• July 3, 2025

Mpola mpola omukwano gwaffe gwasaanawo.

 Mpola mpola omukwano gwaffe gwasaanawo.

Mu kusooka twalina omukwano ogwegombesa abalabi, naye gyebyagwera nga twanjala ngalo. Tekyaali nga kubundugula mazzi wansi, naye kwalinga kunuuna swiiti okutuuka lwagerawo ddala. Okwawukana kwaffe kwaali kwa bulumi, era muli ngamba nti kale singa kwagwawo bugwi!

Kyatandika nakuwulira mirembe omu nga tali na mune! Okuyayaanira omukwano okwaalinga wakati waffe kwagenda kubula okutuuka lwekwagerawo ddala. zijjukira muntandikwa nga omu tasobola kulya omulala nga tanakomawo, naye byakyuuka ng’okomawo olidde era nga nange olussi osaanga maliriza kulya. Tetwakifaako kubanga twaali tulowooza nti kya bulijjo mu mukwano, naye ssi bwe gwali.

Okwekubira amassimu kwakendeera, n’obubaka obusindikibwa nabwo nga tewakyaali. Tetwakirabamu buzibu, naye amazima omukwano gwaali gutuvva mu ngalo. Obwesigwa buli omu bweyalina eri munne bwaggwawo ku lunaku lwenawuliriza obubaka Aidha bweyakuwereza mu ddoboozi. Nakaaba naye nenkireka nga ndowooza tekirina makulu kubanga twaali tusula wamu, kumbe omutima gwange gwaali gufa gyooli.

Wanva mu birowoozo mpola mpola, nange nenkuva mu ngalo nga totegedde. Buli kimu twakitwala tutyo, nga tewakyaliwo afaayo eri munne na biki byakola, nabeera nga ku ssimu nga nyumya n’emikwano gyange, nga nawe bwotyo onyumya n’egigyo. Ekisinga obulungi oba obubi, twaali tetukyakayana wadde okwemulugunya ku munno, anti nga tewakyali kitukayanya, kubanga buli omu yali yemalidde ku bimutwala mu maaso ng’omuntu ssekinnomu.

Omukwano gwafa, era olumu nagira nga nenkirowoozako nga naye kiruma okukira ebbwa eddene, nange nasalwo okwefuula atalaba kigenda mu maaso wakati waffe, bwegutyo entaana y’omukwano gwaffe nesimwa. Okwawukana kwaffe tekwaali kwa kwevuma nakwerangira bisongovvu ng’abasinga bwebakola, okwaffe kwaali kwa mirembe nga tetumanyi gyebigwera.

Twava mu kiti ky’abagalana netufuuka abagwiira ababeera awamu nga buli omu tamanyi lulimi lwa munne.Ekiseera kyatuuka nga buli omu ateekeddwa okukwatamu ebibye agende gyayagala, gyasuubira emirembe n’omukwano…. Naye ne kati nkyebuuza nti lwaki tetwatuula netukyogerako nga abayivu bwebakola!?

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *