• November 21, 2024

Oluvvanyuma lw’okumenyeka omutima.

 Oluvvanyuma lw’okumenyeka omutima.

Bintu bingi ebituukawo ng’omutima gwo gumenyeddwa. Omutima gwo okumenyebwa oyo gwobadde olinamu esuubi. Omutima gwo bwegumenyebwa, kiwulikika ng’obulumi obutagenda kuwona ebbanga lyonna. Obulamu bukyankalana, entegeera yo ekyuuka okuvva ku ya bulijjo. Okuleka ng’omuntu wali tomwagala, okukyaayibwa kiruma. Muli owulira ng’atagenda kuddamu kubeera mirembe okumala obulamu bwo obusigadde ku nsi.

Obulumi obwo bubeera bwa kaseera buseera.

Ninna essanyu okukugamba nti, ogenda kuddamu oddizibwe obulamu bwo obulungi. Kyowulira kya kaseera buseera, essanyu limala nerikomawo mu bulamu bwo. Bwoba obuusabuusa kyenjogera, njagala otunule emabega ojjukire ebizibu byozze oyitamu. Kyandiba nga leero bakumenye nnyo okusinga kyogwaanira, naye ssi gwe mulundi gwosoose okuwulira ng’obulamu bwo bulinga obukomekkerera. Ssi gwe mulundi gwosoose okuwulira ennyike etagambika. Oyise mu bintu ebikunyiga bingi, nga bifumita ng’empiso, naye byonna ng’obiyitamu.

Omutima gwo okumenyeka, teguba musango gwo nti oba wayagala nnyo!

Omutima gwo okumenyeka, ssi musango gwo. Toteekeddwa kuwulira nga gwegusinga. Mukwano gwo yakumenya, ssi lwakuba nti wamwagala nnyo nosukka, lwakuba mukwano gwo teyali muntu mulungi gyooli. Abantu bonna okuvva mu mbeera zonna, baali bamenyeseko emitima. Ate tubeere bantu bakulu, nawe olina gwewali omenye omutima mu ngeri emu oba endala.

Bwomenyeka omutima, olina okukijjukira nti togenda kubeera bwotyo okumala ebiseera byo byonna. Ojja kuwona era oddemu weyagale n’omuntu omulala. Kino kyebayita okweyongerayo n’obulamu bwo.

Ekituufu kiri nti, sigenda kukugamba nti kitwala bbanga bweriti okuwona omutima ogumenyese, naye osobola okuwulira obulungi singa okimanya nti nebwekinatwala sabbiiti eziwera, emyezi, oba emyaka, naye kimala nekiggwa. Nebwekiriba kitutte ebbanga eriwera nga tonawona, oliddamu okubeera omusanyufu. Ogenda kwekutula ku muntu oyo gwewali olowooza nti tosobola kuddamu kubeera musanyufu waatali.

Ekituufu kiri nti, ekitundutundu ku gwe kyandisigala nga kisubwa omuntu oyo. Ekitundutundu ku gwe kyandisigala ng’olumu kinoonya omuntu oyo mu nkuyaanja y’abantu abangi. Naye ojja kukula mu mutima era omanyiire embeera eyo, nga tekyaalina ntiisa wadde okuleeta obulumi gyooli. Ojja kufuna essanyu era wetengerere awatali muntu oyo. Amazima nkugamba nti, ebbanga nga litambudde ogenda kuzuula ebirungi bingi lwaki mwayawukana mutyo buli omu nakwata erirye.

Awabeera ekibi n’ekirungi kibeera kumpi awo. Eyakumenya omutima yakuleetera okukyuuka mu ngeri emu oba endala.

Omutima gwo bwegumenyeka, kikuumire mu birooozo nti togenda kumala bbanga lyonna ku nsi ng’owulira bwotyo. Obulumi bwoyitamu tebusobola kufuula mutima gwo nyumba ya lubeerera.

Wandiwulira ng’ayita mu mbeera etali ya bwenkanya, ng’olinga eyetisse omugugu oguzitowa ennyo. Omuntu okukumenya omutima kiruma, naye mu bulamu bibaawo ebyo era tebyewalika. Ebiseera ebimu omuntu bwakumenya omutima, owulira nga gwebasika okudda wansi mu bitoomi buli ssaawa, ekituufu kiri nti wabeera tewali n’omu akusika. Ekisinga obukulu kwekwerowoozaako ng’omuntu omupya. Omuntu yenna asobola okukyuuka era nawe osobola. Oyinza obutakyuuka kudda mu mbeera zewalimu ng’okukiririza mu buli muntu, naye osobola okufuuka omuntu ow’amaanyi mu mutima okusinga nebwegwaali mu kusooka nga tebanakumenya mutima.

Mu kaseera kano nga bakakumenya omutima, oyinza obutasobola kutunula mu biseera byo mu maaso. Nga lwaki ddala? Oyo omukazi oba omusajja gwolowooza n’obulwa otulo, ssi ye mugalanda w’abalungi! Mulabe ng’ebimu ku bintu byosisinkanye mu lugendo lw’obulamu bwo, naye ng’oteekeddwa okumuleka akwate amakubo ge. Kituufu yakukyaawa, naye nzikiriza nti waliwo omuntu omu akulinze ng’ate akutte n’akamuli. Oli w’amaanyi okusinga ne bwolowooza. Nikiririzaamu nti kyonna kyowulira mu kadde kano, ogenda kukiyitamu n’obuwanguzi mu mutima.

Nze nkwagaliza kisinga bulijjo.

Digiqole ad

Related post

3 Comments

  • Kituufu nnyo…. omutima gumenyeka nga bakukyaaye naye mu bbanga ttono ebiwundu biwona nosituka notambula bupya

  • I was pretty pleased to find this great site. I want to to thank you for ones time just for this fantastic read!! I definitely really liked every little bit of it and I have you book-marked to see new stuff in your blog.

  • Can I just say what a comfort to uncover somebody who really knows what they are talking about on the web. You actually know how to bring a problem to light and make it important. More and more people really need to look at this and understand this side of your story. Its surprising youre not more popular given that you definitely have the gift.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *