• July 4, 2025

Obubaka bwange eri abasajja bensisinkanye mu bulamu mu mbeera ez’enjawulo.

 Obubaka bwange eri abasajja bensisinkanye mu bulamu mu mbeera ez’enjawulo.

Omusajja gwenasooka okwegomba mu bulamu

Emyaka nalina 7 gyokka, twaali mu kibiina kimu naye ng’onsingako obukulu. Wali mugezi ebyanyumiranga era nzijjukira lwetwakwata ekifo ekimu mu term eyokubiri ate nga twaali tetwekopa.

Nzijjukira n’omusomesa lweyakuwa obwa Class monitor nobumpa mbu kubanga ndi musirise nnyo! Muli nawulira nga ndi wa njawulo nnyo mu balala.

Twaali tuvva mu bitundu bya njawulo naye buli lwenayingiranga ekibiina okusoma, nga njagala nkulabe mu kibiina. Wandeteranga okuwulira obuwojjolo obuto mu lubuto. Walina amaaso amalungi era ndi mukakafu nti n’abalala bakikugamba eyo gyooli.

Okusooka nali manyi nti nze akwagala nga gwe onfaako bufi, naye sisobola kwerabira olunaku lwewampita nga tufuluma ekibuuzo kya sayansi nongamba “Ganyana nkwagala era ojja kuba mukyaala wange.” Awo wenakoma okutegeera. Haha, twaali bato nnyo okulowooza ku by’omwami n’omukyala, nawulira essanyu naye oba nali nsanyuka biki!??

Ekyenaku bakukyuusa essomero era saddamu kuwuliza bikukwatako, ate nga ne wamwe nali simanyiyo. Wandiba nga gwe eyali omutuufu, naye twaali bato nnyo okukuyita omutuufu. Ekisinga okunyiiza okimanyi? Sijjukira linnya lyo wadde nga face yo ngijjukiramu akatono. Wali mugezi ekyo nkijjukira bulungi.

Yonna gyooli mukama akuwe kyewetaaga mu bulamu.

Omusajja gwenasooka okwagala

Emyaka nalina 19 egy’obukulu, gwe musajja gwenasooka okunywegeera, omusajja gwenasooka okukiriza mu bulamu bwange. Wanjagalira mu siniya eyokuna nenkulindisa paka nga maze koosi, nkwebaza obugumikiriza obwo. Tewalina tabbu, mubutuufu sirina kyenkunenyako.

Nzijjukira nnyo nga twesuubiza eggulu n’ensi. Twalina ebirooto bingi, naye enganda zalinnya eggere mu ntegeka zaffe ate nange nesibeera mwesimbu kimala kulwanirira mukwano gwaffe. Nsonyiwa okuba nga nakuyiwa naye nze ndowooza nti zaali ntegeka za katonda.

Ku lw’emisingi gyeneterawo ng’omuntu, kankozese akakisa kano nkutegeeze nti ebyange nawe tebiriddamu kubeerawo. Siima busiimi kyetwalinako, osanyukire oyo gwolina kati nga nange bwenkola. Okwejjusa n’okwennenya kya busiru era kikolebwa batitiizi.

Nina obulamu obulungi nga nawe era bwolina obubwo. Ebyaliwo byaliwo tetusobola kubyerabira, ate era tetuteekeddwa kubizukusa. Olumu nziba ku budde bwange obw’omuwendo nenkulowoozako mu ngeri ekwagaliza ekisinga mu bulamu.

Bbanga lyonna olibeera mukwano gwange ow’obuvvubuka awatali kusinga awo.

Omusajja eyamementula omutima gwange

Wali musajja nakyemalira gwesirabangako. Omusajja alina buli kakoddyo akasobola okutengula omutima gw’omukyala. Wali munenne ate nga mu kaseera kekamu oli mumpimpi. Nanyumirwanga obuvviri bwo obwa kaweke nga bumyukirira, ng’olina amaaso agazannya obuzannyi naddala ng’ogatunuliza oyo gwotadde mu target zo, nali nyumirwa engeri gyewasekangamu ng’osulidde ensingo emabega ng’omwana omuto.

Wankuumira mu mbeera ey’okukulinda essaawa 24/7. Okukwagala sakozesa bwongo nagoberera mutima. Nakola kikyaamu, nawe wali mukyaamu.

Wali mu mukwano n’omuntu omulala ekintu ekyakulema okungamba olw’okweyagaliza kwo. Saali mukwano gwo, ye abaffe ddala ddala nali muganzi wo? Amazima ne kati sitegeera kika kya mukwano gwetwalina. Ye mpozzi nali ntegeeza ki mu bulamu bwo? Kyembuuza, nali nzannya ng’ani mu katambi k’obulamu bwo? Kyetwalina gwaali mukwano ku nze naye ku gwe kyaali kintu kirala nnyo.

Nkujjukira nnyo nga tuli mu kyenayitanga omukwano, ebigambo byo ebingi ebyansesanga. Ebyo byonna kati biri mu byayita naye mbijjukira bulungi. Wali wange, nkiddamu nti wali wange mu kaseera akatono ennyo.

Tewali wa mukyala mulala yenna, wali wange. Sisobola kwerabira obwakabaka bwetwaali tutegese okuzimba, nga nze nabakyala w’omulangira omusirusiru atalina ttabbu mu maaso gange. Sisobola kwerabira lubiri lwetwazimba nenerabira okukujjukiza okuluteekako olukomera. Naye sagala kunnenya nnyo kubanga singa nkikola, mba ngeyalemera mu koona mwewandeka. Amazima navvaawo era ndi mayiro nyingi okuvva wetwaali. Mu butuufu, nakusonyiwa era nange nenesonyiwa.

Obwagazi, okuyagayaga, okuziba amaaso gombi, byonna byaliwo wakati mukwagala. Ebyo busiru byonna byetwakola, kyonna kyetwaali tuwulira, obwagazi obwaali wakati waffe, tebikola makulu bwembirowoozako kati. Naye oba olyaawo kyetwalina nga kyebayita LOVE.

Omusajja omutuufu eyajjira mu kadde akakyaamu,

Nakumanya kikerezi. Walwawo naye oba wali ludda wa ebbanga lyonna lyenamala nga nkulinze? Wali musajja wa mulembe okuvviira ddala ku njogerayo okutuuka ku nkwatayo ey’ebintu.

Eddoboozi lyo ng’oyogera, n’okumweenya mu ngeri etali ngenderere, amaaso go amasirifu, n’engeri jewali ofaayo ku byenkola, byonna byaali bikakasa nti gwe musajja gwenali netaaga mu bulamu.

Nawandiika obutabo bungi mu mutwe gwange nga bwonna bulimu byenali nteebereza wakati waffe.

Ebigambo byange byonna byenayonoona nga njiiya ebitasoboka, kale singa nawandiikamu enyimba neziwulirwa abantu!?

Wali musajja mugezi nnyo, ng’oli mulungi okuzaama, nga wasoma ebitabo nokataga, efujjo ng’olina lingi mu butuufu nga nange nkiraba nti sikugwaana. Olumu negamba nti kale singa sakumanya oba! Wali mukwano gwange asingayo mu ngeri jesisobola kunyonyola. Mu mupiira waliwo kyebayita okusiba akapapula, nasiba obupapula bungi nga ndowooza nti nawangula, naye bwonna omuyindi yandya. Ebiseera byayita ng’oli kabaka w’omutima gwange, eky’omukisa omulungi oba omubi, obwakabaka bwalumbibwa era nebusesebbulwa bwonna okusaanawo.

Nzikiriza ekintu kimu nti twandinyumiddwa obulamu. Twandisomye obutabo gamba nga zinunula omunaku nga tuli mu buliri. Nebwetutandibadde na kyakulya, twandinyweddewo amazzi netusigala nga tuli basanyufu. Omukwano ogwaali wakati wa Birungi Tebikka Mirembe ne munne wa Mikolo, gwemukwano ogwandibadde wakati waffe.

Nze nawe banditugaseko erinnya eddala ‘Mukwano,’ kubanga ekyo kyetwandibadde: Bitontome, kuyiiya buyimba, kusoma oba kuwandiika butabo, kukola mukwano, ne ka chai akawoomu, byonna twandibikoze. Oba olyaawo olumu twandyemisizaamu ne ka wayini (wine).

Hehe…. Nawulira nti ennaku zino wayiga okunywa wine. Nze n’okutuusa leero, simunywangako.

Omusajja gwempita mukwano gwange

Ha, simanyi watuufu wennina kutandikira bubaka bwo. Naye manya nti nkuyagala mu ngeri esingayo obulungi.

Tufaanaganya ebintu bingi okutandikira ddala ku kufumitiriza. Nsobodde okuyigirako ebintu byesisobola kubala muwendo gwabyo. Endaba yaffe ey’ebintu efaanagana kumpi ebitundu 81%. Ondaze ekubo etuufu lyennina okugoberera n’ebyo byembadde simanyi nti mbisobola. Mu butuufu webale.

Okuvviira ddala ku lunaku lwenakutegeera obadde kitaala ekya kiragala mu bulamu bwange. Bulijjo negomba nkufaanane wadde nga sikyangu kuba oli mugezi nnyo. Mu bisinga okukunjagaza kwekuba nti olina amagezi kumpi ku buli kintu kyendowoozako. Buli mboozi gyendeeta ojjigattako omuwendo nesobola okutunyumira. Okusomoozebwa kubaddewo mu makati gaffe naye osobodde okusigala ng’oli ekyo kyooli jendi. Tolekangayo kunzizaamu maanyi buli lwondaba nga nafuwa. Omanyi byensobola, era ogezako nnyo okulaba nga mbirinyisa eddaala… Webale.

Amagezi go tegaliko kkomo, olinga ekitabo kyensinga okwagala okusoma, enjawulo nti gwe toggwaayo, ekikunjagaza ennyo. Nkuyita mukwano gwange, mu bantu bensisinkanye tolina akwenkana mu kunyumya ebinyuma.

Ndi wakukwenyumirizaamu ebbanga lyonna, era ndisigala nkwagala nga bwenakwagala awatali kukweeka kintu kyonna emabega. Oba olyaawo ekiseera kirituuka nga sikyakuwuliza, naye erinnya lyo lirisigala lya muwendo mu matu gange, era sirikwogerako kabi konna… nkusuubiza!

Omusajja omukyaamu mu buli koona

Kyantwalira ebyeeya n’ebyeeya okukizuula nti tewali musajja mutuufu gyendi era ng’obulamu bwange bwandiddoboonkanye nnyo nga tuli babiri mu bufumbo.

Buli lwensirika nenkirowoozako, sifuna nsonga wadde emu bweti ku lwaki nali nkulabamu omulamwa. Mu butuufu kyaali ki ekyo ekyakunjagaza ennyo? Sikiraba dear. Mu kusookera ddala ng’oyogera bubi awatali kulowooza ku balala, nga tolina kyewegomba mu bulamu, mu butuufu ebintu byo byaali bibbowa nnyo.

Lwaki nali nkufiirako? Nebwenfuna ebiddibwamu ebiringa obugulu bw’eggongolo, tebikola makulu kuba ekituufu nakwagala nnyo ng’omusiru bwakola. Nkyejjusa, nayonoona ebiseera byange bingi nga mpanjagira omukwano gwo, kumbe nga gwe walina omuntu wo bwemufaanya entegeera n’endowooza. Namala nenkitegeera nti mwaali mwegwaana. Ebyaddala nali sikugwaana, era nebaza katonda nti tetwalaga wala.

Nali ndi wakusiraanira mu mukwano gwo ogw’ekigayaavvu. Nandimaliriza nga nekyaaye olvvanyuma lwokufuuka omuntu gwewali oyagala okulaba ku lusegere lwo.

Wali mukyaamu nnyo musajja gwe!

Omusajja gwenasanga ku facebook

Ebitundu 10% byenkumanyiko, wali/oli musajja musufu. Ku nsi buli muntu alina emisingi jjeyeterawo okusobola okumalako ne dduniya eno. Nsisinkanye abasajja bangi abalungi ku facebook, naye sirina gwenali nsisinkanye mu buntu ku nsonga z’omukwano; nga gwe gumu ku misingi kwentambulira. Bensobodde okusisinkana mu buntu balinga babiri oba basatu ate nga nsonga za mirimu oba okwegwako bugwi mu kubo nga tutambula.

Kino tenkifuula wa njawulo ku bawala abalala oba olukowooza nti neraga bwerazi, naye nga bwenkugambye, nina endaba yange ey’ebintu nga ya njawulo ku yiyo oba ku y’omulala. Nzikiriza nti nagenda ku facebook nga sinoonyako muntu wakwagala newankubadde olumu byempandiika biwulikika ng’omuntu ayagayaga mu mukwano. Byempandiika ku kibanja kyange ekya facebook, tebirina kakwaate na bulamu bwange. Nkopa, nimba, njiiya n’okufumitiriza, era ngezako okuwandiika ku lw’abalala. Bwoba onfuna mu ngeri enkyaamu olw’ebyo bye mpandiika, mukwano gwange netonda.

Nnina mikwano jange bangi abasajja benfiiriddwa so no nga baali bantu balungi, era nga nawe bwenakufiirwa oba bwenyinza okufiirwa. Sikunnenya okuba nga wasalawo okunsaangula mu mikwano gyo, oba okuba ng’ogenda kunsaangulamu akadde konna; mukwano gwange oli waddembe okukola ekyo ekikuwa eddembe.

Nandiba oluusi nsaagirira nnyo nenkuwa esuubi eritaliyo, naye manya nti nze obulamu mbulaba nga bukalubu nnyo so sandyagadde kwongera kubukalubya mu ngeri ey’okwefuula siriyasi buli ssaawa. Nsonyiwa okukuyimiriza amatu mu ngeri ey’olusaagiriro nga nkimanyi bulungi nti tetulina mulamwa gwonna okuleka okwejjubisa.

Mpozzi n’ekirala, bwemba nali nkugambye nti I LOVE YOU, nkulayirira nti nali mukakafu kw’ekyo. Okutereezaamu akatono, nakwagala oba nkwagala naye,,,,,, siri mu mukwano nawe. Era sisuubira nti mu kamwa kange mwaali mufulumyemu ekigambo “ndi mu mukwano nawe.” Okwagala kya njawulo ku kubeera mu mukwano n’omuntu. Ate eramwatu nawe wanyiigira bwerere, wali onjagala bwagazi nga tobeerangako mu mukwano nange. Omukwano ky’ekimu ku bintu byempa ekitiibwa, nze sirina ngombo ya KATUNYUMIRWE okuleka okukola ekyo kyempulira ku mutima ne mu bwongo.

Sijja kwegaana nti sigwangako mu mukwano n’omuntu omu ku facebook, namatirako omuntu omu naye tebyakola era tetulina wetwatuuka wadde okusisinkana. oba olyaawo nga byaali bya kisiru era!

Manya kimu nti oli mukwano gwange wadde nga tuyinza okuba nga tetukyanyumya. Bwendowooza ku mikwano gyennina, ekkumi erisooka mwooli era ng’erinnya lyo livvugira mu matu gange.

Nkwagala nnyo munange, era nga togwaanidde kunkyaawa otuuke n’okubuuka byempandiika oba okunzijja mu mikwano gyo.

Oli musajja wa mulembe, osikiriza amaaso, oyogera bulungi, oyambala nonyuma, naye munange nze nkuwa buwi kitiibwa era nensiima kyonna kyooli eri omukyala eyakwagala. Yesiimye yateeba eddeenzi.

Akatalekeka, ondaba bulabi mu bifaananyi naye sibwentyo bwenfaanana. Ate nebwemba nga mbifaanana, siroondebwangako mu mpaka z’abalungi, ekitegeeza nti ndi wa bulijjo ng’abawala oba abakazi abalala bolaba eyo. Nnina obunafu bwange ng’omuntu bwesigenda kutimba ku face yange nga nekuba ekifaananyi, kati wefuge mukwano gwange tusigale nga tuli ba kyapiri.

Nkwagaliza kisinga mukwano gwange!

Omusajja gwempita omutuufu mu birooto

Nkulindiridde okumala ebbanga ddene kati. Nakuteekako amaaso gange, nga nkwegomba mu buli kyokola, essaawa eno sikyakwegomba wabula okukwagala ebyaddala.

Nkimanyi nti gyooli wefudde busy n’abayaaye ba laavu mu kibuga, naye nkusaba okimanye nti jendi eno nkulinze era nga sirikunnenya mu nsobi zokola kati nga tetunalabagana.

Oli musajja mukozi nnyo, emikisa gy’okufuna gikutambulirako kubanga nkukulembeza mu ssaala zange buli wenfunidde akakisa.

Nze nawe katonda yatugatta dda wadde nga tetunasisinkana. Jempise bizibu bya kunyonyola kubanga kirabike byonna bigaana lwakubeera gwe.

Nesunga olunaku lwetulisisinkana awantu awatali atulaba okuleka omutonzi eyatukwasaganya edda.

Ninze olunaku lwetulitambula ng’onkutte ku mukono nga byetulaba mu buzannyo. Olunaku lwolingamba nti wano wannuma nengezako kyonna mu busobozi bwange okukakannya obulumi bwo. Olunaku lwendikulaga byonna ebinyumira. Ohh, mukwano gwange, emunnyeennye yange emu bweti ku gulu.

Njakusisinkana mu bwangu ddala. Nsubire, mu dduuka eritunda obutabo obunyuma okusoma, ku kisaawe ky’enyonyi, oba nga tutambulatambula ku lusozzi okutali muntu mulala yenna, enkuba bweriba etonnya ndikusanga wansi w’omuti nga wegamye. Buli kimu kirikola amakulu awatali kusumbukana na bibuuzo.

Hahahaaa…. Kati mukwano gwange oli abadde alowooza nti ndi siriyasi! Naye tekirimu sitaani kufumitiriza ku muntu gwewandyagadde mu bulamu bwo. Omusajja gwempita omutuufu mu birooto, alisigala mu birooto paka kuba taliyo.

Digiqole ad

Related post

2 Comments

  • Nkakasa omusajja gwe wasanga Ku Facebook ayimba nti; “Mpulira gusinze nze
    Okujja mu bwa kabaka bwo nonsiba engule ya senyenge.”

    • Kale singa nina bu emojis nenseka ng’omusiru!
      Leka nawe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *