Okimanyi nti wandiba oli mu mukwano omukyamu?
Omukwano guvvunulwa mu ngeri ya njawulo okusinziira ku bantu abali mu mbeera ez’enjawulo. Omuntu omubuuza nti omukwano kye ki? Nakugamba, nze njagala nnyo maama wange kubanga ye mukwano gwange asinga. Omulala nakugamba, nze njagala eesimu yange kubanga ye buli kimu jendi. Ate omulala n’obuuza, nakunyumiza nga bwayagala ennyo abaana be kubanga be boka abasobola okumutegeera.
Ebyo biddibwamu kubanga abantu bebalama nnyo ensonga ezikwatagana ku mukwano oguli wakati w’omusajja n’omukyaala. Mu bafumbo abagalana, omukwano kitegeeza bwesigwa na kwewaayo. Ate mu bavvubuka abali mu myaka emito nga bakatandika eby’omukwano, omukwano guwulikika nga muzibu ddala. Mu bantu abakulu abatagadde mu mukwano, abamu omukwano bagulaba nga geyena ya ku nsi… Kiri kityo kubanga kyabutonde omuntu okukyaawa ekyo ekimulumiza.
Etuluba lyonna lyogwamu, oba olina gwoyagala oba nedda, kyeragirawo nti buli muntu alina kyategeera ku nsonga z’okwagalana, era ng’osobola okwawula omukwano omutuufu ku mukyamu.
Obubonero 10 kwolabira nti oli mu mukwano omukyamu.
- Ng’omuntu alina ebbuba eritalina alina. Okuwubira gwoyagala kyabutonde naye bwekisuka wekirina okukoma, awo gubeera tegukyali mukwano okuleka okweyagaliza. Omuntu bwatandika nga buli kadde ayagala amanye ani gwonyumya naye, ani akuwereza obubaka ku ssimu, bokola nabo ku mulimu… (Atandika okwekwasa mbu, anti oli muwala mulungi sagala osekere muntu mulala yenna si kulwa bakunzibako. Osobola okuleka omulimu?)
- Ng’omuntu ayagala akutegerere mu buli kimu; ng’akufuula kataala. Omuntu ayagala okutegeerera mu buli kimu abeera muzibu wa kwegendereza. Takuwa kakisa kukola kyotegeera oba kyoyagala…. (Atandika okweyogeza mbu, olw’okuba nkwagala nnyo njagala buli lwenkomawo ompe essimu yo ndabe bobadde onyumya nabo ku facebook, munange abafere bangi ennaku zino si kulwa bakubba.
- Ng’omuntu ayagala okukkusa wansi. Waliwo abantu abamu ng’anyumirwa nnyo okukulaba ng’owewuka mu balala. Abantu abalala bayinza okuba nga bakutenda obulungi nti era oli mugezi nnyo, nga ye ayagala okusabulula ekyo kyebakumanyiko… (Ono ye muntu akupangira olukwe nakuletera mikwano gye ewaka ng’oyambadde otyotyo. Omulala ayinza okukutwalako okukyakala ng’olowooza nti muliyo mweka, kumbe alinayo baganda be ayagala abalage nga bwotamanyi kuwuga wadde weyita owakabi.)
- Ng’omuntu tayagala osisinkane mikwano gyo oba ab’enganda zo. Omuntu bwati abeera yeyagaliza yekka. Oluusi abeera alina byakukweeka ng’alowwoza bwanakugobako emikwano n’enganda, tolibizuula…. (Afuna byeyekwasa mbu, mukwano olaba, mikwano gyo tebakunjagaliza era tebagala tubere ffembi. Bwoba onjagala, begobeko n’essimu zaabwe toddamu kuzikwata.)
- Ng’oli n’omuntu atakusanyukirako mwebyo byofunye oba byotuuseko. Batera okwewolereza mbu omukazi bwomulaga nti mugezi nnyo , afuuka ekirala… (Bwogula olugoye olupya n’atandika kulumiriza nga bwolinayo omusajja omulala era nga yalukuwadde. Bwobeera omusajja nonyumiza ku mukyaalawo nga mukama wo bweyakwongeza omusaala, ng’atandika “era bulijjo bangamba dda nti oyo omukazi akwekolezako, kati ndowooza wamaze ku mwebakako.”)
- Buli kadde nga gwe avvuanaanibwa ku ssanyu ly’omuntu wo. Kituufu nti olina okubeera ensulo z’essanyu eri muno, naye si buli kadde. Waliwo lwekibeera nga buli omu avvunaanibwa bubwe okubeera omusanyufu. Omuntu singa atandika okukuvvunaana nti lwaki tomuwa ssanyu ng’ate omulaba Si musanyufu, awo obeera oli mu buzibu bwenyini… (Olw’okuba oli mukazi wange, nfunye olunaku olubi ku mulimu jangu onsanyuse. Kati watya nga nange nfunye olunaku olubi ewaka?)
- Ng’omuntu akola ebintu ebikutiisa ekisembayo. Olw’okuba ayagala mutunde ettaka ate nga gwe tokiwagira, nagula obutwa nabutabulira ku meeza, nakumba nti bwotakiriza ngenda ku bunywa nfe… (Anti munange bwoba toyagala kukola kyenjagala kitegeeza obeera tonjagala, awo wakiri nfa nosigaza emirembe.)
- Ng’omuntu si mwesigwa. Omuntu atali mwesigwa si mwangu wakubeera naye. Omuntu bwati ye muntu nga mwenzi, omuntu akulimba buli kadde. (Bewolereza nnyo mbu, anti munange omukazi yankwata bukwasi nali ngaanye.)
- Ng’omuntu takiriza nsobi ye wakiri eyite buyisi naye nga tomunenyeza. Omuntu bwati wakiri aleeta ebirala mu kadde kekamu otere ovve ku ky’obadde omunenya ate omusasire… (okugeza, osobola okuba ng’omunenya ku ky’okutambula amatumbi budde ate nga ku mulimu avvaayo bukyali. Olwo ng’atandika, bankubidde nti maama mukyaalo mulwadde nnyo. Awo obeera tolina kyozako okuleka ate okumusasira.)
- Nga buli lwobeerako ensonga gyoyagala okwogerako akutiisatiisa. Omuntu eyekambuwaza buli lwobeerako kyomubuuza tabeera mutuufu gyoli. Ensobi ezikolebwa wakati wamwe zitekeddwa okwogerebwako era nemusala amagezi mwembiriri. Naye waliyo omuntu akusobera nga buli lwobako kyomunenyako oba okumubuuza, ayagala kukuba bukubi…. ( Babeera bakambwe mbu, wano nze afuuga era tolina kubako kyombuuza. Bwabeera mukyala, nga buli lwobako kyomunenya, akuwoleza kimu nze nja kuvvira ngende si gwe weka anjagala.
Obubonero 10 kwolabira nti guno omukwano ndi ku katuufu.
- Mutambulira wamu. Okubeera n’omuntu omutuufu mu mukwano buli kimu kibeera kya ddembe, tewabeerawo mbeera ya kukaka wadde okuwaliriza.
- Okufuna obutakanya ne mutegeeragana. Okusowagana wakati wa babiri kya bulijjo era tekirina buzibu kasita mubeera nga mukanya. Eky’okubeera nti mwagalana tekitegeeza kuwagira kibiina kya bufuzi kimu, oba mwembi okuwagira Arsenal mu mupiira. Ng’oli mu mukwano omutuufu, musobola okwogera ku nsonga yonna jemutakirizaganya naye nemusigala nga muli basanyufu.
- Ekisa wakati wamwe. Omuntu gw’oyagala tosobola butafuna kisa ng’anyolwa. Olw’okuba nti mubeera muzimba mukwano gwa lubereera, omu afuuka kitundutundu kya mune nga nebwaba omu asobeza, okusonyiwa kibeera kyangu.
- Buli kaseera ke mumala mwembi liba ssanyu. Bwoba tonyumirwa kubeera kumpi n’omuntu gwoyagala nga gwe omwagala mu buliri mwoka, ogwo omukwano gwaamwe mbeera simanyi jegulaga. Omuntu gwoyagala ateekeddwa okukuwa essanyu nga muli babiri. Leka obunkenke bubeere mu mutima ng’otya okumulaba ng’akusibuulla agaenda.
- Mu mukwano omutuufu buli muntu avvunaanibwa lulwe. Newankubadde mwagalana nnyo okuzaama, toteekeddwa kwetika buvvunaanyizibwa bwa muno ku bigambo bye yayogedde oba ku misango gyeyako. Mbu olw’okuba nkwagala nnyo, nze banzigalire mu komera ku misango gwe gyewakola… Nedda.
- Ekitiibwa wakati wamwe. Mwagalana awatali bukwakulizo, nga ne bwekityo muteekeddwa okuwangana ekitiibwa. Mu mukwano omutuufu, kitegeeza kuwa ndowooza ya muno kitiibwa oba okussa ekitiibwa mwebyo byayagala. Katugeze tuli ba nzikiriza za njawulo, oli mukatoliki ndi mulokole, siteekeddwa kiririza mu bifaananyi bya bikira Maria byewaleeta munju, naye nteekeddwa okubissamu ekitiibwa nga sigenda ku bisuula wabweru.
- Okwetengerera. Mu mukwano omutuufu, omuntu aba asobola okubeera ekyo kyaali, oba okwogera ekyo kyatayagala. Singa oba toyagala kukola kintu, yogera nga gwe awatali kwetoloola nti ate bwenagaana, bagenda kunkyaawa.
- Omukwano omutuufu mazima ge gakulembeera. Okutegeera muno obuvvo nobuddo tekirimu kabi, era tekirina wekikugaanira ku mwagala. Lwaki ogaana okumbulira ku bikwatako ng’owoza njagala nga bwondaba.
- Okubeera kyenkanyi. Emirundi egisinga kino bwokyogera wano mu Afria, abantu balowoza nti otegeeza bakazi kwambala mpale, bakazi kukola biteekeddwa kukolebwa basajja. Nedda, omukwano okutambula obulungi, muteekeddwa okutambulira awamu nga teri aleka mune. Kasita mukitegeera nti mwembi muvvunaanyizibwa kyenkanyi ku mukwano gwamwe okutambula obulungi, muwangaaza omukwano ogweyagaza.
- Buli omu okubeera n’eddembe okwesalirawo ekyo kyassubira okubeera ekituufu. Omuntu yenna ayagala okwetegeerera okuleka nga yakusabye nti munange wano kigaanye. Lwaki oyagala negobe ku mulimu mbu sigya kugusobola, ate nga nze ndaba ngusobola?
Endowoozayo kya bugaga kyo. Wama gwe olabira ku ki nti omuntu ono si mutuufu oba mutuufu? Ninze kuwulira ndowooza yo.
1 Comment
Kituufu nnyo