Omukazi aba wuwo nga ali waka.
- EMBOOZI
- Makanga Abubakar
- March 30, 2022
- 3
- 308
Omukazi gwenziramu okufuna sigenda kummukiriza kukola, kubanga nfunye essomo.
bya musomi.
Bwatyo omu ku basomi baffe, bweyantegeezeza era bwenamubuuziza ogubadde, nalunviira ku ntono.
Twali mu mukwano omuzibu ne munnange, nga gutusaza mu kabu anti enswa nnene. Tetwalina nkenyera yonna mu mukwano gwaffe era nga buli kimu kitambulira ddala bulungi.
Olumu bwenali awo nenfuna ekirowoozo nti lwaki munnange naye tafuna mulimu natandika okukola! Sabeera mubi nga munnange mutegeeza ekiteeso kyange, era twakiriziganya bulungi neneyama okumusabira omulimu mu kkolero lya mukwano gwange. Bwetwali tunyumya nga tuteesa ku ky’okukola, mu butuufu namunyonyola obulungi obukirimu, na butya bwetugenda okuganyulwa singa ffembi tubeera tuyingiza mu nsawo zaffe.
Nabuuza mukwano gwange oba baali balinayo ekifo, nantegeeza nga bwewataali nti naye engeri gyenali mukwano gwe, yali wakunjiyizayo mu ngeri yonna. Waayita mbale ng’akasimu kano, nga mukwano gwange atufunidde ekifo era nadduka za mbwa nengenda ntegeezeko munnange. Namutusaako amawulire era ffembi twali basanyufu. Enkeera w’olwo yagenda ku yintaviyu era nagiyita, enaku ezaddako ng’atandika kukakkalabya mirimu.
Twabeera bulungi era ebbanga bweryetoloola twatandika okulaba ebyengera ebivva mu mulimu. Muli nange nafuna essanyu, nga nina obuweerero anti munnange yanyambangako ku buvvunaanyizibwa bwa waka.
Siikulwiseeyo, kankutwale awaava kazaala bulwa eyantuusa ku kino kyendiko eky’okwevvuma omukazi akola. Nga wayise akaseera, munnange yatandika mpola mpola okukyuka. Ffe abaali bateesa nga tewakyali kuteesa, buli kimu nga kiba kiragiro. Outing zokusande nezimufuukira outing, yenna gweyagendanga naye nze naawe. Yagenda nayiga okuyomba gwe wamma negujjabagira. Olulala yangezaako n’oluyi, natuula naye wansi olw’okuba nti nali mwagala nnyo, nengezaako twogere ng’abagalana bonna bwebakola, naye maama nga tasalikako musale. “Naye kiki ekyatuuka ku munnange? Ddala bwemba nina kyenamukola mu bukyaamu lwaki takingamba nenenenya?” Olwo nno ebyo byonna nga mbyebuuza mu mwoyo, kumbe ekiyinula ennyana nga bwekivva ku kibeere, gwempita munnange alina omusiguze ku mulimu.
Abengako omukozi omulala, naye mukwano gwange menyini, nanyini kutuwa mulimu, nga yannima empindi ku mabega.
Nabakwata misana ttuku mu loogi emu, olwo nga maze okutegeezebwako omuntu omu (amannya kangesigalize) nti owaaye okuuma lubugo, naye lubaale wuuno eno bamutwaala mu loogi.
Nadduka za mbwa ntere nerabireko naagange, era bwenatuuka mu kifo, nalina okusasula enguzi okusobola okuntuusa mu kisenge mwebaali. Natukayo nenkonkona era owewange yeyalubandula nga ku nze kwagakuba. Yawuniikirira kuba yali takisuubira, namusindika eri nenyingira munda, nga njagala ndabe ddala ani atabangudde amaka gange okutuuka ku ssa lino! Nyabo kyambuukako nga ku munywani wange Kaggwa kwengakuba! Eky’okukola kyambula kuba nawunga, bwentyo nafuluma n’obusungu, ye mukwano gwange ne muganzi we naleka eyo nga nabo batangadde.
Natuuka ewaka nemulinda ajje tubituulemu, naye naguno gwaka taddanga. Kati emyezi enna nga simuwuliza. Oba yamala nafumbirwa Kaggwa, awo nze naawe. Nange satawaana kuwondera, wabula kyennakola kwekutegeeza ab’enganda ze ku nsonga zino mu ngeri y’okwejjako obuvvunaanyizibwa ku muwala waabwe. Ekirungi nabo tebannemerako, ndowooza yali amaze okubibayitiramu.
Nange nkyaali mu nnaku yange nga bwenyiga ebiwundu, kyovva olaba nkuwandikidde ebbaluwa eno admin, nga nva wagulu ngamba nti “omukazi gwenziramu okufuna alina kusigala waka afumbe; talina kugenda ku mulimu. Bwaba takiriziganya nange, awo nga tulemaganye.
Wagulu, eyo y’emboozi ya mukwano gwange ate nga musomi waffe mulungi.
Ekibuuzo:
Omukazi akola aba mubi oba n’ewaka basobola okumusigulirawo?
Nga bulijjo kozesa akabangirizi (comment section) otuwe endowoozayo ku mulamwa guno.
Webale!
3 Comments
Munaffe nga yalaba Nnyo bambiii…. Obwo obulumi bweyayitamu nga asangirizza mukyala we ne mukwano gwe kaggwa tebulojjeka , naye abakazi ssi bonna nti babeera benziii, ate nekilala nga tanamunenya asooke yekubemu ttooki ye nga Omwami obuvunaanyizibwa bwe yali abutuukirizaaa????
Lwakuba nti Kano ssi kekaseera akatuufu akokunenya omuntu…..kuba kati yeetaga magezi, Nze mpunzika ngamba nti ssi fenna nti tubeera benzi, omukazi okukola kiyambako mukulaakulana mangu,
Obwenzi gubeera muze gwa muntu saako n’omwagalwaawe obutatuukiriza buvunaanyizibwaa bwe , mwanyinaze agezeeko okweteleeza saako nokuteekawo enkolagana ennungi n’oyo omubeezi omupya gwanabeera afunye …naye ekyokumugaana okukola ndaba nga ekitaayambeee
Oli mutuufu nnyo Mariam. Okugaana omukazi okukola kiyinza obutamugaana kwenda, naddala singa gubeera muze gwe.