• November 21, 2024

Nalemwa okumwerabiza obwa ssemwandu!

 Nalemwa okumwerabiza obwa ssemwandu!

Ekitundu ekisooka.

Nze nali simanyi Mary Rhoda, era ebimukwatako nasooka kubiwulira bwenali nfunye omulimu kumpi n’amaka ga Dr. Danny Ssendawula. Omukyala ono yafa emyezi nga mukaaga emabega nga sinajja ku kitundu, naaleka omwami n’abaana basatu nga bamwetaaga. Ku kyaalo kyonna Mary Rhoda ng’ayogerwako birungi byerere.

Ku kyaalo kuno nali nfunyeeko omulimu mu kampuni emu ey’abazungu nga ndi kiyambi mu yafeesi y’omukulu nannyini kampuni. Ng’omuwala omuto eyakamala okusoma, obulamu bwasooka kunzibuwalira mu kitundu awatali mumanye yenna. Rhoda yali amanyikiddwa nnyo ku kitundu, so nga yalina n’emigabo mu kampuni mwenali nfunye omulimu.

Danny Ssendawula, yali musawo mukugu mu ddwaaliro e Nsambya, ng’afunira ddala ssente eziwera. Yalina amaka amalungi mwebabeeranga ne Mary Rhoda mukyala we nga tanafa. Omukyala ng’amaze okufa, Danny yasigala mu maka ge nga talina muntu yenna gwabeera naye. Abaana yasalawo okubatwala ewa jjajja waabwe azaala omugenzi Rhoda.

Mary Rhoda omulungi! Sijjukira kuwulira muntu n’omu ng’ayogera ku Rhoda ekintu kyonna ekibi. Rhoda__ erinnya eddungi__ Nzijjukira okuvva mu buto nga negomba erinnya eryo! Ani yali amanyi nti lisobola okufuuka ekisikirize mu bulamu bwange okumala emyaka etaano mirambirira? Mu butuufu simanyi na lwaki nali ndyagala nnyo!?

Nakola okumala omwaka mulamba mu kampuni nga siriko agamba. Naye mu mwaka ogwokubiri, ebintu byatandika okunyanguyira mu ngeri nti nali nfunye enkolagana ey’omunda ne Dr.Ssendawula. Ekituufu nali muwala atamala gebuuka n’abasajja, era nga ntwalibwa okubeera omuwala atemanyizika. Ku myaka gyange 24, nali ntandise okulaba ekkubo egolokofu mu bulamu bwange, era nga ssaawa yonna newangulira omusajja ataliiko agamba. Dr. Ssendawula yatandika okufaayo ennyo gyendi, nga buli lunaku tuwanyisiganya obubaka ku ssimu.

Ebintu byaali bitambula bulungi nnyo wakati waffe naye nga tewali mukwano guli gwogamba nti gwa kimemette. Mu byonna yali asiinga kwesigama ku kyakumpasa anteeke e waka. Ng’omuwala omuto sagaana kubanga, guno nagulaba ng’omukisa ogw’okufuna omusajja omulungi nga mugagga ate ng’afaayo nnyo jendi!

Jjukira nga bwenkugambye nti Mary Rhoda yalina emigabo mu kampuni mwenali nfunye omulimu, kino kyansembeza kumpi n’eyali bba we, mu ngeri nti yali atuukira ku nze buli lweyabangako ensonga zayagala okumanya ku migabo gya Rhoda.

Ebiseera byatambula! Dr.Ssendawula yayongera okukindaga nti nze muwala eyali agwaana okudda mu ngato za Rhoda. Ssijjukira lunaku n’olumu Danny lweyansaba tubeereko ababiri ng’abagalana! Ebirabo yantoneranga, ssente ng’ampereza, byonna awamu nabiyita mukwano.

Omwaka ogwokubiri nga nakagutambulako emyezi ng’etaano, Danny yansaba obufumbo era nenzikiriza. Amazima gali nti twali ba mukwano nga buli omu afaayo ku munne, naye nga tetussukawo. Buli kimu yakiyisanga mu ngeri yabuvvunaanyizibwa. Muli nalina esuubi nti njakusobola okuwangula omutima gwe omuwubaavvu, mpozzi n’emitima gy’abaana be abataliiko maama.

Abaana baali balungi abataaliiko kyakunenyezebwa. Nekati buli lwembajjukira mpulira nga mbasubwa kuba nabagala ng’abange benzaalira ddala. Ronah yalina emyaka 5, so ng’abalongo (Waswa ne Nakato) nga ba myaka 3. Nga bbo abaana nabawa essanyu lyange lyonna ery’ekito awamu n’okufaayo kwonna kwenalina.

Nga nakayingira amaka ga Danny, nali nsuubira okukyuusa ebintu nga bwebyaali, naye kyanzigwaako Danny bweyansaba buli kimu okukireka nga bwenali nkiraba. Ekituufu enyumba teyali yange__ yali ya Danny ne Rhoda. Amaka gaali manene ate nga gatemagana munda ne wabweru.

Nali nfumbiddwa omusajja alina buli kimu ate nga mulungi, naye esuubi ly’omukwano okuvva gyaali lyaali lyatandika okukeewa. Okusinziira ku ndabika ya Danny n’embeera ze, yali asobola okwagala omuntu ebimenya amateeka__ naye ssi nze mukyala gweyalina ku mutima! Rhoda, yali yamamira omutima gwa Danny obutaguvvaamu.

Lindirira ekitundu ekyokubiri nga ndi n’omusajja eyalemwa okugenda mu maaso n’obulamu bwe.

Digiqole ad

Related post

8 Comments

  • πŸ‘πŸ‘πŸ’…πŸ’…, I love what I see

    • Webale kuyitayo eno… Kitegeza kinene gyendi.

  • Ennyanjula nnungi ddala πŸ₯°era njaagadde,
    Danny katusuubire nti anelabira eyali omwagalwa we kuba kati mugenzi….. katusuubire nti anayigiriza omutima gwe okubeerawo awatali Rhoda

    • Webale mukwano gwange! Katulabe gyebigweera oba Dannya anasobola okwagala omuwala ono omuto…. Ebigambo byo binzizaamu amaanyi

  • Naye ate erudda Dr Danny munenya kitono,
    Bwalowozaamu obulamu bweyalimu ne Rhoda. Beezimba bwababiri
    Buli kimu bakikolanga babiri n’eyali mukyalawe, alaba nga bwamusiimula mumutima gwe,
    ekifo Kya Rhoda mumutima gwe akigabire omuntu omulala, aba awulira nga omusango gumusinga

    • Era munange tumunenya tulekamu! Ekituufu omuntu gwewali oyagala okuzaama sikyangu kumala gamwerabira nti ofune omuntu omualala amuddire mu kifo kye. Naye ate lwaki Dr.Danny yasalawo okuwasa omuwala omuto, ng’akimanyi bulungi nti talisobola kwerabira mukyala we?

  • Katandika butandisi…
    Ekyamazima omusajja bwasalawo kuwasa mukazi manya nyi oyo gwalina ku mutima ebintu nebwebitagala bitya oyo yasinga okusigala ku mutima gwe.

    • Kituufu nnyo nti katandika butandisi! Tugenda kukatambula mpola mpola naye tujja kukanyumirwa.
      Munange abantu abamu tebamaa gerabira abo bebali nabo_ wadde baamu oba nga bafu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *