Obufumbo bwa leero, buwangaala nnyo ng’omusajja omutaddeko munne!
Ngenda kulabika ng’awagira obwenzi mu maka, abasomi bo bagenda kundaba ng’omugweenyufu, naye byonna sifuddeyo. Admin ne tiimu yo mbalamusizaako bya nsuso nembebaza gyonna nti mwebale kutuleetera miramwa egy’enjawulo. Eno y’emboozi yange wammanga.
Nze maze mu bufumbo emyaka etaano, ng’era okusobola okuwangaalayo, namala kusala magezi gano. Mu ddya lyange eryasooka namalayo omwaka gumu gwokka, ssi lwabutaagala bufumbo wabula embeera za baze zampaliriza okusibamu ebyange. Gwe ate omusajja eyali tateesa, obwenzi nga bwamufuukira obwenzi, ate nga tatya kukikulaga nga bwalinayo malaaya. Ejoogo, okuyomba, n’okunswaaza nga buli olukedde mu bakyala bannange, byonna awamu byannemesa amaka genali njagala ennyo.
Laba bwenfuna eddya epya, omwami ssi mubi, ssi muyombi, ssi mukopi, ssente alina, wabula akaze tekebulizayo, abasajja bonna balabika bayonka ku limu, omusajja ayenda okubula okwekutula, bwojja nti akola kunonyereza mu bitundu by’abakazi ebimu!
Nalowoozamu ku ky’okunooba nera nzire ewaffe, naye nenebuuza muli nti nakolanga gwakusiba ngugu kuzziza wa ssebo luno na luli? Laba tuba tuli ne bakyala bannange mu mboozi nga tunyumyamu, omu naleeta eby’okwogera ku ba bba ffe nebyebatukola mu maka, mukyala munnaffe eyali atusinzako emyaka mu bufumbo, kyaava abotola ekyaama ekimukuumidde mu bufumbo ng’ate alabika bulungi.
Nyabo ng’omukyala gwetuteendereza okukuuma obufumbo bwe, alinayo ki Emma ebbali ekimusangula amaziga, buli bba we lwamuyisa mu ngeri etali yabwenkanya. Nze bwenawulira ebyo, ko nze nti otyo, ate gano amagezi bwengasuula omuguluka, awo mba njuliridde kunoba enkya n’eggulo. Wenjogerera bino aaah, obufumbo bwange buteredde enteende, nefunirayo ki Fuleedi bwetukwasaganya ensonga ng’omwami bamuloonze ekkubo.
Anti bagamba nti atakulekera naawe tomulekera, buli Taata w’abaana kyankola ndoopera Fuleedi ng’obulamu bwanguwa, ngenda okulaba ng’omwaka guweddeko ate nga nkwata mulala mu bufumbo… Emyaka kati nkunukiriza mukaaga mu ddya nga sinoba, obufumbo kati bwawewuka era n’amaka ganyanguyira okuddukanya. Anti eby’okububa, okulumwa omutimwa buli kadde, byonna nabiwona.
Kati abasomi bebamanyi kyebanampita, naye nze nsigala ku mulamwa nti omusajja bwaweta ekoona, nga naawe oweta ensonda, gwe omuntu alikomya wa n’okukaaba amaziga agabuli kakedde? Leka oti nkuume obufumbo bwange mu ngeri yonna esoboka, nanti nobwa nakyeyombekedde ssi bwangu, ebweru wanyiga!
Abasomi baffe abalungi, eyo mboozi ya musomi munnaffe omu, ki kyoteesa ku mboozi ye? Kozesa akabangirizi ako wammanga (comment section) tukubaganye ebirowoozo.
Webale!
1 Comment
Hello
I wish to have a private business discussion with you that involves millions and this would be of a great benefit to both parties if handled well.
Kindly get back to me with your phone number for more details.
Thanks,
Williams Delar
Wdelar@w-private.com