Omusajja gwenali ntidde okugoberera.
Ekitundu ekyokubiri.
Buli kimu kyaali kitambula bulungi wakati waffe nze ne Tonny. Emirimu twaali tugikwasaganya mu ngeri esinga. Nasisinkana abantu bangi ab’enjawulo nga mwemwali Erick eyantengula omutima. Erick yali kasitoma nga mukama we alina byamutumye.
Omukwano ky’ekintu ekikutomera mu ngeri gyotasuubira.
Nze nali mu yafeesi yange essimu nevuga. “hullo Getu, jangu mangu wano mu yafeesi yange.” mukama wange yeyali ampita. Nasitukirawo nengenda ndabe mukama wange kyampitira. Ngenda okuyingira yafeesi, amaaso nagakuba ku mwami eyali mu suuti enzirugavu. Omwami yali alabika bulungi, nga muddugavu asibye essaawa ku mukono, yalina amaaso amanene ng’atudde agamalidde ku nze eyali ayingidde. Namutunulira naye nantunulira. Kuva buto nga sagala kukaza bantu maaso, naye ku mulundi guno nange nagamusimba nga bweyagansimba.
Mukama wange: “Getu, genda n’omwaami oyo akuwe obutabo bwaleese.”
Ko nze: “kale mukama wange.”
Omwami yasituka nafuluma nga nze muvaako mabega. Namwekaanya entambula ye, ng’ebintu bye si byakupapa anti yatambulanga yetegereza ebintu byetukola. Twatambula okutuuka ku motoka ye nga tewali anyega mune. Nga tutuuse ku motoka, nawulira kungamba “erinnya lyange nze Erick, eriryo gwe ani nnyabo?” Namuddamu mangu nti nze “Getu.” Ko ye nti “nsanyuse okukusisinkana wadde tolabika kuba mwangu.” Ate ntya ssebo?” bwenamubuuza. Teyanziramu, nayingira emotoka, nagyayo obutabo nabumpa. Nga yakamala okunkwasa obutabo, nawulira motoka kuvuuma nga agisimbula. Erick yasimbula emotoka nagenda nga wadde “beera bulungi” takyogedde.
Natambula nentwaala obutabo ewa mukama wange mu yafeesi ye. Bwenadda mu yafeesi yange, ne newuunya abantu abatalina mpisa nga Erick. Naye wadde nalowooza bwentyo, nina ekyaama kyenali ndabye mu maaso ge. Nga nzira ku byange ekyo nga nkivaako.
Waba wakayita enaku bbiri (2) nga ku Erick kwenkuba amaaso. Ku luno teyatuukira mu yafeesi ya mukama wange. “Getu oli bulungi?” [newunya okumbuuza mu ngeri ennungi] Ko nze “ndi bulungi mwaami Erick. “Jangu tugende okime obutabo ku motoka.”Erick bweyayogera mu ngeri enunggamu. Munange, nga nsituka tugenda. Tuba tutuuka ku motoka, ngenda okulengera nga Tonny atutaddeko amaaso obutagatujjako. Ku luno Erick yali alabika nga mukakamu okusinga ku lunaku olwasooka.
Ng’amaze okunkwasa obutabo, kyava angamba “Getu oli muwala mulungi.” samuddamu kigambo kubanga ne Tonny yali agatwegese. Nga ntambula kutwala butabo ewa mukama wange ne Erick ng’asimbula emotoka. Wabula ku mulundi guno, mba nakatambulako ebigere nga bitaano, kyenva ntunula emabega nga kumbe ne Erick yali antaddeko abiri olw’okuba ne Asikaali yali tanaggula Gate. Mu kusimbagana tuti amaaso, Erick yankubira ka jambo (bye) nga ne Tonny alaba. Samuddamu kubanga emikono gyombi gyaali gisitudde obutabo.
Nga ntwalira mukama wange obutabo, nange nga nzira ku gyange mu yafeesi. Natandika okulowooza ku mbeera za Erick zagyiddemu nezaluli nga mu butuufu ku luno yali musanyufu. Mu ndaba yange ey’ebintu, Erick yali ayingidde emyaka 30. Ku luuyi lwange tegyaali mibi, naye nalina Tonny kumpi bwentwenkana emyaka nga simulinako buzibu.
