• November 21, 2024

Olumu tuba tusubwa ekyo kyetwaali!

 Olumu tuba tusubwa ekyo kyetwaali!

Okusubwa omuntu kintu kinene nnyo. Naye abafe twagala okwebuuza, ddala tusubwa mikwano gyafe ng’abantu oba tubasubwa olw’ekyo kyetwaali tubatebereza okubeera? Byandiwulikika ng’ebifaanagana, naye amazima gali nti, waliwo enjawulo wakati w’okusubwa omuntu olw’ekyo kyenyini kyeyali , n’okusubwa omuntu olw’ekyo kyetwaali tumutebereza okubeera.

Emirundi egisinga tetwagala bantu olw’ekyo kyennyini kyebali, naye tubagala olw’ekyo ffe kyetubategeera okuba. Abantu tulamula__ Ffenna tulamula okusinziira ku mitima gyaffe. Bwetutyo bwetwakolebwa, era nga tekirikyuuka. Mu kulamula nga tukozesa emitima, tuteekawo ebyo byetulowooza nti tubimanyi ku banaffe… Enkolagana n’ekula ate oluvvanyuma lw’akabanga netuzuula nti waliwo ensobi eyakolebwa mu kusalawo!

Eno y’ensonga lwaki emikwano gimenyeka. Abantu badduka mu mukwano nebalekawo abo bebaali bagala, oluvvanyuma lw’okwetegereza embeera z’abantu abo.

Ebiseera ebisinga abantu betusubwa tubajjukira mu mbeera zetwabagalako… So ng’ate oluusi ssi zezibeera embeera zaabwe entuufu!

Twesaanga mu mbeera z’okulaba omukwano mu birungi ebitono byebatukolera, netuzibiriza amaaso gombi ku bibi byebatukola wadde nga by’ebingi okusinga ebirungi.

Emirundi egisinga, tufaayo nnyo ku butya abantu abo bwebatuleetera okuwulira… So nga twandibadde tufaayo ku mpisa oba ebikolwa byaabwe gyetuli. Olw’okuba nti tusiimba essira ku mpuliro zaffe eri abantu abo, twesaanga mu mbeera z’okusibira emitima gyaffe webali obutavvaawo. Nga n’obuzibu obuli mu kino, kwekulumwa omutima okutakoma. Olwokuba yakuwereza obubaka ku ssimu ng’akubuuzaako, ekyo n’okyesibako okumala ebbanga, nga werabidde nti obadde omaze sabbiiti naamba ng’omuwereza obubaka naye nga tabuddamu awatali nsonga!

Olumu tetusubwa bantu abo, naye tusubwa ekyo kyetubatwala okubeera

Ganyana

Omuntu oyo yakuyisa bubi ddala, naye omujjukirako birungi byerere.

Mu bulamu owulira ng’osubwa mukwano gwo… Ekyo kitegeerekeka. Teri ayagala kubeera bwa namunigina. Abamu tulina obusobozi obugezaako mu mbeera y’obwoomu, naye era buli muntu yetaaga omuntu bwebatambula kigere ku kigere.

Teri muntu asalawo kubeera bwoomu okuleka ng’alina obuzibu ng’omuntu. Ekituufu waliwo omuntu weyetaagira okubeera obwoomu, naye kino tekitera kubeera kya kiseera kiwaanvu. Era oba oli awo n’owulira nga wetaaga okubaako kyonyumiza mukwano gwo. Okusubwa omuntu ssi musango mu bulamu, omusango wegubeererawo kwekusubwa oyo atakwetaaga!

Omuntu atakwetaaga y’oyo eyakuyisa nga kasasiro mu biseera biri. Situgaanye ayinza okuba nga yakuyisa bulungi ku naku ez’enjawulo, naye jjukira nti ssi buli lunaku nti luba lwa njawulo.

Bwoba osubwa omuntu eyakulumyanga olw’okuba yali tafaayo gyooli, wetaaga okwekuba mu mutima omanye nti kyokola ssi kirungi gyooli. Lwaki tolina kuwulira bulungi nga bakuyisa bubi? Nawe oli muntu tokiriza butali bwenkanya.

Omuntu oyo omusubwa mu biseera ng’owulira ekiwubaalo.

Ye ate kankubbireko kino, waliwo engeri enyangu kwosobola okwawulira omukwano ogwa ddala n’ekyo kyetuyita omukwano enfuunda ezisinga.

Abantu basubwa abo abaali mikwano gyabwe nga tebalina balala bebanyumya nabo, oba mu biseera nga balina ebizibu; nti yiii kale kati singa Joan abaddewo, yandinyambyeko okuyita mu mbeera eno! Abantu bwebati kasita afuna obuzibu bwonna, ng’atunula emabega okujjukira abo beyaliinga nabo.

