• November 22, 2024

Muleke. Mute. Mwesonyiwe.

 Muleke. Mute. Mwesonyiwe.

Ebintu biringa ebikutambulira obulungi mu nsonga z’omukwano. Ggwe n’omusajja gwoyagala kumpi muwuliziganya buli lunaku ku ssimu. Buli omu kati ategeera mune ebitundu kumpi 63%. Buli lunaku olukya weyongera kusemberera mutima gwe. Sayansi ali wakati wamwe akuleetera okuwulira kyotawulirangako. Kati muli owulira oyagala mufune enkolagana eya namaddala… Naye munange jjukira enjogera y’abaganda, nti gwotagala takwagala____

Kiki ate? Yakugambye nti ye tanabeera mwetegefu kutandika mukwano ogwa ddala nawe. Gano mazima agakawa okumira naye otekeeddwa okugamira. Okubeera mu mbeera ya “nkwagala naye simanyi oba njagala kubeera nawe” byakifere era bibuzabuza.

Kati mazima ddala ogenda kukola otya? Nze ngamba osaanye okudda ku mabbali nga bwe wetegereza biki ebigenda mu maaso. Togezako kukaka mbeera. Bwoba oli mu mbeera eno jenjogerako, kankulage bwoyinza okugivvamu nga tolumiddwa nnyo n’okufiirwa ebiseera byo eby’omugaso.

  • Lwaki yekwasa obusongasonga buli lwomugamba ku ky’okubeera mwembi?
  • Kwolabira omusajja atali mwetegefu kutandika mukwano gwa ddala newankubadde alina kyawulira gyoli.
  • Ogenda ku mulinda bbanga lyonna okutuusa lwalisalawo?
  • Lwaki akukuumira wakufunira nga talina nteekateeka za kubeera nawe?
  • Kyomaliriza nakyo oluvvanyuma lwa byonna na butya bwoyinza okukwatamu embeera eno.

Bino byenjagala okugabana nawe oba olyawo bisobola okukuyambako:

Amazima bino bingi, naye nkukakasa nti tojja kusigala kyekimu singa owaayo akadde ko ne tubiyitamu ffembi.

Lwaki yekwasa obusongasonga nga yewala eky’okubeera nawe?

Tewemalamu lwa musajja atalibeera wuwo.

Bwaba akunyumiza nga bwakwagala ennyo naye nga tasobola kutandika mukwano gwa ddala nawe, kya magezi okusooka n’olowooza ku biki ebigaana. Naye jukira nti ensonga ze tezirina wezikukwatirako.

  1. Yandiba mu biseera by’emabega alina eyamulumya. Ku nsi kuno ffena tulumwa; omusajja alumwa nga n’omusajja bwalumwa. Musajja wo bwaba afuna akadde akazibu okutandika omukwano ogwa ddala, kisoboka okuba nga yafunako omuntu eyamuyisa obubi. Ayinza okuba yayagala omuntu eyamukyaawa awatali nsonga, oba ng’omuntu gwe yali ayagala yayenda natamwa. Newankubadde akwagala nnyo naye ng’obulumi bweyafuna bu mutiisa okutandika omukwano omulala.
  2. Akyayagala eyali mukyala we. Bwaba yakaawukana ne yali mukyala we, ebintu bitera okubeera ebizibu. Ye ate bwebabeera bakyayogera ng’alimu esuubi ly’okuddingana naye, tayina nsonga emutandisa mukwano mulala. Anyumirwa akadde konna kamala nawe nga bwagezako okwerabira ebyayita, oba nga bwagezako okugenda mu maaso. Naye, bwatandika okukugerageranya ku eyali mukyala we oba okujjukira mukyala we ng’asinziira kwebyo byokola, manya nti ozikula buzikuzi mukwano gwa muntu we gwatasobola kwerabira.
  3. Ayagala kuteeka ssira kwebyo byayita eby’omugaso gyaali. Abasajja abamu bazibuwalirwa okukola ebintu mu kaseera akamu. Nga bwaba alina ekyamanyi kyataddeko essira, tayagala kwemalira ku muntu mbu bali mu mukwano ogwa ddala. Wakiri okubeera nawe nga mwegaddanga bwegaddanzi awatali kubeera na nkolagana eya namaddala. Bwaba alina ebirubirirwa byataddeko amaanyi, tomukaka kubeera mu mukwano nga talina budde bwago; ojja kulumwa oba okweneenya weka.
  4. Alina mikwano gye abasajja batayagala kwawukana nabo. Abasajja abamu babeera n’enkalagana ennungi ku mikwano gyaabwe nga balowooza nti singa batandika okubeera mu mukwano ogwa ddala n’abakazi, kigenda kukosa mikwano gye. Waliwo n’okunonyereza okwakolebwa ne kizulibwa nti abasajja abamu babeera bamativvu mu mukwano gwa muko-muko (nga balina enkolagana eya namaddala.) Kati bwekiba ng’omusajja gwomaliddeko ebirowozo, agwa mu kika kino kyenjogerako, eby’omukwano nawe ogwa ddala ogira obiteeka wa bbali.
  5. Alina omukyala omulala gweyegomba. Oyinza okuba ng’omwagala kyoka nga naye alina amulya obwongo. Ajakubeera nawe naye ng’ekituufu alina gwalinda akirize. Tagenda ku kikugamba ate era tagenda kutandika mukwano nawe. Muja kwekola byonna naye bija kukoma mu kwegaddanga nga talina jakutwala.
  6. Alina omukyala omulala mu nsi endala oba ekitundu ekirala. Omusajja bwabeera alinayo omukyala omulala (maama w’abaana), ayinza obutakikugamba kubanga nawe awulira akweyagaliza. Kyovva olaba nga mugya kubeera awo mu mbeera ya “ekisinga obukulu nkwagala” naye tagenda kutwala bintu mu maaso wadde okukulaga mu b’enganda ze.
  7. Teyekiririzaamu. Kisoboka okwagala omusajja n’omutima gwo gwonna, naye nga ye alaba takusaana. Ayinza okuba ng’alina embeera mu bulamu bwe zasuubira nti tosobola kuzigumikiriza, ekintu ekimuletera obutayagala kutandika nawe nkolagana ya namaddala.
  8. Anyumirwa obuwuulu. Edda nawulirako nti omusajja bwalwawo okuwasa oba bwamala ekiseera ekinene ng’ali yeka, atuuka namanyiira era natandika okunyumirwa obulamu obwomu. Mu kino sagala kufunibwa bubi, naye omuntu singa amanyiira embeera z’obwomu okugeza nga; nga bwaleka enju ye bwagisanga, oba ayingidde saawa bbiri oba munaana gwa kiro teri abuuza, omuntu oyo okumuyingiza omukwano ogwa ddala si kyangu. Ayinza okwagala ojje omukyalire naye tayagala omalewo naku nyingi, obeera omumalako emirembe gyeyamanyiira.
  9. Si gwe gwayagala wadde ayagala okubeera nawe. Hee, kino kyandikuluma, naye amazima gali nti omusajja asobola okubeera nawe nga mukola byonna, naye nga talina suubi wadde akatono bwekati ery’okubeera nawe. Kino kibeera kityo kubanga si gwe mukazi gwayagala okuwangaala naye mu mukwano ogwa ddala. Wulira bino, omusajja bwaba akwagala, akola kyonna okubeera nawe, talina kuwa nsonga zitalina magulu mbu “sinabeera mwetegeefu kubanga sirina ssente.”
  10. Yemanyi obulungi. Omusajja omulungi tatera kubeera mwangu wakusuula mu mukwano ogwa ddala. Abeera nendowooza nti “ndi mulungi nnyo kangira nindako oba olyawo ndisisinkana nalulungi w’ensi yonna ne mpasa oyo. Buli lwalaba abakazi abamwegwanyiza, ng’aguma obutatandika nawe mukwano. Ajakukuumira ku lusegere lwe nga tayagala omuvveko, naye era nga tayagala nsi emanye nti mulina ekigenda mu maaso.

