Nalemwa okumwerabiza obwa ssemwandu!
Ekitundu ekyomusaanvu
Omulundi gumu gwenzijjukira ng’emimwa gy’omusajja giri ku gyange, ky’ekiro ekyasooka nga nyingira obulamu bwa Dr. Danny. Andy yali musajja mulungi ddala, ng’alina amaaso agazannya obuzanyi mu kiwaanga. Bweyagattako ekisa n’obukakkamu, nga gwe wamma nebwobeera ani tolwa kutendewalirwa.
Mu nkuba eyali effukumuka obufukumusi, Andy yandetera okuwulira kyesiwulirangako mu bukulu bwange bwonna. Anti emyaka gyange gyonna nali ndi mu kugyonoonera mu maka ga Dr. Danny nga neyita mufumbo. Naye ng’ekituufu kiri nti nali ndi mu kugeezako kuyimirira mu kisikirize kya mukyala mulala, Rhoda.
Andy okunnywegera wadde nga yali akimanyidde ddala nti ndi mukyala mufumbo, kyandetera okwebuuza ebibuuzo nga kikumi mu kadde ako; yali ayagala nkole ki? Ki ekyaali kigenda okuddako oluvanyuma nga nzikiriza okukola ekyo omubiri kyegwali gunsaba? “Eno tukola nsobi, Andy!” Bino nabimugamba ntunudde mu ddirisa wakati mu kusoberwa. “Kituufu, nange nkiraba nti nsobi! Naye tusobola okugifuula ekituufu, singa oba omwetegefu okuva mu bulamu bwa Danny, gwe bwoyita obufumbo.”
Nakyuka nentunulira Andy, nga sisobola kufuna kya kumuddamu. Eky’omukisa omulungi, enkuba yali egenda essamuka. Nga nsaba mukwano gwange okusimbula emotoka nate twolekere mu bakadde. Okuva ku ssundiro ly’amafuta wetwali twegamye, ebigambo byali bitono ddala nga ffenna tubulidde mu birowoozo. Nagiranga nenebuuza Andy byeyali alowooza na ki kyeyali ategeka okukola okusobola okunfuula mukyala we, okuva ewa kitaawe mu ddiini! Byonna nalowooza nendeka awo, nemalirira obutakola bya kigwagwa nga nsalawo okwagala Andy mu maka ga Danny.
Obuviiri bwange ku mutwe, bwali bujjanguse ndowooza olw’empewo eyali eyita mu ddirisa, anti naliggula nga njagala kulaba wabweru mpise ebiroowozo. Nayisa ebibato by’engalo mu maaso, bwentyo mpaka mu mutwe okutereza obuviiri bwange…. Twali tubulwako katono okutuuka e wa jjajja Andy, “ndi musanyufu okugenda nawe ewaka okulaba jjajjange oluvanyuma lw’akaseera akawaanvu nga simulaba.” Bino byali bigambo bya Andy ng’ayogeza gonjebwa.
Nga tutuuse mu lugya ew’omukadde jjajja Andy, twamusaanga ava ku tale kuyimbula bubuzi bwe. Yali abukute emiguwa obutamusumbuwa, nga bwajja yekkaanya emotoka mwetwali nga tuli kumpi n’omuti gw’omuffene ogwali awo mu lugya olw’emiryango.
Olw’okuba nti jjajja yali akaddiye nnyo bambi nga takyalaba bulungi, yayimirira buyimirizi n’obubuzi bwe mu ngeri y’okwewunya nti baani abaali bazze ewuwe nga n’obudde bukutte, ate nga yali talina muntu yenna gwasuubira! Andy yaggula oluggi lw’emotoka naagenda emisinde nga bwayogerera waggulu nti “jjajja, nze Ndereya muzukulu wo, nze atuuse okukulaba…. jjajja nzuuno nakula dda.”
Omukadde omukazi ono yali tabbamirwako, kubanga yasigala ayimiridde obutavaamu kigambo, okutuusa lweyamwekaanya nakakasa nti ddala mwana wa mwana we. “Ndereya munnange, omaze nolabikako eno nga ssinafa? Myaka mingi mwana wange nga sikuwuliza yadde ebikufaako!” Jjajja yayogera bino nga bwasiba obubuzi bwe ku mirandira gy’omuffene. Ng’amaze okusiba obubuzi, yayanguyira okujja okuwambatira omwana w’omwana we. “Mazima ddala ye gwe! N’amasiga agaakuli mu mutwe tegavaangamu…. Ye nga nsanyuse nnyo okukulaba muzukulu. Gyobadde mirembe misa? Munange nakanda kutuma babaka mu kibuga nti oba gyooli ojje nkulabeko nga sinafa. Kirabike obubaka bwange bwakutuuka, nga kwekujja kuno!” Nakulabira omukwano gwa jjajja n’omuzukulu. “Jjajja wange omulungi, sirina lunaku lwembadde ng’eyo nga sikulowoozako…. Mukama yebale okunkuumira munange.” andy ng’abukadde mu kifuba kya jjajja.
Enzikiza yali emaze okukwatira ddala. Jjajja yatuyingiza mu nyumba ye eya mwamba. Wadde yali erabika ng’enkadde ennyo wabweru, naye munda yali erabika bulungi ddala. Omukadde ono yali muyonjo nnyo bambi, kuba buli kimu munda kyali kitegeke bulungi.
Yalina ettaala y’omukono eyali eyaka obulungi, ekyansobozesa okumwetegereza kuba amazima nze nali sikyamujjukira wadde nga namulabako. Jjajja yali mukyala wa kitema ddala nga yenna agumidde mu kifuba. Yalina amabere amanene nga n’egomesi mweyali yali eyulise eno emabega ku kabba. Omutwe gwali munene nga gw’amasiga, enyindo yali nganda ddala, ng’emimwa gye migazi bulungi, ku myaka gye egy’obukadde yalina amannyo ge gonna ate nga meeru bulungi, mpozzi nti n’ekyenyi kyali kya mpumi. Yali mukyala wa kisa nnyo mu njogera ayagala okusaaga, naye nga bwaba ayogera omulaba nti yali mwematize mu myaka egy’obuvubuka, kuba yayogeranga asimbye amannyo.
Nze yansanyukira nnyo naye nga tasobola kunzijjukira nga nange bwenali simujjukira. “Andy, wafuna dda n’omukyala omundetedde mulabeko bambi!” Wano Andy yakyuka nankuba eriiso nga bwamwenya. “Nedda jjajja… “
Lindirira ekitundu ekyomunaana