Mukwano gwo akulumya!
Omuntu gwofaako ennyo bwasalawo okukulumya, kiba nga kuteeka mula mu bbwa. Ate emirundi egisinga obungi, abantu abo betuyita mikwano gyaffe, batulumya mu bugenderevvu kubanga babeera bamanyi bulungi bwetuwulira gyebali. Era nga y’ensonga nti babeera bamanyi nti nebwebakola ki, tusigala tuli awo nga tubalinze.
Mukwano gwo okukulumya ky’ekimu ku bintu byetutasobola kwewala mu bulamu…
Olumu kiba nga kusinsimula luyi olunene ku tama, mukwano gwo bwasalawo okukulumya. Ate olulala nowulira ng’omutima gwo gulinga ogwabuluzibwaamu emirundi n’emirundi, oluusi nga nekikuleetera okwagala okukomya enkolagana gyemulina mu bunnambiro.
Mukwano gwo okukuyisa mu ngeri etali yabwenkanya, kiruma kubanga obeera tomanyi kituufu kyenyini kyoteekeddwa kukola.
Ekituufu kiri nti, newankubadde mikwano gyaffe gitulumya nnyo, wabeerawo omuntu gwotwala okuba ow’omuwendo mu bulamu bwo era ng’ekitundutundu ku gwe tekyagala kukomya nkolagana gyemulina…. Amazima wano wewavva obuzibu.
Wakati mu kusoberwa, waliwo ebintu byoteekeddwa okukuumira mu bwongo singa wesanga mu mbeera gyenjogerako.
Bibino ebintu 10 wamanga byolina okukuumira mu bwongo, singa oba osobeddwa ewaka ne mu kibira ku neyisa ya mukwano gwo.
1. Fuga obulumi bwowulira era weyawule ku muntu oyo.
Okusunguwala ennyo nga mukwano gwo akulumiza okutuuka ku kyobadde tosuubira kyabulabe. Wetaaga akadde akamala ng’olowooza ku ki kyoteekeddwa okukola. Singa ogezaako okukozesa obusungu kubanga olumiddwa nnyo, wandisanga oyogedde ebigambo byotasobola kuddamu kumira.
Ku nsonga eyo yennyini, kikwetaagisa okweyawula ku muntu oyo okumala akaseera akawera. Enkolagana yamwe bweba ebadde ya ku ssimu, oli waddembe obutaddamu kwannukula masimu ge wadde obubaka bwe. Tekawo ekisenge ku nkolagana yamwe nga bwoddabiriza omutima gwo…
Mukwano gwo yanyumya ebyaama byo mu bantu abalala? Yogera naye era omulage nti byonna byeyayogera wabimanya…. Towanvuya mboozi, gwe fuga akamwa ko omupiira gw’emboozi ogumulekere.
Enkolagana yamwe bweba yali essukka ku ya bulijjo, katugeze nga mwaali mwagalana (sweethearts) nayenda ebbali, mugambe nti wakimanya naye era sooka odde ebbali nga bwoteseganya n’omutima gwo ku ki kyolina okuzaako.
Bwenjogera ku ky’okumugamba, sitegeza nti olina kumugamba nakigendererwa kya kumuteeka mu mbeera yakukwegayirira mbu omusonyiwe… Nedda, ekyo kikuyambako okumanya wotandikira mu kuwona obulumi.
2. Tegeera nti tolina musango ku butya bwowulira.
Waliwo emikisa mingi nti mukwano gwo akuyisa bwatyo ng’akigenderedde, oluusi abantu abamu ng’abo babeera nebigendererwa ebiwerako nga n’ekisinga obukulu kyakutuwuliza ng’abatali balungi kimala gyebali.
Nakino sigya kukigaana nti waliwo abantu abamu nga batulumya mu butali bugenderevvu, era nga oluusi tebategeera nakutegeera nti byebakola bitulumya.
Kyonna kyekiri, amazima obulumi busigala bulumi. Toteekeddwa kwesalira musango nti lwaki owulira bwotyo.