Banange ogwo ssi mukwano… kya bulijjo nti ebiseera ebizibu bwebitutomera, tubeera twetaaga abo abaali batufaako ennyo, so ssi abo betwaali tufaako ennyo! Olw’okuba nti tubeera tukimanyi nti batufaako okusinga nebwebefaako, tubeera bakakafu nti balina obusobozi obutuyamba okuyita mu bizibu. Anti era jjukira nti kuno ku nsi, omwana w’omuntu ayagala ebimwanguyiza embeera.

Tegubeera mukwano gwa ddala! Obwoomu buluma mu ngeri nti butukaka okujjukira abantu abatwabulirira wadde nga tukimanyidde ddala nti tebali bantu balungi gyetuli.

Bwoba oli eyo ng’omuntu wo omusubwa mu biseera wofunira ebizibu wokka, awo mukwano gwange oli mu kwerimba_ tomwagala nga bwolowooza.

Ku luuyi olulala, bwoba osobola okusubwa omuntu wo ng’oli mu kaseera ak’esanyu, awo ndi musanyufu okukugamba nti olina ensonga esinga obulungi lwaki osubwa omuntu oyo. Eky’okulabirako, nina mukwano gwange gwensubwa ssi lwakuba nti mulowooza nnyo mu kaseera nga nina kyemwetaaza, naye olumu mpulira nga njagala mbeeko byemunyumiza tuseke. Tebereza nti olumu nfumba emmere naye nempulira nga njagala munyumize bwewoomye oba nkube ekifaananyi ky’emmere nkimusindikire!

Bwotunulira obulamu bwo n’essanyu lyonna lyolimu, ng’ekintu ekisooka okukujjira mu birowoozo, “kale singa Joan, oba John abadde wano netugabana essanyu lino ffembi…” Awatali kuwannaanya kwonna, omuntu oyo omwagala.

Tosubwa muntu oyo gwewali naye, osubwa ekyo kyewali ng’oli n’omuntu oyo.

Buli lwetutunula mu biseera by’emabega netujjukira abo abaali mikwano gyaffe, byetwafuna awamu, kyetwaali tuwulira awamu, omukwano omungi gwetwagabana, ebijjukizo byetwatonda…. Byonna awamu, abantu abo ssi betusinga okusubwa, naye ekyo kyetwaali nga tuli nabo kyetusubwa ennyo!

Kituli mu butonde ng’abantu okwefaako ennyo. Tetuteekeddwa kwebonereza ku lw’ekyo naye okukyaniriza mu ngeri egezaako okukifuga.

Tetujjukira bulungi abo betwayagala kubanga ekyo tekisoboka. Abantu abo tetwabategeera mu buntu; twategeera ekyo kyetwasobola okutegeera ekyabali ku ngulu.

Wadde byonna nga biri bityo, amazima gasigala gali nti abantu abo betwaali tutwala ng’abomuwendo mu bulamu bwaffe, ate bebaasinga okuleeta obulumi gyetuli.

Tujjukira ebyo byebaatukola ebyatuleetera okuwulira nga bwetuwulira kati, naye nga mu buntu tusubwa okubeera nabo mu nsonga endala…. gamba ng’okumala akaseera nga tuli nabo.

Ku byonna byenjogeddeko wagulu, kyetusubwa tekikwatagana nnyo n’abantu abo…. Tuba tusubwa ekyo kyetwaali nga tuli nabo.

Tusubwa ekyo kyetwaali tuwulira n’ekyo kyetwafuukanga nga tuli nabo. Tusubwa ekyo kyetwaali kubanga bwetugerageranya bwetuli kati ne ku luli, olabira ddala nga luli obulamu bwaali bunyuma nnyo.

Omuntu asobola okwagala munne okumala obulamu bwe bwonna. Mu butuufu tusobolera ddala okusubwa abo betwayagala, era netutegeera ekyo kyetwasubwa eri abantu abo…. wankubadde ekyo tekitera kubaawo nnyo mu bantu abasinga obungi.

Nfundikira nkugamba nti olumu twemalako emirembe nga twesiba ku bantu abatagwanira kumalirako birowoozo byaffe. Tugezeeko okutunulira embeera mu buntu, nti olumu wandiba olumirwa bwerere omutwe naye nga mu byaddala tosubwa muntu oyo. Obulamu bulungi ate nga bumpi okubumalira ku bantu abatalina kirowoozo kyonna gyooli. Okugenda mu maaso n’obulamu bwo oluusi ssi kyangu nga bwekiwulikika, naye ate oteekeddwa okwekunganya otambule.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *