• November 22, 2024

Omusajja gwenali ntidde okugoberera.

 Omusajja gwenali ntidde okugoberera.

Ekitundu ekyokuna.

Ekisenge kya Erick kyaali kya mulembe ddala. Wadde abasajja abasinga batera okubeera n’enyumba nga buli kimu kiri wakyo, enyumba ya Erick yali ntegeke bulungi ddala okuvva mu ddiiro paka mu kisenge. Nga bwenakugambye mu bitundu ebivvuddeko Erick yali mukwata mpola nnyo.

Mukwenywegera, tweyambako buli omu okujjamu mune engoye. Era nga kino twakikola mu mbeera ya buli omu kuzuula mune. Mu kaseera katono ddala twaali ku buliri. Buli omu yeewa mune awatali kwerekerayo. Erick yasiba omwoyo gwe ku gwange. Nga tumaliriza byonna, nawulira nga nkyuuse nzenna. Nali nfuuse Getu omupya. Getu mukyala wa Erick.

Ebiseera ebyaddirira, nasigala nkola mu kampuni. Erick yasigala aleeta obutabo. Tonny yafuna omulimu mu kampuni endala. Omukwano gwakulira ddala wakati wange ne Erick.

Nze ne Erick twayogera ku by’okufumbiriganwa. Twakubaganya ebirowoozo ku baana ba meka betulina okuzaala, n’ebbanga ki lyenina okumala ng’ankola.

Omwezi gwaali gwa kumi, Erick nansaba tugende babiri okulaba ab’ewaabwe mu Kenya, ndabe jeyakulira n’abantu baayo. Nakiriza kubanga nange nali nesunga okulaba ku maama ne Taata abamuzaala. Nga tutuuse mu kibuga Nairobi, Erick yantegeeza nti twaali tunatera okutuuka ewaka. Mu butuufu yavvuga akatemerero katono netutuuka ku nyumba enenne nga yetolooloddwa ekimero ekirungi ddala. Nagenda okulaba nga Erick akuba engombe, ne mubuuza “olina gwozze okulaba wano?” Ko Erick “tuzze kulaba abankuza bayite bazadde bange.” Wano sayongerako kigambo kyonna. Nakitegeera nti Erick yali avva mu maka agabafuna sente. Essaawa zaali nga kumi (04:00) ez’olwegulo, ng’obudde bulinga obwagala okwefuula enkuba etonnye.

Nga tuyingidde mu kikomera munda, Erick yafuluma emotoka nabuuza omwaami eyali aggudde gate nti “oli otya Jim?” Yanzigulira oluggi lw’emotoka nenfuluma. Mu butuufu enyumba yali nenne; nga nnungi okuzaama. Sirina kyenayogera okuleka okukwata omukono gwa Erick netuyingira mu nyumba.

Enyumba yali ejjudde amatiribona munda. Twasanga Taata wa Erick alaba mawulire nga Maama we ali mu kusoma katabo kesamanya linnya. Bazadde be baali bantu balungi, naye nga tobaleetako kasigiri. Bansanyukira era nange mu mutima nasanyuka okubalaba. Ekintu kyenabewunyako, bwebutasanyuka nga bazadde bange bwebakola singa oba oludde okubalaba. Bano baali banjawulo nnyo kubange.

Twasulayo olunaku lumu netusiibula okudda e Kampala. Mu kuvvaayo, maama Erick yangwa mu kafuba nti “muwala werabirire. Erick akwogerako birungi byerere.” Wano wenakitegerera nti Maama yaali ansiimye kubanga era bwetwaali tulinnya emotoka, yagamba Erick “muno oyo tomulekangayo ng’ojja eno.” Namwenya ne Erick nankuba eriso mu ngeri embagulizako nti “kiwedde.”

Nga tukomyewo mu kibuga Kampala, twatuukira mu kafo kaffe wetwasookera okulya emere nga tutandika enkolagana yaffe. Awereza emere yatubuuza kyetugenda okulya, ko Erick, “nga bulijjo, ono w’amatooke, ate kati agasubwa nnyo kuba amaze kumpi naku bbiri nga tagalyako. Si kyo Getu?” Bino yabyogera ankute mu ngalo. Batuleetera emere ne tulya, nga Erick bwamweenya.

“Olabika oli musanyufu.”

“Nga lwaki sibeera?”

“Nina kyesimanyi?”

“Tofaayo byonna olina okubimanya.” Ng’eno bwaalya.

Muli nakiraba nti yalina ekintu kyalowooza nga kireese ssanyu ku mutima gwe. Nga tumaze okulya, Erick yampita nti “Getu, naye okimanyi nkwagala nnyo?” Namweenya bumweenya era naye namweenya. “Okimanyi nti bazadde bange bakusiimye?” Ko nze nti “waawu, nga ndi wa mukisa!” Erick yasituka nankwata ku mukono nga bweyakolanga awatali kukoowa, netwolekera emotoka. Nga tuyingidde mu motoka, Erick yakutama ku siteringi nasirika. “Ate kiki mukwano?” Teyanziramu. Kyenavva munyeenya, “Erick oli bulungi?” Yakutamulukuka nakwata ku matama ge gombi mu ngeri y’okuwanirira eddoboozi ligende wala. Kyeyavva awogana ennyo, “Getu nkuyagalaaaa….”

Namukwata nemunyweeza, ko nze “Erick okimanyi nze asinga okukwagala.” Yanywegera mu kyenyi, nasimbula emotoka ng’avvuga yenna amwenyereketa. Nga tutuuse ewuwe, gwaali mukwano nga bulijjo naye ku luno kyaali kisingako ku kya bulijjo. Nze nali musanyufu nti ndabye ku bazadde be, ate nga ye musanyufu nti bazadde be banjagadde.

Olunaku lumu nga tuli mu woteri tulya emere, Erick yateeka wuma (folk) wansi nantunulira obutanzijjako maaso. Namubuuza nti “kapya ki kolina leero?”

“Kino nkimanyi nti kiyinza okuwawaala mu matu go, naye manya nti obulamu bujjudde ebyewunyisa bingi. Na kino kigenda ku kwewunyisa. Naye manya nti tukikola ku lwa biseera byaffe ebyomumaaso.” Yasitula esowani ye nawuuta ku nva ze, ate oluvvanyuma esowani nagiza wansi. “Getu, bampadde omulimu mu kitongole ekimu e kya gavumenti mu Kenya, omulimu ogw’ekirooto kyange. Ngenda kubeera n’abantu abasoba mu abiri nga bali wansi wa mbalirira yange. Lya nawe emere, emere nnungi eno, supu awooma.”

Nakwata folk yange nendya ku nakati wange. Yanema okumira nga naye akaawa. “Kenya kitundu ki?” wakiri ekyo nasobola okukibuuza.

“Nairobi. Si wala nnyo ne waka. Ekyo si kirungi?”

Nateeka wansi folk yange. “Erick,” nayogeza ddoboozi eriri wansi ddala. “Bulijjo manyi nti tugenda kubeera mu Kampala bbanga lyonna.”

Yantunulira, ng’alina ekifi ky’enyama ku folk agenda okukiteeka mu kamwa; nasekamu katono, nakiza mu sowani.

“Nkyamukiridde nnyo  nendowooza nti nawe onansanyukirako.” Yaleeta engalo ze nakwata ku zange. “Getu, manyi kyekitegeeza okukugamba ovve mu kampala, era nkimanyi nti okubeera mu Kenya tekibeerangako kirooto kyo. Kati owulira nga nze akuliddemu olukwe. Naye Getu jjukira nti tuteekeddwa okubeera fembi. Bino mu bulamu bibaawo nga tebyewalika. Tolina bwogenda kukivvaamu ate ng’omulimu tugwetaaga ng’ababiri.”

Namusikako omukono. “Kino kirabike kinkanze bukanzi.”

