• November 21, 2024

Nkulindiridde wadde nga sikumanyi.

 Nkulindiridde wadde nga sikumanyi.

Sikumanyi n’ebikukwatako sibimanyi. Nandiba nga manyi erinnya lyo, nandiba nga manyi bwofaanana mu maaso, naye ebyaddala sikumanyi. Kyentegeeza, sikumanyi mu buntu.

Ngamba gwe alindaga esuubi lyolina mu bulamu na biki byoloota, gwe alinesiga n’onyumiza ku byosinga okutya n’ebyo ebikuwadde okusomooza okunene mu bulamu, gwe ataliteeka kakokolo ku bwenyi bwo nga tuli babiri. Gwe alimenya emitima gy’abawala abakwegomba ng’olinda nze, mu butuufu nesuunga olunaku olwo lwendikumanya.

Naye wadde nindirira okukusisinkana, nange sinaba kwesisinkana ng’omuntu. Omanyi nina obulamu bwenakayingirira. Nteekeddwa okusooka okwesisinkana mu ebyo byonna byendi mu kadde kano, n’oluvvanyuma nkusisinkane nga netegeera bulungi. Mpita mu kugezesebwa okw’amaanyi, nsisinkana ebisomooza omwoyo gwange. Naye byonna biriwo kuntegeka nsobole okufuuka omukyala ow’amaanyi. Omukyala aliteeka ettofaali ku byonna byetulikola. Omukyala omulungi nga mugumikiriza. Nkimanyi nti sigenda kufuuka mukyala oyo gwenjogerako, bwendiba sinakusisinkana. Nina byenteekeddwa okuyiga nga maze kusisinkana. Ate nawe bweguli, ojja kuyiga bingi ng’onsisinkanye…. Ekyo kyekiritukakasa nti ebyaffe byaali byagerekebwa dda.

Sigenda kupapa kukunoonya yonna jewekwese. Nakitegeera nti omutuufu ajjira mu kaseera akatuufu. Ngenda kukuuma obugumikiriza mu mutima gwange nga nkulinda, kubanga nkimanyi nti luliba olwo netusisinkana. Twala akadde konna kewetaaga… Nze nkulinze nebwegiriba giyise myaka emeka! Ngenda kusigala nkola byenina okukola okusigala nga ndi mukyala ataliiko bbala.

Njagala okimanye nti nga bwenjayaanira okukusisinkana, ate era bwentya nti watya nga tebigenze bulungi!? Buli lwendowooza ku kadde ako nga tuli babiri, ntandika okweraba mu ngeri ey’enjawulo. Ekituufu kiri nti siyagalangako muntu yenna. Okwagala kitegeeza kwesiga. Wadde mbaddeko n’abantu ab’enjawulo mu buamu, sirina gwenali nesize nentuuka ku ssa erikakasa nti tasobola kunnumya. Okulemwa okwesiga abo benalina mu biseera by’emabega kyanyambako obutalumwa nnyo mu biseera webakwatira ekkubo nebagenda. Bwendikusisinkana, njakukwesiga nga kirib gyooli okunkola kyoyagala. Njakukwagala muntu wange.

Ndi mu mukwano nawe, wenna nga bwooli. Buli kasomyo wekali mu mubiri gwange kakuwulira. Nkwagala wenna nga bwooli wadde nga sinaba kukutegeera. Nkimanyi nti oli eyo onnoonya. Kansabe obe ng’okimanyi nti ndi eno nkulinze nga nkute n’akamuli….

Digiqole ad

Related post

3 Comments

  • Hahahaha
    Mpulira 🤣🤣
    Omwana olombozze ebigambo
    Kale nno omusajja Oyo gwolindiridde walai ndaba NGA wa mukisa era yonna gyeyekuumidde yandiyanguyeeko nakusisinkana🤗🤗
    Kubanga byomusuubizza nkimanyi agenda kweyagala 💃💃😂

    • Mulindiridde nkute n’akamuli… hahahaha

  • Ate nkimanyi nti naye yonna gyali akulindilidde NGA mbaga
    Alina essuubi nti luliba olwo alikwaata ekkubo nakusisinkana🤗🤗

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *