Omukwano guluma naye osobola okuvva mu bulumi bwowulira.
Omutima bwegulwala okwagala nga guluma… Gwotanyige nti oba omire ku ddagala guwone…
Juliana Kanyomoozi.
Wali wekomeredde mu birowoozo olw’omuntu gwoyagala ennyo notuuka okulwala ebyaddala? Omanyi kyebayita okulwala omuntu? Wetaaga okumanya ki kyekitegeeza okulwala okwagala, era otegeere n’obubonero kwolabira nti wandiba walwala dda omwana w’omuntu.
Kitegeeza ki okulwala omuntu mu mukwano?
Wali obaddeko n’omuntu gwoyagala nga takwagala? Oba, wali oyagaddeko omuntu nakukyawa awatali nsonga nambulukufu? Wewawo, osobola n’okuba ng’olina omuntu gwewayagalira mu nkukutu ate oluvvanyuma era nebigaana…. Kyakuluma era notandika okuwulira nga tobitegeera.
Okulwala omuntu mu mukwano si kyangu kumala gewalika, okuleka nga togwangako mu mukwano ogwa ddala. Wandiba nga kati webuuza oba ddala “osobola okukoseka ng’olwadde omuntu“
Okulwala omuntu mu mukwano, kwekuwulira nga tokyasobola kufuga ndowooza yo eri omuntu oyo gwoyagala, nga wenna oli awo tolimu suubi lyakubeera bulungi awatali muntu oyo. Embeera eno erina akakwate kanene n’okulemererwa mu by’omukwano.
Kisoboka okuba nti ffenna twali tulumiddwako obulwadde buno (mukwano) mu ngeri ez’enjawulo. Naye mu bantu abamu kibafukira ddala ekizibu okuvva mu bulwadde buno. Batambula n’ebirowoozo byaabo bebagala okumala emyaka egiwera, oluusi nebatawonera ddala.
Eky’okulabirako ekyangu, olina omuntu gwe wamatira natakwagala nga kati emyaka giyisewo. Nokutuusa olwaleero okyamulowooza nnyo. Olumu obeera awo nowulira nga wetaaga akubeere ku lusegere ekitasoboka, notandika kugera ngero mbu “bwekataligirya…” esuubi eryo eryagaana okufa!
Bwoba tosobola kwerowoozako nga gwe, nga buli kadde olowooza ku muntu oyo wadde ogezezako nga bwosobola okumugya mu birowoozo byo naye nebigaana, emikisa mingi okuba nga wamulwala.
Lwaki abamu bakosebwa nnyo mu mbeera eno ate abalala nebatakosebwa nnyo?
Bwogwa mu mukwano n’omuntu n’omutegeeza bwowulira nakugamba nti takwagala mu bwesimbu, osobola okumulwala okumala akaseera akatono. Naye, bwogwa mu mukwano n’omuntu nosalawo okukweeka kyowulira gyaali, oba natandika okubako embeera gyateekawo mu linnya ly’okukwagala, awo wewagenda okuvva obulwadde obwaddala nga toyagala kubeera watali. Takwagala era talikwagala, naye gwe toyagala kukikiriza.
Obubonero kwoyinza okulabira nti wandiba nga walwala omwana w’omuntu.
Waliwo akakwate akatono wakati w’omuntu amenyese omutima n’omuntu alwadde omukwano. Wetegereze obubonero bwe ngenda okuwa wamanga ozuule oba ddala walwala omuntu, oba onateera okumulwala. Bwotandika okwerabamu obumu ku bubonero oba bwonna ku bwe ngenda okuwa, yogerako n’omuntu akuyambe ovve mu kinnya kyooli mu kwesimira.
- Okweyawula ku bantu abalala. Bwofuna obulwadde bw’omukwano otandika okweyawula ku abo abakufaako. Obeera tokyalina kikuwa suubi, nga muli owulira nti teri muntu asobola kutegeera ki kyoyitamu. Nti wakiri kobeere wekka.