Ayinza okukunenya nga bwolina entondo, kituufu nti wandiba ozirina era nga wetaaga okukirowoozako, naye tokiriza kukujingawaza ndowooza nti gwe aliko omusango. Wandiba n’entondo, era naye yandiba ng’anenyezebwa ku bikolwa bye gyooli.
3. Tokiriza kuzannya buzannyo bwa ‘gwe wabireeta’
Abantu abamu befuula abagezi nga batunenya ku bikyaamu byebatukola. Tebereza omuntu okukunenya nti gwe eyamuleetera okunyumya ebyaama byo, oba nti gwe eyamuleetera okwenda ebbali!
Mukwano gwo ayinza okukunenya nti tomuwa budde bumala ate ng’oluusi yetaaga okubako negwanyumya naye, kati mu mbeera bwetyo neyesanga nga yerabidde okukuuma ebyaama byewamunyumiza. Oba, mbu olina kyewakola nga kyekyamuvviirako okweyisa mu ngeri etali nnungi gyooli. Bino olina okubyewala.
Obuzannyo buno bwewale, kubanga kino kigenda kukalubya embeera okusinga nebwegubadde. Wewale omuntu akugamba nti “kale laba kyewandetera okukola!”Kyonna kyeyakola yamala kusalawo okukikola.
Beera mugezigezi nga tokiriza kubeera mu katemba wa kito. Jjukira nti muli bantu bakulu abatateekeddwa kwesongamu ngalo nga mwerumiriza.
4. Funa olupapula owandiike kyowulira ku mutima eri mukwano gwo.
Tulina abantu betukolagana nabo mu mbeera ya “oli mukwano gwange ndi mukwano gwo.” Abantu abo nga nebwebatandika kutuyisa bubi, tetulina balala betuyinza kunyumizaako. Okuwandiika obuzibu bwaffe kyekimu kubiyinza okutuyamba mu kukola okusalawo.
Funa akatabo ko oba Laptop yo, owandiike ku mbeera eri wakati wo ne mukwano gwo. Ekyo bwokimala, ku lupapula lwelumu, laga biki byeyayogedde oba byeyakukoze ebyakuleetedde okumujjamu obwesige oba ebyakuleetedde obulumi ku mutima.
Yakwesirikiridde nga takyayagala kunyumya nawe?
Yabotodde eyaama byo mu mikwano gye?
Kyonna kyeyakukoze kiwandiike wadde ng’olaba ng’ekitetaagisa. Weete, tobako kyotya kuwandiika kubanga era gwe omu agenda okubyesomera.
Ngomaliriza byonna okubiwandiika, tandika okubisoma mu mpolampola. Kino olumu kituyambako okutunulira embeera yonna nga bweri mu bulambalamba, okusinga okubeera nayo mu mutwe nga tugigattamu ebintu ebitaliimu.
5. Tegeera embeera mu buntu.
Tewali muntu akola kintu nga tayina nsonga. Eyinza okuba embi oba ennungi ku luuyi lwo, naye manya nti agirina.
Mukwano gwo yandiba alina embeera gyayitamu etali nyangu gyaali; ku mulimu gwe yandiba tebitambula bulungi, oba ng’alina olugambo olutali lutuufu lweyawulira nga lukukwatako, nakola okusalawo okw’amangu.
Gezaako okufumitiriza ku nsonga eyinza okuba nga ye kalunsambulira__ Okusalawo okusinga kuli gyooli, oyinza okumutuukirira mukyogereko oba nokireka bulesi singa kiba tekikyalina kyekiyuusa mu ndaba yo ey’ebintu.
Bwekiba nti yakigenderera okukulumya, kiba kizibu okulowooza ku kintu ekirala; nga ssi bunanfuusi bwe n’obutakufaako. Toteekeddwa kumusonyiwa, naye oteekeddwa okutegeera embeera yonna nga bweri okuvva mu buli kasonda.
6. Lowooza ku ki kyategeeza gyooli.
Ng’omaze okulowooza ku mbeera yonna era ng’okakkanye, lowooza ku muntu oyo n’ekyo kyategeeza gyooli.
Ddala omuntu oyo omwagala nnyo?
Ddala olowooza nti muntu mulungi, nga kyeyakola tekiri mu mpisa ze za buntu?