Erick yatandika okujja ku mulimu kumpi buli lunaku. Olumu yajjanga nga talina nsonga emuleeta naye ng’afuna byeyekwasa. Enkolagana yange ne Erick yeyongera okukula, ebyaddala yali ya mirimu mu kusooka. Tonny teyakirabamu buzibu kubanga era naye yali amanyi nti bikoma ku mulimu. Erick yalina engeri gyakwatamu ebintu bye nga tapapa nansonga. Wabula gyenakoma okwetegereza embeera za Erick ate gyenakoma okumutegeera nti musajja musuffu, alina ebirooto ebirungi eri ebiseera by’omumaaso.
Nga bwenakugambye mu kitundu ekyasoose nti twalina ekisaawe awo okumpi, zaali ssaawa nga nnya nga tuli ku kisaawe nze ne Tonny ko n’abantu abalala. Twaali tuddukadduka ne nengera Erick ngajja gyetuli. Nakyewunya kubanga tewaliwo nteekateeka yonna nti alina okundaba. Ekisooka yali wiikendi nga tetukola, ate ng’andowooza nti Erick talina muntu mulala mu kitundu kino gwamanyi okujjako nze.
Erick weyajjira nga nze ne Tonny tudduka twekute ku mikono. Nze nalowoza nti andabye kumbe nga yali tatulabye. Yatambula mpolampola okutuuka mu kisaawe. Nze nalowooza nti yali andabye nga ndi ne Tonny natayagala kundaga nti andabye. Ng’amaze okudda luuyi olulala, nze ne Tonny twasigala tudduka mpolampola. Natuuka nenerabira nti Erick yali ku kisaawe, anti n’abantu baali bangi nga baze kukola dduyiro.
Kati tuba twegobagoba nze ne Tonny, kyenva ntomera omuntu mu butanwa. Mu kaziringatano nga ngezako obutagwiira muntu, ate ngenda okulaba nga ndi mu mikono gya Erick yogayoga nga tuli wansi mu bisubi. Ekigwo kyaali kya ddala era katono twenywegere nga tetugenderedde. Nga tukyaali wansi ffembi mu ngeri ey’okwewuunya, natunula mu munye za Erick. Teyaninda kubako kyenjogera, “kino sikigambangako muwala yenna, olina amaaso amalungi.” “Nagago masufu” bwenamwanukula naye ng’olulimi terusituka bulungi.
“Oli mufumbo?” Erick yambuuza. Namwenya bumwenya kyoka. “njagala kulya nawe eky’egulo leero. Getu kiriza bambi” Erick. “Tugenda kulira wa?” Namubuuza mu bwangu. Ng’ayogera amwenyamwenya, yabako ekifo kyandagirira. Yangamba nti ebisinga tujja kubyogerera eyo nga tulya eky’egulo era mubuulire lwaki mugwiridde. [Twaseka ffembi} Twasituka mangu ddala, kumbe nga Tonny yawulira byonna byetwali twogedde.
Tonny teyandaga mbeera yonna, yasigala mukakkamu nga talina buzibu. Erick olwasituka wansi, yatambula butambuzi nafuluma ekisaawe nagenda. N’okutuusa olwaleero simubuuzanga ki kyeyali anonye ku kisaawe. “Ku ssaawa emu ngenda kusisinkana Erick, ansabye ndye naye ekyegulo.” Bwentyo nga ntegeeza Tonny. “Sirina buzibu kasita obeera omwegendereza. Anti era ndaba sikulinako buvunanyizibwa wadde nga nkwagala. Tonny yayogeranga amaaso agatadde ku bantu abaali ku kisaawe.
Twasigala ku kisaawe nze ne Tonny wange nga tuzannya emizannyo emirala. Naye wadde Tonny yali agezako okwefuga, nakiraba nti teyali mu mbeera ng’ezabulijjo. Essaawa ziba ziwera musanvu kitundu (01:30 pm), namusaba tugende ku ka woteri kaffe wetwatera ng’okulya, ate n’oluvanyuma buli omu adde ewuwe. Tonny teyagaana era twagenda bulungi nga tufuna emere. Emboozi yali ntono ddala wakati waffe. Nze nali ndowooza ku Erick na butya bwengenda okwambala. Simanyi n’okutuusa leero Tonny kyeyali amaliddeko ebirowoozo. Naye, tuba tumaliriza okulya kyava yeyogeza “ndowooza ogenda kusula naye leero.” Namutunulira enkaliriza naye saamuddamu kigambo kyonna. Nga bulijjo nga tusasula buli omu byalidde, nga tuva mukifo. Bulijjo yali atera okumperekera naye ku mulundi guno yantegeza nga bweyalina eby’okukola e waka nga bimulinze.
Nze saakifaako kubanga kyenali nsinga okulowoozako kwaali kusisinkana Erick. Nga ntuuse e waka, natandika okwegeza mu ngoye zange nsobole okufunamu olunnyumira obulungi. Bwenamaliriza, nga mbeerako byentegeka anti enkeera yali sande nga nina okusabako mu kanisa. Obudde bwatuuka nenyingira ekinaabiro ne neyiwako ku mazzi. Mu butuufu nanaaba nga nyimba buyimba bwa mukwano nga nsinziira ku kyenali ndabye mu maaso ga Erick wali nga tugudde ku kisaawe. Nga nfuluma kinaabiro nga nekolako bulungi okusinga bwembeera bulijjo ku mulimu. Bwenamaliriza, kyenva nzigyayo akateteeyi kange akeeru kenali ntegese obulungi nga nkenaanika. Nalina obugato bwange obuddugavvu nga bubika ebigere, nga nabwo mbussa mu bigere, nga nkwata n’akasawo kange wama gwe nga nyumye ebyaddala. Kuva buto nga nfaayo nnyo okulaba nti nfuluma enyumba nga ndabika bulungi, ne kumulundi guno, netunulira nnyo mu ndabirwamu nenkakasa nti siriiko wakyaamye. Nalinnya taxi nentuuka mu kifo wetwaali tutesezza okusisinkana. Ekintu kyenayagala nga nakatuuka mu kifo, Erick namusanga yatudde dda era namusiima olw’ekyo. “Ohh, olabiseko Getu?” [namwenya bumwenya] “olabika bulungi mu kateteeyi ako” ko nze “webale kusiima Erick.”
Yatereeza entebe nentuula naye natuula. [mu butuufu ekyo nakyo kyandetera okwongera okumusiima]
“Ntumizza amatooke, omuceere n’enyama. Binakukolera?” yambuuza ng’omukono gwe gukute ku ccupa ya wayini (wine) “binkolera bulungi” bwenamuddamu.
“Ka wine kano kalungi njagala tukanywe fembi” ng’ayogera antunudde mu maaso.
Ko nze “wewawo”
Erick: “mwatu toli muzibu wa kusanyusa.” [netuseka ffembi]
Nga twakatandika okulya, twanyumya mpolampola. Bazadde ba Erick baali bayawukana. Yalina bannyina babiri nga bombi bafumbo. Erick yali ava mu gwanga lya Kenya. Yasoma nafuna diguli mu bwa kitunzi. Ng’alina kampuni gyakolera nga yamyuka agikulira wano mu Uganda.
“Muli mpulira ng’obwavu n’okwerakirira bye byaviirako bazadde bange okwawukana. Taata yalina omulimu gwakola nga omusaala mutono, ebyetaago byaali bingi nga talina ngeri gyamalako awatali kusoomozebwa. Ekyo sigenda kukikiriza kutuuka ku maka gange bwendiba ngatandise.”
“Ekyo kirubirirwa kirungi Erick.” Bwentyo bwenamuddamu nga nsitudde egiraasi yange.
Yantunulira nasika ebisige. “Oba byenyumya nkuwuubaza?”
