Omuntu gwewayagala natakuwa mukisa kuwulira kyowulira.
Olwokuba omala ebbanga paanvu ng’oyagala omuntu oyo, ekiseera kituuka nobikoowa. Essuubi lyewalina lituuka nelikuggwamu nolowooza; Ebiseera byonna byomaze nga wesuubiza okugenda mu maaso n’obulamu bwo naye nebigaana. Ebiseera ebyo byonna n’esuubi lyewalina nga wakasooka okumulaba okutuusa lwewakitegeera nti taliba wuwo, naye nga gwe okyalina essuubi…..
Kiriza oba gaana, wano ku nsi ffenna twali tumatiddeko abantu mu ngeri y’omukwano naye nebatatulabawo, oba nga batulabawo naye nebatasobola kutwagala nga ffe bwatwayagala. Waliwo abantu abalina emikisa gyabwe nga bafunira ddala abo bebaali begomba. Okumatira omuntu natakumatira kya bulijjo era nga tosaanidde kwesalira musango kuba si gwe asoose. Ekisinga obukulu kukiriza nobako wokomya katwewuungu wa laavu. Funa omuntu omulala, gezako okuza endowooza ne mpulira zo, onyumirwe obulamu n’omuntu omulalala. Leka obulamu bugende mu maaso wadde nga kyangu obuterabira oli gwewamatira natakulabawo.
Olw’okuba wamwagala nnyo, kyangu obutamwerabira.
- Buli lwowulira erinnya lye tosigala kyekimu. Wandiba n’okwematiza mu mutima nti toyagala kumanya bimukwatako naye amazima gali nti, buli lwowulira omuntu ayita erinnya lye, amatu gakuyimirira. Obeera oyagala okukasa nti ali bulungi, nga n’erinnya lye eddungi akyalikuumye. Tosobola kusanyuka nga waliwo akabi akamutuuseko. Ebyaddala, erinnya ly’omuntu oyo lisobola okufuuka akasumuluzo akaggula akamwenyumwenyu ku matama go.
- Omuntu oyo omwagala nnyo okusinga kyosobola okunyonyola. Ebikukwatako n’omuntu oyo wasalawo okubyesigaliza kubanga tolina ayinza kutegeera. Wadde ogezezako nnyo nga bwekisoboka okumwerabira, naye byagaana era kati oli bulungi nakyo.
- Okuwulira akadde akazibu singa obeera naye awantu nga wasirifu. Kisoboka okuba nga tekikyali nga bwekyali mu kusooka bwewali nga tosobola kwefuga, obwagazi bwakenderamu naye otya nti singa agezako okusemberera mu ngeri ey’omukwano, wandiremwa okwefuga.
- Buli lwomulowooza ofuna akaseko ku mutama. Akaseko nga wegomba nti “kale singa yali wange”, kino kisobola okubeera kityo ebbanga lyo lyonna erisigadde ku nsi.
- Olumu wesekerera era nowulira ng’oswadde olw’ebyo byewakola okusobola okumufuna naye nebigaana. Kyafuuka kyamma kyo nga toyagala wabeewo akimanya, era wewala nnyo emboozi emwogerako si kulwa weroopa.
- Oyagala nnyo okumanya ebigenda mu maaso mu bulamu bwe. Kino otera okukikola ng’ogoberera obubaka bwawandiika ku mikutu gye egya sosomediya. Olw’okuba wamwagala nnyo, omwagaliza birungi byerere y’ensonga lwaki osanyuka ng’olabye ekifaananyi kye ekirungi ku instagram.
- Ofuna omuntu akwagala naye okimanyi bulungi nti tolisobola kwerabira muntu wo gwewamatira. Oyinza n’okuba ng’osisinkanye abantu ab’enjawulo naye nga balemwa okukwerabiza omuntu oli.
- Okusigala ng’onoonya obwenyi bwe mu nkuyaanja y’abantu. Omuntu eyalemera ku mutima gwo osigala wegomba okumusanga wotamusubira. Okugeza muli mu kulaba mupiira e Namboole naye nga gwe wegomba nti kale singa mba mpisa amaaso ne nengeera Diana, kyoka nga okimanyidde ddala nti Diana abeera Bungereza.
- Obeera n’ebintu ebimukujjukiza gamba ng’oluyimba, ekigambo, oba ekifo ekimu. Katugeze nga lubadde luyimba; buli lwowulira oluyimba olwo omuntu oyo yasooka okujja mu birowoozo byo. Ekyokulabirako, oluyimba “why worry by Everly Brothers” lunzijjukiza omuntu omu mu mbeera eyawukana ku kyenjogerako… lutegeeza kinene gyendi. Kyentegeeza mu kino, wabeerawo ebintu ebikujjukiza omuntu oyo.
- Okuwulira obugya ng’olina gwomulabye naye. Kyangu okumusanyukirako ng’afunye omuntu gwayagala naye si kyangu butawulira bugya. Obwongo bukitegeera nti tolina kuwulira bugya naye omutima si mwangu gwakufuga.
- Tosobola kwerabira byayagala. Olw’okuba obeera wamutegeera nnyo, byayagala obisigaza ku mutima. Okugeza nga yalina akatabo oba akayimba kayagala, tosobola kukerabira. Ate olaba nebwegaba mazalibwa ge, tosobola kugerabira kubanga obeera olina engeri gyewesiba ku bimukwatako oba eby’omugaso gyali.
- Osanyuka nnyo nga akusindikidde obubaka oba okukubira ku ssimu ng’akubuuzako. Muli otandika okwebuuza nti “bambi oba naye abadde eyo ng’andowooza?” So ye ayinza n’okuba nga akulowoozezako mu kaseera ako kenyini wakubidde essimu, gwe nokimalirako obudde nga bwakulowooza.
- Ebiseera ebisinga obeera mu mbeera za kugeerageeranya. Buli muntu gwofuna obeera olaba nga ali wansi nnyo ku gwewayagala. Ate era newesanga nga webuuza nti gweyafuna akusinga ki ddala ddala? Kino kiri kityo kubanga kyabutonde era nga si gwe asoose okukikola.
- Okumala obulamu bwo bwonna ng’oloota ekitalituukirira. Newankubadde obeera okimanyi nti waliwo omugga munene wakati wo n’omuntu wo, naye gwe obeeramu n’endowooza nti oba olyawo katonda asobola okukola ekyamagero nobuuka omugga. Si lwakuba tosobola kumwerabira naye olw’okuba muli okimanyi nti singa omuntu oyo ageza nakuwa akakisa, tolisobola kugaana ka kibe ki!