Bwekiba nga mubadde ba mukwano okumala emyaka egiwera, oba oli awo nga kekaseera otandike okumulabira mu mbeera eriwo so si ey’emabega. Abantu bakyuuka munange.
Ng’olowooza nti talikyuuka, okakasa nti ogwaanira obulumi bwoliyitamu oluvvanyuma ng’akuyiye?
Kino kiyinza obutalabika nga kyakwesibako mu kaseera kano, naye kiyinza okukuyamba okulowooza ku kyaali kati na watya ng’akyuuse mu biseera byomumaaso. Emikwano egimu oluusi kitwetaagisa okusigala nga tugirwaanira.
7. Togezaako kya kumwesasuza.
Olumu twesanga mu mbeera y’okukemebwa nga twagala kwesasuza abo ababeera batuliddemu olukwe oba okutukola ebitulumya. Ekyokulabirako; mukwano gwo wamunyumiza ekyaama kyo nga tomusuubira kukuyiwa, oluvvanyuma lw’akaseera katono, nakulalaasa. Mu busungu obungi, muli owulira ng’oyagala kugenda nawe onyumye ebibye mu bantu bebamu beyanyumiza ebibyo. Okwagala okwesasuza kya buntu, naye amazima gwe tokikola kubanga oli muntu mulungi.
Okuwulira obusungu olw’omuntu gwofaako ennyo okukulumya kyabuntu. Mu butuufu walibaddewo akabuuza singa wesanga nga tolina kyowulira oluvvanyuma lwa mukwano gwo okukuyisa obubi. Naye toleka busungu kukufuga.
Okimanyi nti mukwano gwo oyo abeera asulira bwerere mu birowoozo byo? Buli lw’omulowooza ng’olumwa, so nga ye taliimu wadde akakulowooza.
Kyovva olaba nkugamba nti sikirungi kwesasuza mukwano gwo wadde okumusibira obusungu. Faayo ku bulamu bwo okusinga okuteeka amaanyi ku bibi mukwano gwo byeyakukola. Kino kiyinza obutaba kyangu, naye walitandikidde ku kwagala bulamu bwo okusinga obw’omuntu omulala yenna. Buli mwami Busungu lwakulumba, mulwanyise ng’olowooza ku biki byoyagala okutuukiriza mu biseera byomumaaso.
8. Beera mwetegefu okumwerabira.
Kino kyaliwulikika ng’ekintu ekinene ku muntu abadde ne mukwano gwe okumala ebbanga eriwera, mu byaddala kinene nnyo, naye kyetulina okukola mu mbeera ezimu. Mukwano gwo bwoba omulabamu embeera y’obutakyuusa ku neyisa ye, lwaki oba tolowooza ku kyakuvva mu bulamu bwe?
Kyeyakola bwekiba kyaali kinene nnyo gyooli, nga tosobola kukyerabira kigende, tomukalubiriza nawe kwekalubiriza bulamu, muleke agende… Buno obulamu bumpi nnyo okubukuumira mu bulumi.
Bwolemwa okukikola nga bukyaali, walyesanga owangalidde mu bulamu obujjudde amaziga buli ssaawa.
Naye lindako, sitegeezeza nti olina okuggalawo oluggi lw’omutima gwo bbanga lyonna, ate abalala banayitawa? Amazima gali nti, bwewerabira oyo abadde nukwano gwo, kikuyambako okuzimba enkolagana ennungi n’abalala.
Gezaako okuziyiza omuntu oyo okusalimbira mu birowoozo byo. Ebimukujjukiza byewale okumala akaseera. Bifaananyi bye, bufo gyemwagendanga, nnyimba zeyanyumirwanga, byonna byewale ku lw’obulamu bwo okugenda mu maaso.
Kola ebyo byokka ebisobola okumukwerabiza. Oyinza okuddamu n’omusisinkana, naye nkakasa nti nawe oliba omaze okwezimba ng’oli muntu mulala nnyo okuvva ku gw’amanyi. Ani amanyi, mwalitandika enkolagana empya anti nga mwembi mwakula mu birowoozo.
9. Byoyisemu bifuule kyakuyiga.
Ekitatta muyima… Olugero olwo lwemalireyo!
Okukuba obufaananyi mu byoyisemu emabega tekimala. Bwoba wasalawo kwesonyiwa muntu na kumwerabira, beerako nekyogamba nti buno bwaali bunafu bwange, nteekeddwa okukyuusaamu singa ndiba nfunye omukwano omulala.
Lowooza ku biki ebyakuvvirako okwawukana ne Nakiganda bwemwaali mumaze emyaka nga mukolagana, kituufu yali mubi ng’akukolako olugambo nanyumya byomunyumiriza, kyogamba wali tosobola kukuuma nkolagana yamwe ng’ebyaama ebimu obyesigaliza? Omuntu abeera mubi mu kino, ate nga mulungi mukirala. Ogenda kufuna wa omuntu ataliko kyakunenyezebwa munsi eno embi bweti?
Wano nno wenkusabira nawe okwekuba mukifuba nti tolizuula malayika ku nsi ogifuule mukwano gwo. Munno bwomulabako ebirungi munaana nga gw’obadde oyagala kumi, bambi tomufiirwa kubanga ow’ebintu kumi ku kumi yandiba taliyo mu nsi.
“Kinyuma okuyigira ku nsobi ez’abalala okusinga okuyigira ku zizo.” Gwe kiriza oyigire ku zizo, okusobola obutaziddamu.
Byoyize tebikufuula muntu omuzibu.
Abantu abamu bafuuka bazibu nnyo oluvvanyuma lw’obulumi bwebabeera bayisemu mu biseera eby’emabega. Olw’okuba Oliver yakuyisa bubi, nosalawo mu mutima obutaddamu kwesembereza kitonde kikazi!
Katugeze ng’enkolagana yali ya mukwano gwa kintu kikulu, eyakulumya bwaba yali musajja muganda nga yeddira Mpologoma, kiwedde! Ba Kasagga, Kiyimba, simanyanga mwe ba Ntale, abeera tayagala kuddamu kuganza muntu avva mu kika ekyo. Towulirangako abantu abesiba ku gwanga erimu, mbu abo babeera benzi, mbu bakyaafu, bali bayombi nnyo, n’ebintu ebifaananako bityo.
Ekika oba eggwanga ly’omuntu, teririna kalambe kanene keriteeka ku muntu. Omuntu asalawo kweyisa nga bwabeera ayagadde ku lulwe ng’omuntu ssekinnoomu.
Totya kutandika nkolagana n’abantu abalala abaungi, mbu kubanga osisinkanye abantu 4 oba 5 nga bonna bakyaamu. Owomukaaga, tagenda kubeera nga bali abasooka. Buli muntu wa njawulo ku mulala nga nawe bwooli ow’enjawulo ku nze.
Nfundikira nkugamba.
Eno y’ensonga lwaki tulumya era naffe nebatulumya.
Emikwano gijja ate negigenda. Mu nsi eno, gwe mukwano gwo asinga. Kyentegeeza nti olina kusooka kweyagala ng’abalala tebanakwagala.
Lowooza ku ki ekikugwaanira. Oli mwetegefu okugumira obulumi mukwano gwo bwakuleetera, kubanga toyagala kumufiirwa? Kyonna kyekiri, jjukira nti gwe mukwano gwo asinga, wekulembeze mu mbeera y’okusalawo ekisinga mu bulamu bwo.
Wasalawo okwesonyiwa mukwano gwo era kikuluma, naye manya nti olunaku lumu buli kimu kijja kuba kiwedde nga tewakyaali bulumi.
Nze nkwagaliza kisinga buli kadde.
4 Comments
Singa ffena twali tuyinza okufuna omukwano NGA Gwe tulaba mu ntambi.
Ko nogwo Gwe tuwulira mu nyimba 🥰🥰😘😘😘
Kisoboka. Lwakuba abantu ffe abakifuula ekizibu. Omukwano ogwa ddala gyeguli, naye ani mwetegefu okugugaba oba okugwaniriza mu bulamu bwe nga buli kimu tukitwala tutyo!???
For sure njize binji
Webale kuyiga.