Namumwenyeza. “Nze nsuubira eky’okumpuubaza kiri wala nnyo nawe. Njagadde ekirubirirwa kyewetereddewo nti amaka agago tegalisasika lwa mbeera ya bwavvu. Ekyo mbadde sikirowoozangako.”
“Oteekeddwa okukirowoozako. Tomalira budde bwo bungi mu kampuni nga ku lwomukaaga olowooza ku kya kudduka buddusi ku kisaawe.” Yanywa ku giraasi ya wine. Ye simanyi wandiba wafuna dda omusajja gwogenda okufumbirwa nga buli kimu bakikutegekera dda, era nga n’ebiseera byo mu maaso bitangaavvu ddala.”
Amangu ddala nga yakogera ekyo, nalowooza ku Tonny wange n’omulimu gwe ogutalina njawulo n’ogwange, busente butono! Natunulira Erick ng’alina ebirubirirwa mu bulamu, ekitaali ku Tonny. Mu butuufu nalina ebintu byesekakasa ku Tonny. Teyalina mbeera yakuyaayanira kisinga. Ezaffe twakolanga zakulyako, kwambala, nakwejalabya mu bitaliimu.
Mu kasirikiriro, Erick yambuuza, olina omusajja? Oba olina akulinze? Mu kulwanagana n’ebigambo, namuddamu nti “okutwaliza awamu sirina muntu yenna.”
“Kati kitegeeza tewali buzibu nebwenziramu nenkusaba okulya nawe ekyegulo!” Mu ngeri y’olusaago, namudamu nti “okakasa otya nti buli kimu kinabeera nga bwoyagala?”
“Nkitegeera,” yanziramu mpola. Awo weyatandikira okumbuuza buli kibuuzo ekyamujjira mu mutwe.
Erick nange twatandika okubeera ab’omukwano ogwa ddala naye nga temuli bya kubeera mu buliri. Erick yali akwata mpola ebintu bye. Omukwano gwange ne Tonny gwatandika okusebengerera mpola mpola nga Tonny takyampita kumukyaalira. Sisuubira nti Erick okubeera mu bulamu bwange kirina engeri gyekyamukosa. Kiringa eyali akyanyumirwa okubeera obw’omu nga tayagala kuwasa- oba nga yali ampa mukisa nfune oyo gwensuubira nti yasinga.
Wadde Erick yali akwata mpola ebintu bye, naye yali mumalirivvu mu byakola. Yambuuzanga ebibuuzo bingi ng’agezako okuzuula endaba yange ey’ebintu ne ntegeera yange nga nziramu ebibuuzo. Olumu kyanetaagisanga okusooka nensirika nga bwenfumitiriza eky’okuddamu. Namuddangamu ngansinziira ku mutima gwange na ki ekindi mu mutwe. Kino kyamusikiriza okumbuuza ebibuuzo ebiwera anti nga simuwuubaza mu mboozi. Erick yandetera okwerowoozako ng’omuntu n’okumanya kyenetaaga mu bulamu.
Yanguliranga obulabo obulungi, era nansaba asisinkane bazadde bange. Sagaana kubanga nali sirina muntu mulala yenna gwenali ntuteyo, olaba ne Tonny nali simutwalangayo. Twagenda e Buddu naalaba bazadde bange nga mukwano gwange sso ssi nga bba wange. Yandetera essanyu ku mutima, nga buli lwemba naye mbeera musanyufu. Natandika okwesunga buli lunaku olwakyanga, nga nyumirwa obubaka bweyamperezanga ku ssimu, nga buli lwetuba twawukana, anywegera mu kyenyi. Bino byonna byandetera okumwagala ennyo.
Lunaku lumu yansaba antwaleko mu kifo ekimu tulabe abayimbi. Bwetwali tukomawo, yandeeta mu motoka okutuuka waka. Yansaba ayingire kyokka nensooka okwesikamu. Salina kyakwekwasa namukiriza nayingira. Nga tumaze okuyingira, …..
Mu kitundu ekyokusatu njakulaga ebyaddirira nga Getu ali munda mu nyumba n’omusajja Erick eyali amaze okumusensera obusomyo bwonna.