Okuzuula ensonga egaana omuntu wo okubeera nawe mu mukwano ogwa ddala kikuyamba okumanya wolina okukoma mu kuyagayaga, n’obutemalamu ku bitalibeera.

Kwolabira omusajja atali mwetegefu kutandika mukwano gwa ddala, newankubadde alina kyawulira gyoli.

Kola okusalawo mangu nga tekinagenda wala

Buno bubonero kwolabira nti newankubadde nina kyentegeeza gyali, tetulina biseera bya mu maaso… Ayagala mbeere chali we kyoka.(mukwano gwe).

  1. Yewala emboozi ekwatagana n’okutandika omukwano ogwa ddala. Olw’okuba akimanyi nti talina ntegeka yonna yakubeera nawe, ajakukola kyonna ekyetaagisa okwewala emboozi eyekusa ku kyatayagala. Abasajja abalala bakikola olw’okuba batya ebiyinza okuddirira singa atandika omukwano ogwa ddala. Okugeza nti singa abeera alina eyamulumya mu biseera by’emabega, abeera mu kutya buli sawa nga tayagala kwogera ku bya kubeera mwembi.
  2. Naye mwenyini tasobola kunyonyola kika kya mukwano kye mulimu. Anyumirwa okubeera nawe mu buliri nga mukola effujjo lyonna, naye bwekituuka ku ky’okutongoza omukwano gwamwe, tayagalira ddala. Bwomubuuza mukwano kika ki kyemulimu, naye asoberwa kubanga tabitegeera. Akwetaaga naye tayagala kutandika mukwano gwa ddala.
  3. Tobeera kimu ku byasinga okulowoozako. Oyinza okuba ng’osobola okuta olunaku ku mulimu osobole okubeera naye, ye kyatasobola kukola. Omala obudde bungi ng’omulowooza so nga ate ye akulowoozako lwawubadde. N’omuntu akujjukira lwayagadde okwegaddanga tabeera mwangu!
  4. Tobeera mu ntegeka ze. Tebereza omuntu akunyumiza ebirooto bye n’ebyayagala okutukiriza, naye nga gwe tolina wolaba akunyiga. Akunyumiza nga bwayagala okuzimba enyumba enene ennyo abeeremu ne mukyala we… Ayinza nokubuuza nti “ye gwe oyagala kubeera ki mu myaka kumi mu maaso?” Aganyabo bwoba oli n’omusajja bwati, tandika kunoonya kiddako. Omusajja ayagala okubeera ebya ddala, akuteeka mu byategeka.
  5. Abeera mu mbeera za kusindikiriza walala. Omusajja alina entegeka zokubeera nawe, buli kirungi kyokola akibalira ku biseera bya mu maaso. Naye singa ofumba bulungi emmere nakugmba nti “yesiimye gwolifumbirwa, Tinah omanyi okufumba walayi” ebyaddala oyo mujjeko omutima. Talina kyakwagaza omwesibako bwesibi.
  6. Abeera yefaako yekka ku bulamu bwe. Osobola okumanya omusajja atayagala kumanya bikwata ku bulamu bwo. Abeera yeyagaliza yekka; akwagala oli mulamu, bwobeera mulwadde awo tobeera chali we. Tebereza mulina we muli katugeze ewaka we, nemulumbibwa abatemu, nadduka nafuna weyekweeka, nomusangayo nakugamba “nze nviira ogenda kundabisa.” bwahahaha…
  7. Akubulako ate nakomawo. Mwagalana leero ate enkya nga takwata ssimu yo. Luli nakukubira nga mukyamufu bulala ate oluddako n’omukubira ng’alinga gwebanyise mu nsuwa. Okumubuuza ekimusumbuwa, nga talina kyakuwa. Kiyinzika okuba ng’alina abakyala abalala oba ng’akulaba nga kyakweyambisa.
  8. Omuntu atalina ntegeka z’amaanyi nawe tali kwebikulira kiri ku mutima. Kino kiyinza okubawo olw’ensonga endala okugeza ng’atya tayagala omumanye nnyo. Naye ku luuyi olulala, omusajja bwaba talina kyayagala omanye ku bimukwatako, kasobola okuba akabonero nti ayagala mubeere awo mutyo nga temukiteeka mutendera mulala.
  9. Tafaayo wadde okusiima byokola ku lwa mwembi. Nkakasa nti omuwa obudde bwo, okufaayo kwo, omukwano gwo bwemba sigambye mubiri, amaanyi go, naye nga ebyo byonna tabirabawo. Olimba ewamwe notambula ekiro osobole okumulabako, naye nga tasiima kwewayo kwo.
  10. Akubulira mu bwesimbu nti tayagala kubeera nawe mu mukwano ogwa ddala. Mulina byemuvva okukola naye akukakasa nga bwatalina nteekateeka yonna yakutandika mukwano. Kirungi akubulidde amazima naye muli owulira ng’oyagala kusanuka obule ovvewo, kubanga gwe obadde okyamuse ng’olwoza okigadde. Eby’okwagala bwebityo, gwoyagala takwagala kimala.

Waliwo obubonero bwetusalawo okubuusa amaaso — ng’abakazi abasinga obungi bwetukola. Lwaki?

Kubanga oyagala kulaba wa jebiggwera. Olowooza ku kakisa konna ne zi watya zonna. Nga toyagala kumugobera ddala kuvva mu bulamu bwo, obubonero bwenkuwadde wagulu busobola okuyambako obutamala gewaayo kalamba.

Ogenda kumulinda ebbanga lyonna okutuusa lwalisalawo?

Togezako kya kumumatiza, era tomulindirira kumala bbanga lyonna. Tobeera awo nosubira nti lumu alikeera nategeera ki kyasubwa okuvva gyoli, mukwano gwange, ekigaanye kireke kite kigende. Kati sooka webuuze bino: Ddala omusajja ono agwaana okumala obudde bwange namaanyi gange mbu mulinda? Ddala nsobola okukeera nenejusa olw’okwesiba ku musajja ono?

Manya kyoyagala mu bulamu. Byewetaaga, ebirooto byo, n’essanyu lyo byamuwendo nnyo.

Kyanaku nnyo nti ojakuziba amaaso go oleme kufaayo ku bubonero buno, olw’okuba olina esuubinti asobola okukeera nalowooza ku ky’okutandika omukwano nawe.. Olabye munange!

Lwaki akukuumira wakufunira nga talina nteekateeka za kubeera nawe?

Omusajja asigala musajja mu mbeera zonna. Asobola okukuumira mu kibatu ky’engalo ze nga buli wayagalira okukufuna, azingulula buzinguluzi ngalo nakukozesa kyayagala. Omwebikulira wenna ekiri ku mutima kubanga omwagala nnyo… Olabye munange kubanga ekyo tekigenda ku mukyusa. Akugamba nga bwakwagala ennyo era mbu anyumirwa buli kaseera kamala nawe, ekituufu alina ensonga lwaki akugamba bwatyo. Ensonga nga 5 wamanga.

  1. Atya okubeera obwomu. N’obwomu buluma nnyo! Omusajja asobola okukuumira ku lusegere lwe kubanga atya okubeera yekka. Okubeerawo kwo kwandiba kimu kubimuwa essanyu nga tayagala kuleka ofune mulala kubanga ajja kuwubaala. Kiwulikika nga eky’obusiru naye akimanyi bulungi nti omwagala era ng’osobola okubeerawo singa mikwano gye oba mukyala we abeera taliwo. Katugeze ng’alina ekizibu ky’obutekiririzaamu, oyinza okuba nga gwe amuzaamu amaanyi nga teyandiyagadde muntu mulala kutwala.
  2. Ayagala nnyo okwebaka nawe. Nali mpuliddeko abasajja abawana abakazi nti basufu mu buliri naye nga sibalungi kubeera nabo luberera. Abasajja balungi mu kukuuma ekibali ku mutima, agenda kukuumira ku lusegere lwe nga bwakukozesa okutuusa lwonazuukuka n’otegeera nti talina kigendererwa kya kubeera nawe.
  3. Tayagala mulala yenna kutwala. Talina ntegeka za kutandika nawe mukwano ogwa ddala, wabula ayagala obeere awo nga kimu ku by’obugaga bwe. Akimanyi bulungi nti omwagala era nga tayagala kufiirwa mukwano gwomuwa. Okulowooza ku musajja omulala nga akutute kimulwaza gigina. Tabeera nawe lwakuba ayagala kuwa bukuumi, naye tayagala mulala akutwale.
  4. Ayagala kusigala nga mukwano gwo. Olw’okuba tayagala kutandika nawe mukwano gwa ddala, tekitegeeza nti ayagala okufiirwa nga mukwano gwe. Ayagala kukuumira awo mpolampola nga mukwano gwe, olumu nga bwe mwegaddanga naye nga temuli bya mukwano ogwa ddala.
  5. Tayagala kulumya. Olw’okuba amanyi bulungi nti omwagala, tayagala kulumya kubanga akufaako. Musajja mulungi afaayo ku butya bwoyinza okuwulira singa agezako okugamba nti mukite. Byonna byebimu tagenda kubeera nawe kubanga akukwatirwa ekisa.

Newankubadde ayagala okukuumira ku lusegere lwe, n’omuto akitegeera nti gwe si kyewetaaga. Gwe mwenyini oteekeddwa okusooka newebuuza kyoyagala ng’omuntu. Bwoba tosobola kubeera watali nga wakiri onabeerawo buli lwakwetaaze, beerawo wakiri nga bwonoonya ekiddako. Bwoba osobola okumufuula mukwano gwo, kikole ku lw’omukwano ogwo. Naye bwaba si mwetegefu kutandika nawe mukwano ogwa ddala, lwaki omuwa omukwano gwo? Wesikemu katono musigaze omukwano ogwa bulijjo.

Ki kyotekeddwa okukola nga agaanidde ddala? Ebiseera ebimu tolina kyosobola kukolera musajja mbu akwagale byoyagala. Tayagala era ayinza obutayagalira ddala.

Ki kyoyinza okukolera omusajja akubeeza mu katemba wa “nkwagala naye sagala kubeera nawe ebya lukale?” Ebigambo ebyo biruma okukira omususa.

Kyomaliriza nakyo na butya bwoyinza okukwatamu embeera eno.

Byonna byoyisemu n’omusajja oyo bitwale ng’esomo mu bulamu bwo.

Bwoba olina omuntu akutagaliza mu mukwano ogutalina wegulaga, noonya awali ekinnya kya kasasiro ekiwanvu omusuleyo n’omukwano gwe. Ndi 100% nti tokisobola esaawa zino naye obukya buziba gezako okwerowoozako okusinga bwomulowoozako.

Gezako ku bino wammanga olabe.

  1. Nyumirwa ekiriwo esaawa zino. Olw’okuba nti tosobola kumala ga musuula mu kinnya kya kasasiro, beera naye, nyumirwa kyemukola mwembi, naye tosubira kinene okusinga ku ky’olina esaawa eno. Okimanyi bulungi nti ku meeza ya mwe gwe naye tekuli mukwano gwa nkalakalira, gezako okuteekawo omukisa eri abasajja abalala abakwagala. Leka kwekuumira mu mbeera ya si kyanoonya ate ng’ebyaddala tolina akwagala bya ddala.
  2. Mugambe butya bwowulira ku mutima olw’embeera gyemulimu. Anti mulinga abali mu muzannyo matatu, gyayo ezizo ozikube ku meeza. Yandiba nga tamanyi kyowulira ku mbeera yonna gyemulimu ng’alowooza nti oli musanyufu. Yogera naye omubulire byewetaaga, otunule owulirize byakuddamu kwonasinziira ekiddako.
  3. Manya wokoma. Newankubadde ayagala nnyo okukuumira ku lusegere lwe ate nga nawe kyoyagala, otekeddwa okutekawo olukomera. Anti kati okimanyi nti tewali suubi lya mukwano gwa ddala, gezako obutamwewa nnyo naddala mu nsonga z’okwegaddanga.
  4. Kendeeza ku budde bwomala naye. Abakazi bwetwagala omuntu, twagala nnyo okumala obudde bwaffe obusinga nga tuli naye. Leka kubeera nga buli kadde gwe amunoonya, naye wakiri akunoonyeko oba si kyo mu kite.
  5. Musonyiwe ate nawe wesonyiwe. Kyabutonde okuwulira obulumi naye tokuuma bukyaayi gyaali. Kiriza kyayagala togezako kumuwaliriza.
  6. Kiriza nti si ye wuwo. Nakino kiruma __ era manyi bulungi nti ky’ekintu kyoyagala okusembayo okuwulira. Wandiba gw’olowooza nti “ye ye”, naye singa abadde “ye” teyandikuyisiza mu bulumi bwoyisemu. Jukira nti akabonero akasinga obukulu ku lwaki tayagala kutandika mukwano gwa ddala nawe, kwe kuba nti ye takulaba nga “gwe mutuufu”.
  7. Muleke agende nawe kyesonyiwe. Essanyu lyo kikulu mu bulamu bwo naye ate ebiseera by’omumaaso bikulu nnyo gyoli. Kiyinza obutaba kyangu ku muleka nagenda, naye okubeera mu mbeera y’okulumwa buli kadde ng’oyayanira ekitalituuka, nedda mukwano kite. Tomanya omutuufu yandiba alina wakulindidde ng’akute n’ekimuli.
  8. Gezako okuteeka essira ku birala ebikuyamba. Kola ebikusanyusa. Jjukira ku byewali oyagala ennyo nga tonamufuna. Kisoboka nnyo emirundi 100% kubeerawo nga tomuyina. Mu kifo ky’okumala obudde bwo obw’omugaaso nga wekubagiza kubanga yagaana, teeka amaso go ku bintu ebirala. Oyinza n’okutandika okulowooza ku Jim aludde ng’akulinze.
  9. Kiriza nti yali teyakutnderwa. Ogwaana omuntu akwagala era omwetegefu okutandika nawe omukwano ogwa ddala. Omuntu atagenda kuzanyira ku bwongo, omuntu atagenda kwonoona biseera byo, omuntu agenda okutambula nawe mu mbeera zonna ng’awulira kyowulira. Gyokoma okukiriza amangu nti si yeyakutonderwa, gyekigenda okubeerera ekyangu okumwetegula.

Manyi nti sikyangu…

Oli wa ddembe okukaabira omusajja oyo era tekirimu sitaani yenna okulumwa nga bakuyiye. Sikyangu, naddala ng’olina kyobadde omulabamu kyotalabanga mu musajja mulala yenna.

Kyandiwulikika ng’ensi ekomye naye jjukira nti kyowulira esaawa eno si kya luberera. Abaganda bagera nti “omukwano mpewo, bwekufuwa tosuubira nti enakya.” Kyabutonde okugwamu esuubi singa omuntu gw’oyagala abeera takulabawo. Naye ekisinga obukulu kiriza nti si gwe asoose era nga si gwe asembye. Tomanya byoyize mu mbeera yonna olibinyumyako ng’essomo ate nga olina gwewetaaga okuyamba.

Digiqole ad

Related post

5 Comments

  • Article njagadde!

  • Owandika nnyabo. Genda maaso

  • Keep it up love nice one, very educative

    • Webale dear wange Phionah.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *