye agende gyalisobola. Ojja kumala ebiro n’ebisiibo ng’olowooza ku mukyala ono. Omukazi yekka eyagumikiriza obujoozi bwo, omukyala yekka eyagumira okuyisibwa ng’atalina magezi, omukyala yekka eyafaangayo ku butya bwomalako nkunsaasaanya y’awaka wamwe. Ojja kutunulira ebintu byonna byeyatuusako engalo webuuze nti ani yamuteekamu omutimu ogubireka emabega. Ojja kumunoonya mu nkuyaanja y’abakazi abali mu nsi eno naye nga talabika….
Ekirungi nti amazima ogamanyi bulungi era gagya kumalako emirembe n’essanyu likubule. Kubanga amazima gali nti ‘tolifuna mukyala amwenkana’ era, okunoonya kwo kwonna kugya kugwabutaka.
Teri muntu atukiridde! Omukyala ono teyalina byonna naye yali wamulembe okuvviira ddala ku ndaba ye ey’ebintu. Mu butali butukirivvu bwe yagezangako okukola kyonna ekikukuuma gwe naye_ tewabiraba.
Omukyala ow’omulembe. Ojja kutambuza ebiroowozo omujjukire wegombe okumulaba mu kateteeyi ke aka kiragala. Akateteeyi kewanyumirwanga okumulabamu wadde wali tomugamba. Akateteeyi akamukwatanga obulungi ng’onyumirwa enkula ye. Ojja kwegomba okuddamu okumulaba wadde kagube mulundi gumu bweguti. Muli ogya kwegomba okuddamu okuwulira akaloosa keyekubanga wadde nga kaali ka layisi, naye yeyali akalina yekka. Byonna ogya kubirowooza nga tebikyasoboka; nga byagenda, byayita.
Yagenda talidda! Ojja kujjukira ensonga ezamuviirako okugenda. Ojjukire byonna byewamukola. Ogya kwevvuma obusiru, naye ekyo tekijja mukomyawo. Ojja kujjukira amaziga geyakaaba ng’akwegayirira mutaase omukwano gwamwe n’amaka obutasasika, byonna nga byakuyita kutwe. Emikisa gyonna gyewalina ng’akuli kumpi, emirundi gyonna gyeyakwegayirira obutamulumya, emirundi gyonna gyeyakugamba nti si musanyufu ne byokola, ojja kujjukira by’ekisiru byonna byeyakola wakati mu kusanyusa ng’omulaba nga akwesibako obwesibi. Ojja kwenenya wekka nga tebikyayamba kubanga yagenda obutadda.
Ebiseera ebimu ojja kwegomba nti kale singa kisoboka okukyusa obudde nenziramu okumulaba, ne ntunula mu maaso ge agajjudde obwesigwa… Ojja kwegomba nti kale singa kisoboka okuzaayo obudde emabega ne mulaga okwagala kweyali ayayaanira okuvva mu ntandikwa.
Ojja kubuuza mikwano gye ku butya bwaali, era ng’oyagala okumanya embeera jjaalimu okuvva lweyavva ewuwo. Muli ojja kwegomba nti kale singa naye ansubwa nga bwemusubwa… Naye ng’okimanyidde ddala nti talina kyakusubwako.
Ojja kukifuna bulungi muli mu gwe nti yagenda talidda_ nti ali bulungi nnyo era nga talina kalungi konna kajjukira wuwo. Kijja kuluma okuwulira nti alina omusajja omulala amwagala byotasobola kumwagala; omusajja eyategeera, omusajja omusufu amwagala awatali kweyisako…. Omusajja amusiima mu kalungi kakola.
Ensozi tezisisinkana naye abantu basisinkana! Lumu ojja kusisinkana omukyala oyo awantu. Ajja kuba yenna alabika bulungi. Amaaso ge nga gaayakayakana; nga tegakyalimu kutya kwonna nga bwegwali mu biseera weyabeerera ewuwo.
Taliddamu kubeera wuwo! Omwegomba naye takyalina yadde akatono bwekati kawulira gyooli. Ojja kukitegeera nti yakumala yakunaaba, era nga tokyalina kyotegeeza gyaali. Ki kyoteekeddwa okukola okuvva mu bino byonna? Muleke agende. Okusookera ddala bwaali bulagajjavvu bwo, yakwesibako natuuka wakoma. Kiriza ensobi zo ate oziyigireko osobole okutandika obulamu obulala_ oba olyawo ojja kufuna omulala.
Wandekangawo n’ogenda, ng’olowooza tebinuma! Nenkugambako noyomba.. Kale olabye, walekawo nze eyali amanyidde embeera zo, olikyejjusa
Muyimbi
Lwaki yagenda?
Kale wandiba okyebuuza nti lwaki yakuleka!? Ensonga nnyingi omukyala kwasinziira nasuulawo buli kimu kyakoleredde ebbanga oba kyabadde ayagala ennyo. Wammanga nkuwaddeko ezimu.
- Yagenda lwakuba yali akooye okwesibako. Wamulaga nti talina makulu gyooli nga buli kadde omukwano atayiza mutayize, yatuuka nabikoowa era nakwatamu ebibye.
- Yagenda lwakuba yakizuula nti nebwalikola ki toli musiima. Akoze buli kimu ng’ayagala afune omutima gwo, naye byonna nga weyisa nga byotalaba…. Yakoowa nagenda.
- Yakunoba ko nagenda kubanga yali amaze okukitegeera nti wayawukana dda ku musajja gweyayagala. Mu kusooka wamulaga kirala ekyamuwaliriza okukwagala naye kati wakyuka.
- Yagenda lwakuba yali akooye obujjoozi bwo. Omuntu jjakoma okugonda olw’okuba akwagala nnyo, ate bwatuuka okukoowa akoowa bubi nnyo nasalawo asuulewo buli kimu.
- Yasalawo okuvviira kubanga mu kaseera akamu yawulira nga akwesiibako okusobola okubeera omusanyufu nawe, ekintu ekitavvamu kalungi nakitegeera nti essanyu tebalikaka.
- Yagenda kubanga yakitegeera nti ebirubirirwa bye, ebirooto bye, n’okutya kwe mulamu, nga byonna byaali tebikukwatako… Wamuleetera okuwulira nti buli kimu alina okukiyitamu yekka wadde nga mwaali babiri.
- Yakulekawo nagenda kubanga yali akooye katemba n’enyombo zo ezabuli kakedde. Wandiba tewamutulugunya ku mubiri naye wakola kya maanyi okukyankalanya entegeera ze.
- Oluvvanyuma lw’okukitegeera nti omukwano gunzimbibwa babir, yali takyasobola kubeerawo nga gwe buli kimu wakisuula muguluka.
- Yakuleka nakwatamu ebibye kubanga yali amaze okukitegeera nti tolireka bakazi balala. Obwenzi bwo kyewayita okusajjalaata yatuuka nabikoowa nga sikulwa omuleteera endwadde… Ng’ovvudde ku ky’endwadde, yali akooye okutwalibwa ng’atali wa mugaso gyooli era nga tolifuuna byonoonya mu bakazi abalala mu ye yekka.
- Yasalawo okuleka oluvvanyuma lwokukizuula nti yali yetaaga okubeera n’omuntu omutuufu gyaali. Yali akooye eby’okukwesibako nga yetaaga omuntu alimusiima mu byonna. Era yakuleka ng’amaze okukitegeera nti si ye mukazi gwoyagala era nga tolimwagala nga bwakawagala.