Nalemwa okumwerabiza obwa ssemwandu

Ekitundu ekyokutaano.
Nga tukyanyumya kino na kiri, Danny yatusaanga wakati mu mboozi bweyali akomezawo abaana okuvva ku somero. “Banange ndabira wa, ono ssi Ndereya? Tukusanyukidde nnyo!” Dr. Danny (bba wange) ng’ayaniriza omugenyi.
Danny ne Andereya baali bemanyi bulungi, ekintu kyenali sisuubira wadde akatono, kubanga nange nali manyi Andereya okuvviira ddala mu buto. Danny yakyewunya nnyo okuba nti nze n’omugenyi ate twaali twemanyi nnyo!
Mu buzadde Danny yeyali yazaala Andereya mu ddiini. Ate nze Andy nali namumanyira mukyaalo e masaka, kubanga emyaka gy’obuto yagimala wa jjajja we! Andy mu buto yali mukwano gwange nfa nfe, lwakuba twamala netwawukana obutaddamu kuwuliziganya.
Nga tulabaganye omulundi omulala oluvvanyuma lw’okwebulako, omukwano gwaffe gwatandikira mu giya nenne. Ekituufu Andy yali muvvubuka mulungi, nga mugezi, ate n’olwokuba nti nali muwubaavvu mu mutima, okujja kwa Andy mu maka ga Danny kyaali kisumuluzo ekiggula eddembe ly’omutima gwange.
Ku myaka ekumi nebiri wenasembera okulaba Andy, naddamu okumulaba nga wamma asajjakudde naye nga tanalina mukyala wadde gwalinze okuwasa! Ng’omuwala omuto eyali amaze okukitegeera nti omutima gwa Danny sirigutuuka, ebirowoozo byange byonna nabimalira ku mugenyi eyali atukyalidde ewaka.
Nzijjukira emizannyo gyonna gyetwazannyanga mu buto, era sisobola kwerabira biseera ebyo nga tugenda emugga okukima amazzi, nga Andy ansitulira ku buddomola mu ngeri ey’okufaayo jendi…. mu butuufu twaali twesaana mu buli kimu, lwakuba ensi yatwawula okumala ebbanga eriwera. Danny ng’amaze okwaniriza Andy awaka, yalaga nti talina buzibu ku kumanyagana kwange ne Andy, era teyakifaako yadde okubuuza enkolagana yaffe weyali ekoma!
Danny obutankalubirira ng’ambuuza ebibuuzo byesisobola kunyonyola, kyampa omwaganya ogusemberera Andy n’okusinga bwegwaalinga. Kyensinga okujjukira bwebuvvumu obwaali mu mutima gwa Andy. Lumu twaali tusigadde ewaka ababiri nze ne Andy ng’abaana bagenze okusoma, ate nga ne Danny yali agenze okulambula ku faamu ye eyali esaangibwa mu bitundu bye Masaka, “Irene, kuvva buto oli muwala mulungi, nandiwulikika ng’omusiru, naye nebuuza ensonga eyakufumbiza Dr. Danny!” Nali ndi mukutabula chai ku meeza, nensitula amaaso gange nengamutunuliza mu ngeri y’okuwewunya byeyali ayogera!
Ebigambo bya Andy byankuba wala, muli nendowooza ebintu nga mutwalo, nga sirina nakyakumuddamu. Namutunulira ate oluvvanyuma nemujjako amaaso nga mpulira amaziga gagala kuyiika. Natambula nenyingira ekisenge kyange nga sagala kukaabira mu maaso ge, ate n’okumulaga obunafu bwange.
Twalina enkolagana esiingayo awaka, naye nga simunyumizangako kiri wakati wange ne Danny. Kirabike yakiraba nti tewaliwo mukwano mu makati gaffe nze Danny.
Nga nsirikidde mu kisenge kyange, nawulira essimu yange ng’evvuga mu ngeri y’okufuna obubaka. Nayanguwa okugibikula ndabe oba waliwo obubaka bwonna okuvva eri omumanye, “Irene, nsonyiwa. Manyi byonna byoyitamu mu maka gano wadde nga toyagala mbimanye. Naye kyoba omanya, waliwo omuntu omu akwagala ennyo!” Obubaka bwaali buvva wa Andy, gwenali ndese mu ddiiro ng’atudde.
Nga maze okusoma obubaka, nakwata essimu yange nenginywereza mu kifuba wakati mu kufumitiriza ku bubaka obwaali bunsindikiddwa. Eyali akulukusa amaziga, ate byakyukamu akaseko nekamera ku maaso gange.
Nali maze okukitegeera nti omuntu oyo Andy gweyali ayogerako mu bubaka, teyali mulala okuleka “ye mwenyini.” Kyansanyusa naye oluvvanyuma nenebuuza oba ddala kyaali kisoboka nze okutandika enkolagana eya ddala n’omuntu alinako oluganda ku (abadde) bba wange.
Ki ekyaddirira nga Andy ali mu ddiiro, ate nga nze ndi mu kisenge, mu nyumba gyetalimu ababiri nga ne geeti nsibe!?

2 Comments
Maxima ddala walina okunyweereza essimu yo mu kifuba kubanga kyali kyewunyisa Andy gwewali omanyi okuva edda okuba nga ate y’akuweerezza obubaka obukutegeeza NGA bwakwagala ennyo ate n’abuleetera mu kiseera kyewetaaga okubuwuliriramu…… Naye biggweerawa bino katulinde tulabe
Mu kaseera ng’esuubi ly’omukwano sikyalina. Era tugende mpola tulabe Irene gyakomekereza.