- Okukyuka mu mbeera n’ekiwubaalo eky’amaanyi. Muli n’owulira nga tolina nsonga lwaki obeera ku nsi bwoba tosobola kufuna muntu oyo. Nkitegeera nti kiyinza obutabeera bwekityo ku gwe, naye okugwamu esuubi kekamu ku bubonero obutewalika.
- Okubeera omukoowu buli kadde. Okwenyamira okwamaanyi kukuleetera okuwulira obukoowu nga tolina kyoyagala kukola.
- Obutagala kulya mere wadde okunnywa nga bwe gwaali. Ng’olwadde omuntu mu mukwano, nebwotunula obutunuzi ku mere owulira ng’oyagala kubako byokomyawo. Omubiri gubeera mulwadde ebyaddala. Kyovva olaba nti abamu bakoga mpolampola.
- Kyangu okukyuuka n’ovva ku byobaddeko. Olw’okuba obeera tokyalina suubi mu bulamu, buli kyokola omala gekolera, era nga kikuzibuwalira okuteeka amaanyi kwebyo byoteekeddwa okukola.
- Okusuubiriza mu bitaliwo. Womanyira nti wandiba olina obulwadde bw’omukwano, kwekutandika okukebera essimu zo ng’osuubirako obubaka okuvva e w’omuntu gwoyagala. Essimu yo buli lwevvuga ng’odduka mangu olowooza nti omuntu gwoyagala yakubye. Okugikebera nga muntu mulala. Olaba bwotandika okubeera awo ku ssimu ku mbe ng’oli ali bibye taayagala kumanya.
- Ozimbulukusa ebitono byeyakukolera n’obifuula ebinene. Obeera mu kujjukira obuntu obwo obutono bweyakukolera. Wesiba nnyo ku kyemisana kyeyakugulira, obubaka bwa wasuze otya mukwano? bweyakusindikira. Singa abeera alina akantu keyakuwa katugeze katambala, toyagala kukabuza kubanga okalaba ng’ekijjukizo, nga kategeeza kinene nny gyooli.
- Obeera mu kwetegereza ebyo byayogera. Bwewesanga nga buli kadde oyagala kulowooza ku bigambo byatera okukozesa, oba ng’oyagala kukopa ngeri gyayogeramu, wandiba ng’ekirwadde kyakulumba dda.
- Okubeera n’entondo. Buli kaseera owulira oyagala kukaaba nga muli olaba tewali akufaako. Kantu katono nnyo ng’amaziga gakuyisemu dda.
- Okwebaka kufuuka kuzibu. Mu buliri osula okulungatana ng’ebirowoozo ge masuka mwosuza omuntu oyo gwe walwala. Ekinyiiza, nti gwe lemwa okwebaka kumbe ng’oli alina gwasuze awembejja ekitali kibi kubanga si musango gwe. Kati ddala lwaki werumya okutuuka kwekyo?
Butya bwosobola okujjanjaba obulwadde buno nosigaza obulamu bwo obulungi?
Okulwala omuntu kiruma, ate nga tolina bwoyinza kukibuukamu okutuusa ng’omaze okuteseganya n’omutima gwo nti ekimala kimala mbikooye netaaga obulamu bwange. Wamanga nkulaga engeri gyoyinza okukomyamu obulwadde bw’omukwano obukutawanya, noddamu okufuga obulamu bwo nga bwegwali.
- Jayo empiki ozikube ku meeza. Omuntu akusuza ng’okukunadde mubulire butya bwowulira akutegeere. Kibi ki ekigenda okuvvamu? Ayinza okugaana, kirungi okugezako n’olemwa- okusinga bwolemwa okugezako.
- Gezako okukyuusa ekyo kyowulira– omukwano gwomulinako gufuule obukyaayi. Naye nga otegeera bulungi omuntu ono kyakukola? Obulamu bwo bwonna buli mu kusiraana lwa muntu ono. Lwaki tomukyaawa mazima ddala nga tonaba kwefiirwa? Gezako okuteeka essira ku ebyo byakola obubi.
- Naye tatukiridde. Wadde omumatira otya, ateekeddwa okuba ng’alina ebitagenda bulungi mu bulamu bwe. Gezako okuzibula amaaso go olowooze ku ebyo ebimufuula atatukiridde mu kimu; katugeze ngayogera bubi oba ng’entegeera ye eriko akabuuza…. Mugerageranye n’abantu abalala bosanga mu kubo nga balabika bulungi.
- Beerako ne byolowooza ebirala. Ki kyosinga okwagala okukola mu biseera byo eby’eddembe? Ekyo kyenyini kyoba okola. Buli lwowulira ng’ebirowoozo biddukira omuntu oyo, gezako okubifuga ng’olowooza ku bintu ebirala gamba ng’okunyumya ne mikwano gyo ku fesibbuku. Okulwala okwagala kiruma era kimenya, naye ogenda kukola ki? Webereremu mukwano gwange.
- Gezako obutegobako mikwano gyo. Wandiba ng’obadde wegobako abantu bonna abandikuyambye, naye okyalina akakisa akabakomyawo mu bulamu bwo. Mugendeko mu maina, mu katale okugula ebintu, mukube amatatu… Ojjakukizuula nti omuntu oyo tatekeeddwa kubeera ntiko ya ssanyu lyo.
- Byonna ebimukujjukiza byejjeko. Olina ebifaananyi bye? Olina akatabo keyakuwa? Oba olina akatambala keyakuwa ng’omuwerekera? Byonna byookye bivve mu bulamu bwo. Okwagala omuntu si kintu kyangu kyoyinza okumala gavvunuka… Wejjeko byonna ebikuleteera okumulowoozako ennyo.
- Oli wa ddembe okumulowoozako naye tokimalako budde. Tofaayo bwoba oyagala okumulowoozako, kubanga amazima gali nti kiyinza obutakwanguyira ekyokumala gamwesonyiwa. Naye gezako okulaba nti buli lwobeera omujjukidde, tokiriza kugenda naye mu nsi ensuubize ey’ebirowoozo… Muleke mu kubo togenda nnyo.
- Tambulako wa bweru. Bwokizuula nti obulwadde bw’omukwano butandise okumera mu gwe, funa engeri gyobuzabuza endowooza yo. Fuluma wa bweru w’enju yo, gendako mu nimiro ekuli okumpi olabe ku bitonde ebirala nga bw’ofumitiriza ku bulungi bwaabyo. Lwaki oleka omutima gwo okujjulamu omuntu omu, ate ng’ensi erina bingi ebisanyusa amaaso?
- Funa bosaaga nabo. Bwaba musajja ng’oli mukazi, ekyo kyakabi. Muleke oba akukwana akukwane tekirimu sitaani anti era togenda kumwagala kubanga toli wakutomera buli omu. Bwobeera mu kadde kokusoberwa ekiddako ng’obulwadde bw’okwagala bukumisa buvvunanyizibwa, omuntu omulala wadde nga tomwagala osobola okusaaga naye ebikuzaamu amaanyi.
- Kiriza nti olunaku lugenda kukya ng’oteredde tokyalina waluma. Ebiwundu tebimala gawona kubanga oyagale biwone. N’obulumi bwolimu si bwaluberera wadde nga kisobola okutwalira ebbanga eddene. Nikiriza nti waliyo abagaana okuwona, naye gwe si bwekirir ojja kuwona .
Oyagadde byosomye? Tugoberere ku:
Instagram: Praxy Ganyana
Twitter: Praxy Ganyana
Facebok: Ganyana Praxy.
Tubeere ba mukwano mu kintu kino.