“Iye, nkitegeera. Naye manyi ojja kuntegeera. Walaba ekibuga Nairobi nga bwekinyirira, ate nkukakasa nti ojja kunyumirwa Nairobi n’okusinga Kampala.”

Nagezako okumweenya naye nga mpulira okutya n’okweralikirira okw’amaanyi.

Enaku zatambula, naye okweralikirira n’okutya byagaana okunvaamu. Obulamu bwange, ebirooto byange, bazadde bange, baganda bange, n’emikwano gyange bonna mu Uganda. Mu Uganda mwe mwali buli kimu ekyange. Entandikwa y’obulamu bwange bwange; obuto bwange bwonna nga buli mu Uganda. Amatooke ng’emere yange, oluganda ng’olulimi lwange, mu butuufu nali seraba mu nsi mpya. Mu ba Erick balina buli kimu ekyanguya obulamu, naye nze nali sagala kuvva mu Buganda; Uganda. Nali ndwaawo okugenda ewaka, naye twawuliziganyanga kumpi buli lunaku. Eddakiika enyingi ku MTN nga nkubira Taata ne Maama essimu, byonna byanzjjula mu bwongo.

Ebirowoozo byanzijjula amaziga negampitamu. Erick yali musajja mulungi, alina omukwano omungi jendi, musajja mukwata mpola ebyanyumiranga, ebirooto byaffe byonna….

Eby’okuzimba olubiri mu Uganda byakoma. Omukwano gwasigalawo mu makati gaffe. Twasigala twogera ku biseera byaffe ebyomumaaso, era nagezako nnyo nga bwensobola obutalaga Erick nti sagala kugenda Kenya. Naye amazima gali nti, olumu nazukukanga ne nkaaba ng’otulo tubuze.

Erick yali agenda kulya Sekukulu, nansaba tugende fembi, mbu Maama we yali atulinze. Tunyumirwe olunaku nga tuli ne bazadde be.

“Kiriza nawe, ojja kunyumirwa olunaku. Tulye olunaku ne bazadde bange, ate jjukira maama yangamba nti sikuleka mabega nga nzirayo. Ewaka tubeera n’abantu bangi ku Ssekukulu, ab’enganda, ab’emikwano, Getu nesunga okukulaga banyinaze.”

Naye nagaana. Muli nalinamu endowooza nti oba olyaawo eyo yeyali Ssekukulu yange esemba mu Uganda nga ndi n’abantu bange e Buddu.

Erick yantunulira era nasoma ekyaali mu birowoozo byange. “Omuntu agamba mbu ali mu mukwano, lwaki ensi mwewakulira ogikulembeza? Mbadde manyi nti okutya kwewafuna nga nkugambye eby’okugenda tubeere mu Kenya kwakuggwaamu. Getu mbadde manyi osobola okulowooza ekisinga ku lw’omukwano gwaffe_ obulamu bwaffe, abaana baffe, ebirooto byaffe….”

“Lwaki tetusigala wano nosigaza omulimu gwolina? Buli kimu kyandibadde kyangu.”

“Ok, kati bwenkola nga bwoyagala, oluvvanyuma lw’emyaka ebiri nebangamba nti omulimu guweddeko, oba nti kampuni ensindise ngende nkolere e Egypt okumala emyaka 5 nga sidda waka?”

Namutunulira nga sirina kyakumuddamu.

“Getu, buno obulamu ogenda yonna jebukutwala.”

Nera samuddamu. Muli nakiraba nga kyayogera kituufu, naye nga sagala kukikiriza.

“Kale muli ngamba nti singa osobola okunjagala okusinga bwoyagala Uganda!”

Gwemulundi ogwasooka okulaba Erick ng’ayogeza enaku esembayo. Namutunulira ng’ebiyengeyenge bimuli mu maaso. Nawulira obulumi mu mutima, nawulira nga njagala kugwa mu kifuba kya Erick mugambe nti buli kimu kiri bulungi_ naye nali sagala kuleka nsi mwenazaalibwa, ensi omuli baganda bange.

Ki ekyaddirira? Linda ekitundu eky’okutaano.

Digiqole ad

Related post

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *