• November 21, 2024

Obukyaayi wakati bannazaala n’abakamwana buvva wa?

 Obukyaayi wakati bannazaala n’abakamwana buvva wa?

Okusaanga Nnazaala nsaanga amalaalo!

Bigambo bya mukazi omusirusiru.

Nakula mpulira nti enkolagana wakati w’abakamwana ne ba nnazaala tetera kubeera ya mulembe mu bantu abasiinga obungi. Naye kino tekigyaawo mazima nti waliwo abakamwana abakolagana obulung ne ba nnazaala babwe.

Bano baali basatu; maama, omutabani, n’omukamwana. Omutabani yali abeera ku kibuga n’omukyala nga balina abaana babiri. Maama w’omulenzi yali abeera eyo mukyaalo wala ddala.

Lumu nnazaala ng’asituka okuvva mukyaalo okujja mu kibuga abeereko ew’omutabani ng’alina ebimulumaluma. Mbu yali yafuna omusawo mu bitundu bye mityana, ng’ayagala agire ng’abeera ewa mutabani we nga wavva okugenda okufuna eddagala. Kino yali wakukikolera mbu mu bbanga lya mwezi gumu amale adde ewuwe.

Ekituufu ssiri mukakafu oba ddala maama yali wakuddayo oluvvanyuma lw’omwezi, kuba omukamwana yagamba nti bwatyo n’emabega bweyabakola bweyasalawo okubeera nabo okumala ebbanga kumpi lya myezi mukaaga nga tayagala kuddayo mukyaalo.

Okubeera nabo nze sakirabamu buzibu, newankubadde nti baali mu nyumba ya kisenge kimu, omwezi nagulaba ng’omutono nga kyangu okumugumikiriza.

Embaga weyagyira, ye mukamwana eyali tayagala nnazaala abeerewo yadde okumala olunaku, kyokka neyesaanga mu mbeera nga talina kyakukola kuba omwami yali akiriza nnyina okubeera ewaka nga waavva okugenda okulaba musawo we.

Omukamwana yatandika okuyomba nga buli lunaku, ng’akuba obuyimba obujeregerera nnazaala, ng’ewaka balinga bakazi bajja. Olumu bayomba nnyo buli omu nalangira munne obusiru, nekafankunaali yenna atanyuma. Nnazaala yatuuka okukuba amabeere ku ttaka mbu akolimira mukamwana obutafumba mu maka ga mutabani we!

Sisobola kwerabira lunaku lumu, oba omukamwana yamatiza atya omutabani (bba we) maama olwakwata akasawo ke okugenda e mityana, ng’omukyala n’omwami basitula bintu bye nga babifulumya mu nyumba okubiteeka ku kabalaza, nga bambala kwolekera gyetutamanya. Maama yagenda okudda ng’enyumba eriko ekkufulu bbiri, era nnazaala yasula ku kabalaza okutuuka ng’obudde bukedde. Ekisinga okunyiiza oba okukwasa enaku nti omukyala yaleka awoninze balirwaana nti tewageza newabako asuza omukadde, bakikoze bagala addeyo mukyaalo.

Nnazaala yakaaba amaziga, ng’okumutunulako omenyeka omutima. Ebintu byaali bingi nnyo ebyayogerwa ku bantu bano abasatu; maama, omukyala, mpozzi n’omulenzi.

Ebyo byonna wagulu mbikuwadde nekubidde ku luuyi lwa mukyala nga nkulaga nsobi zeyakola ku nnazaala we. Naye bwenzirako emabega, maama naye yalina ensobi ze ng’omuntu. Situagaanye yali ayagala kusinziira nga wano agende mu ddwaliro, naye gwe bwolaba nga wooli toyaglwa, lwaki oba tonoonya magezi malala? Maama ng’ayimirira ku magulu ge neyevvuma n’omukamwana nga ku bmbi onoonya alimu ku magezi nga tomulaba.

Omutabani naye, olunaku lweyaggala enyumba nagenda n’omukyala n’abaana baabwe ngeri yakugoba maama, naye yannewunyisa. Gwe nogenda gyolaze yonna, nebakwaniriza era n’okuba oluboozi ng’okimanyi nti maama agenda kusula ku mugalo!!!!!

Naye mu byonna, wenjogerera amaka gasatuluka oluvvanyuma lw’emyezi ng’enna nga maama abavviridde. Bayawukana bubi ddala buli omu nakwata erirye. So nno omukyala abantu bamugambanga nti omukadde oyo amaziga g’akaaba ssi ga mirembe, naye omukyala yawakananga buwakanyi nti ye tatya bikolimo bya kisiru!

Nga bwotuula okuwuliriza omukyala ono mukamwana, tewaliwo nsonga y’amaanyi eyabavviirako obutakwatagana ne nnazaala we.

Kino nekimpa akadde akazibu nga nebuuza obuzibu webuvva wakati wa nnazaala n’omukamwana!

Ekibuuzo:

Lwaki enkolagana eba ntono wakati nnazaala n’omukamwana mu bantu abasiinga obungi? So nga ate omukamwana yandikoze kyonna okusobola okusemberera omutima gwa maama azaala olulenzi.

Digiqole ad

Makanga Abubakar

https://gpraxy.com

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *