Omukazi mu nsi mwetuli!

Omusajja omugagga ng’alina emotoka ez’akabi, abawala abalungi bamweyuna. Omukyala omulungi eyekoledde sente ze neziwera ng’avvuga emotoka ez’akabi, abasajja bamudduka era tebagala kumusemberera. Eno y’ensi mwetuli!
Omulenzi bwafunisa omuwala olubuto nga bali ku somero, omuwala avva mu somero asobole okukuza olubuto. Omulenzi asigala agenda mu maaso n’emisomo gye. Eno y’ensi mwetuli!
Omusajja bwakwatira mukyala we mu bwenzi, takuba musajja gwamusanze naye wabula akuba mukazi yenyini. Omukazi bwakwatira bba we mu bwenzi, akuba mukyala munne mu kifo kyokukuba bba we. Eno y’ensi mwetuli!
Omusajja gyakoma okukula, n’abakyala gyebakoma okumweyunira. Omukazi gyakoma okukula, n’abasajja gyebakoma okumwesamba. Eno y’ensi mwetuli!
Omusajja ow’emyaka 55 asobola okuwasa omuwala ow’emyaka 20 newatabawo afukuma. Omukyala ow’emyaka 30 ateekeddwa kufuna musajja ali wagulu w’emyaka 35 ate oluusi era nebagamba nti akuze nnyo ku musajja. Eno y’ensi mwetuli!
Omusajja ayawukana ne mukazi we leero enkeera nayanjula omukyala omulala, tekikola mawulire yadde. Naye omukazi bwayawukana ne bba we, emyaka gyetoloola nga yakazibwako erya bufumbo bwalema. Eno y’ensi mwetuli!
Omusajja afiirwa mukyala we leero nawasizaawo omulala, bamuyozayoza era ne bamutendereza olw’okusobola okugenda mu maaso n’obulamu bwe… “Akoze ekisinga kubanga ewaka wetaagisaawo omukyala.” Omukyala afiirwa bba we nayisaawo emyaka ena oluvvanyuma nafuna omusajja omulala, “aaah! amangu ago? Kirabike omusajja oyo abadde amulina wadde ng’omugenzi akyaliwo. Yandiba nga yeyatta omusajja.” Eno y’ensi mwetuli!
Omukazi akwata bba we lubona ng’ayenda, nebamusaba amusonyiwe ku lw’abaana baabwe n’amaka gaabwe. Omusajja bwakwata mukazi we ng’ali mu buliri n’omusajja omulala, tewabeerawo kya kuwoza. Bwaba tamusse, amugoba mu maka awatali kulowooza ku baana be. Eno y’ensi mwetuli!
Omusajja bwafuna omulimu omulungi mu nsi endala, asobola okugenda ne famile ye. Omukazi bwafuna omulimu omulungi mu nsi endala, emirundi egisinga aba ateekeddwa okulondawo wakati w’omulimu n’amaka ge. Eno y’ensi mwetuli!
Omusajja bwakuzibwa ku mulimu, abantu be nga n’omukyala kwaali bamutendereza. Omukyala bwakuzibwa ku mulimu, omwaami n’abantu be batandika okubityebeka nti yandiba yamala kwebaka ne mukama we. Eno y’ensi mwetuli!
