Olina akwegomba oba gwewegomba?
Olina gwewegomba oba akwegomba?
Abakwegomba oyinza obutabamanya, naye nkakasa omanyi abo bewegomba. Abasinga ku ffe twegomba nnyo bakadde baffe, Ab’enganda zaffe, mikwano gyaffe oba abo betwakula nabo mu buto.
Okumanya nti omuntu ono anegomba, kizaamu amaanyi okusobola okusigala nga tuli ku mulamwa. Kirungi okwekubamu tookyi netulowooza kwabo abatwegomba na butya bwetuyinza okusigala nga tukola ebyo ebibaletera okutwegomba.
Okubeera n’abantu abakwegomba kye kimu ku bintu ebisanyusa ennyo mu bulamu bw’ensi. Abantu Abazimbye amannya tubegomba nnyo olumu nga tetumanyi na mbeera zaabwe za buntu. Kati tebereza omuntu gwobeera naye oba gwolaba kumpi buli lunaku, naye nga akutwala ng’ekyokulabirako oba ng’akwegomba. Tewali kuwanaanya nti obeera weyisa bulungi nnyo gyaali oba ng’okola ebyo ebimusanyusa.
Okwegomba omuntu tekitekeddwa kuba ng’omwagala bya laavu (buliri), nedda. Nsobola okwegomba mukyala munange olw’ebyo byensubira nti ansinga oba byakola nga sisobola kubikola. So nga ate, n’omusajja nsobola okumwegomba olw’amagezi gateeka mw’ebyo byakola. Olumu tukikwata bubi, ng’omuntu olukulaga nti akufaako oba akwegomba, ate nga gwe otandika kumera amalala na kwetwalira wagulu.
Okwegomba ka tukwawulemu emirundi ebiri; okwegomba omuntu olw’ebyo byakola, n’okwegomba omuntu ng’omulinako laavu…
Newankubadde nga kyangu okutegeera omuntu akwegomba olw’ebyo byokola oba okukumatira ebya laavu, olumu bibuzabuza nolowooza nti aaah byabulijjo.
Wano wenjagalidde okukugyirayo obumu ku bubonero bwolabirako omuntu akwegomba eby’omukwano.
Obubonero kwotegerera omuntu akwegomba.
Akumwenyeza ebituufu nga binyuma.
Akamu ku bubonero kwolabira omuntu akwegomba, abeera ayagala nnyo okumwenyeza ebinyuma. Waliwo okumweenya okwekimpatira, naye kuno kubeera kumwenya okuvva ku mutima. Eky’okulabirako, singa obeera olina byonyonyola mu lukiiko, omuntu abeera akumwenyeza mu ngeri eraga nti ategede nnyo byonyonyola. Era olw’okuba nti akwegomba, byoyogera byonna abiyingiza buterevvu mu bwongo.
Omuntu oyo asobola okukwewala oba okuwulira ng’aswaala buli lwabeera okumpi nawe.
Abasinga ku mwe kyenjogerako wano mu kitegeera bulungi newankubadde olumu kibuzabuza. Bwoba olina omuntu atamuka bulungi ng’akuli kumpi, oba nga buli wotuuka waali ye avvaawo, omuntu oyo abeera akwegomba mu bubba.
Yawula omuntu akwewala olw’empalana gyakulinako n’omuntu akwewala naye ng’akwagala.
Omuntu akwewala ng’akwagala asobola okukola bino wamanga.
- Akusekera mu ngeri yakwebuzabuza.
- Akwogerako birungi byerere wotali.
- Afuba okukolera ebirungi naye nga tayagala okimanye.
- Bwagezako okwekaza ayogere nawe, ebigambo bimubula natandika okunanaagira.
Ebyo byonna wagulu bubonero obukulaga nti omuntu ono akwegomba oba okukumatira naye nga tasobola kwasa kyaama.
Omuntu akwegomba abeera mu kubbirira maaso atere agatomeze agago.
Ku bubonero bwonna kwomanyira omuntu akwegomba, kano ke kasooka. Omuntu akwegomba asobola okukwewala naye buli wafunira akakisa akakutunula mu munye, akakozesa ate mangu ddala natunula wansi oba okwebuzabuza… Eky’okulabirako nga muli ku mulimu;
- Omuntu akwegomba akutambulizako amaaso buli lwosituka oba ng’oyingira akasenge mwaali.
- Buli lwobako kyomubuuza, akuwa akadde nakakasa nti otegedde bulungi kyobadde omubuuza.
Wadde muli ku mulimu, mwagenze kukyakala, oba muli mu banganda, omuntu omulala asobola okukubulira nti gundi ono alabika akwegomba nga yandiba akutya buti.
Bakiriziganya na buli kimu kyoyogera oba kyoteesa.
Bwoba onoonya okutegeera muntu akwegomba togenda wala nnyo, omuntu akusiima mu buli kyoteesa kabonero kamu akategeeza nti akukiririzaamu mu ngeri y’okukwegomba. Naddala mu biseera bino nga buli muntu ali ku lulwe tayagala kumanya, kizibu okunyumya emboozi n’omuntu nemutawunzikira mu kuwakana oba okubijjamu entondo.
Kati bwofuna omuntu ow’enjawulo ng’oyo nga buli kadde abeera ku luuyi lwo oba okusiima endowooza yo, wadde nga alina endowooza esinga ku yiyo, amazima osaanira okwesunako. Omuntu akwegomba afuba okulaba nti ategeera ensonga lwaki obadde olowooza otyo.
Abeera ayagala nnyo okukola ebikusanyusa.
Ffenna tunyumirwa okuseka oba okuwulira ebyo ebisanyusa, naye omuntu akwegomba ayagala nnyo okubeera ensulo z’akamwenyumwenyu ku matama go. Omuntu bwaba asaagira nnyo woli, era ng’alinda okulaba bwoseka, kiriza oba gaana nti emikisa mungi omuntu oyo okuba ng’akwegomba.
Abuuza ebikukwatako okuvva mu bantu abakumanyi.
Kano nako kabonero ka nkukunala okusobola okutegeera omuntu akwegomba oba akwegwanyiza. Olw’okuba nti akwegomba mu ngeri ya kyesirikidde, asobola okufuna abantu abo abakumanyi obulungi nababuuza ebikukwatako; abantu bano bayinza okuba mikwano gyo, ab’enganda zo, oba bokola nabo ku mirimu. Ayagala kafankunaali yenna akukwatako, wadde nga ku gwe oyinza okukiraba ng’ekyobutalimu, naye munda muli omala notegeera ekigendererwa kye nti si kibi.
Bwekituuka ku mikutu gya sosmediya, abeera agobererea buli kum kyokola.
Omuntu akwegomba omulabira ne mikutu gya sososmediya, mu ngeri nti buli kyotimbayo abeera omu ku basooka okukyagala n’obubaka obukususuuta. Kino kyesigamiziddwa ku butya bwowulira gyaali, nga singa atandika okukisusa, awo abeera akumazeko emirembe.
Ayagala nnyo okumanya ebikufuula ow’enjawulo gyaali.
Omuntu akwegomba ayagala okumanya lwaki akumatira nnyo era ki ki ekyo ekikufuula ow’enjawulo gyaali. Olw’okuba nti abeera asisinkanye abantu ab’enjawulo naye nga gwe ofuuse kusomooza mu bwongo bwe, atandika okwagala okumanya ku bi ki ebikufuula omusajja oba omukazi ow’enjawulo gyaali. Mu bulungi wesuneko bwesunyi nti oli wakabi eri omuntu omu.
Omuntu akumatira anyumirwa nnyo okwogera nawe ku buli kimu ekiri wansi w’enjuba.
Bwobeera toyagala muntu omu, teri kinyiiza nga kubeera kumpi naye, oba ng’akubuuza ebibuuzo byolaba ng’ebyekisiru. Twagala nnyo okubeera okumpi oba okwogera nabo betwegomba, kubanga ebigambo byabwe bibeera bya muwendo gyetuli.
Omuntu akwegomba abeera ayagala okuwulira endowooza yo ku bintu ebigenda mu nsi, oba ku butya gwe bwotaputa byolaba.
Kino kiteeke mu mutwe gwo: Sigambye nti omuntu atakuwa kadde kunyumya abeera takwagala, nedda munange. Ensi gyetulimu etutwala misinde, ng’oluusi ayinza okulabika ng’akwewala naye nga si bweguli.
Kyatutonderwamu ng’abantu okuwulira obulungi omuntu omulala ng’asiimye okufaayo kwo. Omuntu akwegomba bwomuyisa mu ngeri etamulengeeza oba okumunenya ku lwaki akwegomba, kimuzaamu amaanyi era nawulira nga mutuufu awo weyetaagisiza okubeera.
2 Comments
Webale omulimu
Kale ssebo.