• July 4, 2025

Mu mukwano kya teeka okweguya munno?

 Mu mukwano kya teeka okweguya munno?

Kambayise mu bufunze, wali obaddeko mu mukwano, naye ng’omuntu gwoliko alabika mukoowu?

Nga nebwomwekubako akussamula bussamuzzi eri, mbu obudde bw’okutijja tabulina! Ne bwomuyiyizaayo akantu akasanyusa ng’olowooza nti anakasiima, era asigala tasanyuse. Nga kale nebwaba asanyuse, era omulaba nti waliwo ekibulamu!

Abantu ekika ekyo bwasanga mukoowu munne gubula asala, anti buli omu aba teyeguya munne. Bwebaba nga babeera mu nju emu, bayisinganya nga bakesi.

Naye ate mwatu, bwosanga abagalana abatijja ennyo, ate nabo bandikutama; ndowooza kyebayita okukisussa ng’enjogera y’enaku zino bweri. Kwegamba nolabira ddala bannakatemba abawedde emirimu!

Ekibuuzo:

Abaffe, ddala mu mukwano oteekeddwa okweguya munno, era bwekiba kityo, olina kukoma wa mu kweguya?

Kozesa akabangirizi akali wansi (comment section) otuwe endowooza yo.

Webale!

Digiqole ad

Related post

1 Comment

  • Hahaha

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *