Nalemwa okumwerabiza obwa Ssemwandu!
Ekitundu ekyokubiri.
Okukuzaako katono emabega, amannya nze Namuwonge Irene. Nakula nina ebirooto byange ng’omuntu, nga n’ekisingira ddala nali njagala kufuna mukwano gwange ow’omunda, nga ye musajja oba omwami gwendiwangaala naye bbanga lyonna ery’obulamu bwange.
Nga nakatandika obufumbo ne Dr. Danny, abaana abasatu bakomezebwaawo awaka, era nga n’omukozi yaleetebwa okusobola okuyambako ku mirimu n’enkuza y’abaana. Omukyala ono gwebaleeta, yali mulungi ate ng’alina empisa, ekintu ekyaali ekirungi eri abaana abaali abato. Abaana ba Rhoda kyekyaali ekirabo eky’omuwendo mu bulamu bwa Dr. Danny.
Olwa leero luno bwengezaako okujjukira ebiseera ebyo nga ndi mu bufumbo ewa Dr. Danny, nkiraba nti salina yadde akafo akatono ennyo mu mutima gwe__ kyenali mpita obufumbo kwaali kukuuma kitiibwa ky’amaka! Nagezaako nnyo nga bwensobola okukyeteekamu nti nina okuwangula omutima gwe__ nti nteekeddwa okufuna omukwano ogwo gweyali akuumira Rhoda. Ku lwange nalowooza nti ekisumuluzo ekyaali kiyiinza okunzigulira omutima gwa Danny, baali baana. Nga nina okwewaayo ennyo gyebali nti oba oli awo nandituuse omutima gwa Taata waabwe. Danny yali musajja wa kisa, ng’afaayo eri abalala ate nga musajja mukwata mpola nnyo mu buli kimu; wagulu wa byonna, yali Taata w’abaana ba Rhoda. Eky’okunzaalamu omwana oba abaana, kyekyaali ekimu kw’ebyo byeyali asembayo okulowoozako. Oba oli awo nga yali mutuufu, anti n’abaana abangi ssi bangu bakulabirira.
Enaku gyenalina ku mutima, nga sirina muntu yenna gwenyiinza kunyumizaako. Maama ne Taata bo baali basanyufu nti nateeba eddya edduungi. Ebiseera ebimu nalowoozanga nti maama wa Danny (Nazaala wange) yali ategeera bulungi kyenali mpitamu, wadde nga tetulina lunaku n’olumu lwetwayogera ku nsonga zino. Nali musanyufu olw’ekisa kyeyandaganga.
Maama wa Danny yali akimanyi bulungi nti tewali mukazi alitwala kifo kya Rhoda mu mutima gwa Danny. Ebbanga lyayita nga buli kimu kitambula, naye nga tewali kinyuma wakati wange ne Danny. Mu ddiiro mwaalimu ekifaananyi kya Rhoda ekinene, nga bwoba wakayingira, oyinza okulowooza nti Rhoda ayimiridde buyimirizi awatali kwogera kigambo.
Bazadde ba Rhoda bebakozesa ekifaananyi ekyo ekinene nebasaba kibeera wekirabibwa obulungi, mu butuufu kyaali kijjukizo kirungi eri abaana …. mpozzi nafe abaali balowooza nti tusobola okutwala ekifo kye mu mutima gweyali omwami. Nze muli nali ngamba nti kale singa bali bakikuumira mu kifo ekirala kyonna! Salowooza ku kyakusaba Danny okujjawo ekifaananyi, anti munange kyaliwo nga sinaba nakujja.
Natandika okukyaawa erinnya ly’omukazi Rhoda ne face ye olw’okuleka akalambe akanene ku mutima gw’omusajja, ate natakoma okwo naleka ebirabo byeyaleetera omwami awatali muntu mulala kwongera ku birabo ebyo!
Emyaka nga gitambudde, natandika okukiraba nti obudde tebwaali ku luuyi lwange. Nali sikyalina kirubirirwa mu bulamu nga kyensiinga okufaako kwekuwangula omutima gwa Danny. Abaana baali bakula bulungi, era ng’ebisiinga basobola okubikwasaganya wadde nga tebalina bulagirizi bwange. Omwana omu omulongo yamenyeka omukono bwebaali bazaanya, era kino kyakendeeza ku mikisa gyange egy’okufuna engoye empya nga bwegwaali anti ssente nyingi ezaggweera mu ddwaaliro ate nga Danny yangaana okukola.
Lunaku lumu nasisinkana omuwala omu bwetwasomanga, nga mu butuufu alabika bulungi, yali asibye akavviiri akalungi, ng’ayambadde ka sikaati akampi, wamma gwe ng’asanyusa amaaso. Namusanyukirako olw’ebyo byeyanyumiza nga yateeba omwami amwagala ennyo, ate oludda ne mukwatirwa obujja mu mutima, anti ng’essanyu e lyange lyaziikibwa ku lunaku lwenasalawo okufumbirwa Dr. Danny!
Ku bimu Danny byeyasooka okungaana okukola nga twakayingira obufumbo, mwalimu eky’okwambala engoye enyimpi. Naye oluvvayuma lw’okusisinkana mukwano gwange, nagenda mu kibuga nengula obuteteeyi obumpi, n’enviiri zange nazikendeezako okusobola okulabika obulungi nga bwenjiiya kyenzizaako.
Ki ekyaddirira nga maze okukyuusa endabika yange awatali lukusa lwa Dr.Danny?
4 Comments
Hahahaha 😂😂Mukazi munnangee
Obugoye bwebakugaana ate otandise okubwesala😂😂🙄 anyways byonna byakugezaako…..ekimu bwekigaana nga ogezaako ekilala kuba ekikulu kuwangula mutima gwa Danny
Kale abazadde Bbo basanyufu bamanyi wateeba kumbe hmmm😒… ekitali kyogere…….kisigala kumutima 😒😒ebintu bikusobera
Naye tomanya., Bwekataligirya….eribiika😏😏katwongere okugobelera❤️🥰✊
Hahaha… Makula mwana wa nnyabo bwoleka! Byonna bwebigaana ng’osalawo okumwetega mu ngeri endala… lol!
Kakyuuse ku nyambala oba oli awo Danny anamulabamu omulamwa, bwekiba ssi ekyo, ng’abalala bamutegula. Hehehe
Abakazi temuwulira…
Kati obugoye oguze bwaki onoonya okukugoba mu maka😄😄😄
Onzise! Kuba ndi wano nfa nseko. Mbuguze kubanga njagala kumutega bulungi, atandike okumbalamu amagezi. Hahaha