Olumu kikwetaagisa akadde akawaanvu nga tonavviira bikulumya.
Omutima gwo gulimu enjatika ezagutuusibwaako abantu abataali balungi gyooli. Simanyi kituufu ki ekyatuukawo, naye omutima gwo gwetaaga omukwano okuvva munda mu gwe kenyini. Ki kyentegeeza mu kino? Eky’okuba nti wamenyebwa omutima tekitegeeza nti tosobola kweyagala! Osobolera ddala okuziba enjatika eziri mu mutima gwo nga welowoozaako mu kusooka.
Waliwo ebifo bingi byoteekeddwa okugendamu kubanga ogwaanira omukwano ogusaangibwaayo, singa oba wewadde omukisa. Ojja kutegeera omuntu agwaanira omukwano omungi gwolina. Ojja kutegeera omuntu agwaanira okubeera mu bulamu bwo nga si bya kusika muguwa. Bambi, toleka muntu mulala kukuleetera kuwulira nti togwaanira kisinga mu nsi y’omukwano. Ffenna twatondebwa n’obusobozi obwagala mu mitima gyaffe.
Mu butuufu simanyi ki ekyatuukawo ku mutima gwo, naye genda mu maaso n’okwagala okuli munda mu gwe. Omukwano gwo gulabibwa abo boguwa newankubadde tebagufunira mu bungi bwogugabiramu.
Kirungi okufuna omuntu omulala akwerabize obulumi obukutuusiddwako, naye bambi, kikuumire mu bwongo nti tekirimu sitaani yenna okumala obudde obuwaanvu nga tonagenda mu maaso na bulamu bwo. Okumala gawaayo omutima gwo kubanga odduka bulumi, kya bulabe nnyo munange. Kirungi okusooka nowumulamu ku by’omukwano nga bwofumitiriza ku biki byogwaanira mu bulamu. Ensobi zewakola ku muntu bwemwawukanye zirowoozeko, era okole enteekateeka ennungamu ku butya bwonamalako n’omuntu omupya awatali kuddamu nsobi ezo. Twala obudde bwonna bwewetaaga nga tonatomera muntu mulala, kubanga ogwaanira essanyu erisingiridde. Okulumwa si musango gwo, abaakulumya bebavvunaanyizibwa.
Topapa nakubeera ku bunkenke bwakufuna muntu mulala. Nkimanyi nti olumu owulira nga kikwetaagisa okufuna omuntu omulala. Nkimanyi nti kiruma abantu bonna abakwetoloodde nga balina abagalwa naye nga gwe oli bwa peke. Oba oli awo ng’olumu kiwulikika ng’ensi yonna egudde mu mukwano kyokka nga gwe obwoomu bukutta, era nga webuuza nti lwaki gwe? Mu kaseera ako ak’obwoomu, muli ngamba nti kale singa wejjukiza nti ogwaanira omukwano ogusinga obulugi! Bwoba tosobola tokikiriza, funa wowandiika. Nsuubira okuba ng’okimanyi nti oli muntu musufu, era nga toli muzibu mu kwagala. Toli wansi wabo bewegerageranyizaako. Omala bumazi mu byonna.
Okukula kyangu naye okukula mu birowoozo si kya buli omu, so ng’ate kitwetaagisa ffenna. Bambi, leka omukwano gukubugaane wenna ng’omuntu nga tonasalawo kugugabirako muntu mulala. Olunaku lumu mu buliri, ojja kuba oliraanye omuntu bwemwagalana okuzaama.
3 Comments
Wow!! Thanks for the advise👏👏
Ekituufu Kiri nti bwogwa mumukwano n’omuntu omupya nga okyalina ebirowoozo by’oyo eyakulekawo oba gwewalekawo olwensonga ezitali zimu
Obeera osiwa nsaano ku mazzi kuba tegusobola kuwangaala
Kisaana neweewa obudde nga olowooza ku Kii kyozzaako ekisobola okutereeza omutima gwo nga bwokola ne ku Nsonga ezabaviirako okwawukana n’eyali omwagalwaawo ate nga bwoyiga okweyagala ggwe nga ggweee,
ko n’okuzza buggya ekifo mumutima gwo eky’omuntu Oyo gwobeera olindiridde
Kyenva nkwagala Makula. Olambika bulungi ensonga mwana watu. Webale mukwano.