Lwaki tulumya abo betwagala?
Omukwano muzannyo ogujjudde katemba. Emirundi egisinga twesaanga tulumiza abo betufaako ennyo ssi lwakuba kyetubeeera twagala, naye olw’okuba tuba tetumanyi muntu oli omulala kyagenda kulowooza.
Abagalana omu agenda nafuna ekimuluma ku munne, naye nasalawo okukimira nga tayagala kukigamba muntu we, olw’okutya okumufuna obulala. Kankuwe eky’okulabirako ekya Irene ne n’omulenzi we Ken, Irene alina mikwano gye nfa nfe beyalina nga tanafuna Ken. Mu mikwano gye mulimu ku balenzi abalabika obulungi ddala. Irene olumu amanyi okugaana okusisinkana Ken kubanga aba agenda wa mikwano gye giri emirala, nga takikola mu bubi amala kumutegeezaako.
Ken yesaanga mu mbeera y’okulowooza nti oba oli awo nga Irene alinamu omulenzi ku egyo mikwano gye. Irene tamanyi ndowooza ya Ken, ye alowooza nti bali kimu kumbe Ken buli lunaku olukya ayongera kumukubamu bituli, nga tamulabamu bwesigwa nti yandiba buli kimu amulimba. Ken alina n’endowooza nti watya nga Irene amukongoza kigere ng’ali ne mikwano gye!
Ku luuyi lwa Irene, ye alowooza buli nti kimu kitambula bulungi, era nga musanyufu okufuna omusajja amutegeera.
Omukwano gwabwe guli mu katyabaga olw’okuba Ken essaawa yonna amwabulira mu birowoozo ne mukwagala… Olaba omukwano bwegumyeka olwa Irene okukola ebintu byatasuubira nti bisobola okulumya Ken!?
Nkuwadde eky’okulabirako ekya Irene, nga njagala kukulaga nti olumu tukola ebintu mu butali bugenderevvu naye netwesaanga nga tulumiza abo betutwala ng’ekyomuwendo mu bulamu bwaffe!
Wanno wenzijira n’ekibuuzo eri gwe omusomi waffe, nti nawe tuwe endowooza yo eyinza okuba nga yevviirako embeera eno.
Ekibuuzo:
Omuntu omwagala nnyo, naye okola ebintu ebimulumya! Ddala lwaki tulumya abo betwagala ennyo?
1 Comment
Olumu tulumya betwagala nga tetugendereddde ….. ebya ddala omuntu gwoyagala tosobola kumulumua nga ogendereddde…… nayenga ogyeeko ebyo ,ekyokulabirako kyowadde kirungi nnyo naye nze ndowooza obutalumwa nnyo k nsonga ye mikwano …… Ebintu ebimu muba mulima okubyogerako nga mwakatandika omukwano gwamwe…. omwagalwa wo n’akimanyako nti omuntu wange kino ne kino tabyagala…. emikwano mirungi naye ate olumu gikola ebinyiiiza nolwensonga Eyo bwemuba mu kyogeddeko mu ntandikwa kiba tekibakosa