Omusajja gwenali ntidde okugoberera
Ekitundu ekisooka
Mu buto tukula tulina byetwegomba bingi. Ate bwetwesanga nga tuvva mu maka agalimu abazadde abafaayo eri abaana, kyangu ng’omwana okulowooza nti obulamu bujjudde birungi byerere. Okusoma tekubeera kuzibu nebwekibeera nti enyingiza eba ntono mu maka.
Olumala okusoma, ng’ofuna omwaami, muyingira bufumbo kuzaala baana. Kituufu, nga tonatuukiriza byonna, wabeerawo amaggwa agafumita ku buli mutendera gwotuukako.
Erinnya nze Getu, mu kaseera akamu nalowoozako nti nina byonna. Mu kukula kwange bangamba nga nti ndi mulungi okuzaama, nga nina amaaso amalungi, entumbwe ennungi, mpozzi n’egonjebwa nga njogera. Nakulira mu kyaalo mu bitundu by’Ebuddu, ekitundu ekyaali kimanyiddwa ennyo mu kulima amatooke. Nze nakula manyi nti amatooke y’emere yokka, ng’esigadde eyitibwa linnya lyayo lyenyini. Nakuzibwa n’ekyeejo ndowooza, kubanga nze nali sirya mere ndala yonna nga ssi matooke. Nakulira Buddu, ne nsomera mu Buddu, e waka nga nze mwana omukulu ekitegeeza nti bato bange bonna nga baali Buddu.
Nzijjukira nnyo ebiseera ebyo nga tuli waka mu biseera by’omwezi tuzannya ekiro, obwaffe nga tebuziba. Twakula tulina omukwano ogw’ekimemette wakati waffe ng’abaana n’abazadde okutwaliza awamu. Nakula sisuubira nti waliyo omuntu oba ekintu ekiyinza okutwawula ne kiyuzamu omukwano gwaffe. Mu butuufu nga sirowooza nti walibawo akaseera nga nina okulonda wakati w’omuntu gwendabye obukulu n’owoluganda lwange.
Ekiseera kyatuuka nga nina okuvva e Buddu ngende ku kibuga (Kampala) okunoonya omulimu. Nasooka kubeera wa Ssenga e Kyanja nga bwe noonya omulimu. Nafuna omulimu mu kampuni y’amasimu emu ng’omusaala mutono naye ng’ate gusobola okumbeezawo ng’omuwala omuto atalina bizibu bingi.
Nga maze okutereera ku mulimu, nafuna omusajja ku mulimu kwenyini. Tonny yali musajja mulungi naye yali ansinga omwaka gumu gwokka. Nze ne Tonny twanyumya nga nnyo ku bikwata ku mbeera y’ekyaalo. Mu butuufu Tonny yali ansanyusa nga mbeera sirina kyentya kasita abeera okumpi nange. Nga maze okukunganya obusente, nasalawo okufuna enyumba ey’okupangisa okumpi n’omulimu ne nva e Kyanja e wa Ssenga.
Okumpi ne wenali nsula waliwo ekisaawe nga olw’egulo tugenda netuzannya ku mupiira ogw’ensero nze ne Tonny. Ate oluusi twabeerangayo nga tudduka buddusi okutwaliriza obudde. Kati lumu akawungeezi akalungi enjuba ng’egoloba, twali tutudde ku kisaawe Tonny nayisa omukono emabega wange nankwata ku kibegabega.
“Kati nkulaba onteeka ku bunkenke, Getu. Era oyagala male okukugamba nti jangu ewange tulabe filimu ekiro.” Bino Tonny yabyogera ng’amagamaga alabe oba waliwo atulaba, naye ng’ekyomukisa ekirungi tewali muntu yadde omu.
“Wawu, ebyaddala tolimbye, Tonny!” Ebyo nabyogera nseka nga mpulira ensonyi.
Yankwata nanyweza ne tugwa mu bisubi wansi. “Otyo, kati ng’onina wano, ogenda kukola ki? namubuuza mu ngeri ey’okusaagirira. Eby’okuzannya byadda ku bbali nendaba obumalirivvu mu maaso ga Tonny. Ekyaddirira kwaali kwenywegera. Tonny yali kika kya musajja kyenjagala__ ng’alina amaanyi, ate ng’ayagala okusaagasaaga.
Yali alabika bulungi, nga mweruyeru ku mubiri, ng’alina enviri za kaweke, naye ng’amaaso ge tegalaba bulungi olw’ensonga nti yali abeera nyo ku kompyuta, era nga kino kyamuvirako okubeera ne galubindi buli kaseera. Twatera nga okwogera ku biseera byaffe oby’omumaaso, naye olw’okuba nti nalina emyaka 20 ng’alina 21, tetwakiteekako nnyo birowoozo.
Okwenywegera kwaffe kwafuuka okwa ddala. Obudde bwaali buwungeera, ng’ensi nsirifu, nga tuliwo ffekka__ olw’obuzito bweyali amaliddeko, n’embeera gyetwalimu, byonna byandetera okuyagayaga mu mutima nga mwetaaga ebyaddala.
Mu kusoma kwange kwonna, senyigirako mu bikolwa bya kwegatta n’omuntu yenna. Ssi kuba nti nali sifuna bangambako, naye nali ntya nnyo ebintu ebyo anti nga Taata yatukuutira obutakola bya busiru nti tujja kufuna sirimu n’embuto tufe nga tukyali bato. Tonny yasooka kunkwaana nga ngaana. Naye kumulundi guno nga tuli mu kisaawe bwababiri, yali anfunzizza mu butuufu nga sirina kyenzizako okuleka okumwewa mu mutima ne mubirowoozo. Yanesikako mpola nambuuza “lwaki tetugenda e wange netulaba filimu?” Nassa ekikkoowe nemuddamu nti “tugende.”
Nga tutuuse ewuwe, twayingira mu nyumba, nali mpulira okutya munda mu nze naye ate nga newaddeyo ekiba kibe. Namusaba male okunaabako, era nampa Towel nandaga n’ekiyigo aw’okunaabira. Nga maze okunaaba naye yanaaba oluvvanyuma netuyingira ekisenge.
Tonny yali yamanyiira galubindi ku maaso, kuba ne bweyamala okunaaba yazambala nayingira obuliri. Namusaba okuzijjako. “ku lwa katonda n’ensi ye, Tonny jjako galubindi ezo”
“Anti mbeera siraba” bwe yanziramu.
“Anti tolina kyewetaaga kulaba” bwentyo nga muddamu mu mpola.
Nazimujjako mpolampola nenziteeka ku meeza okumpi n’ekitanda. Okwenywegera kwe kwaddirira, emitima ne giseyeeya olugendo nga tegimanyi na ki kiyinza kugituukako. Nga gituuse e buziba ddala, kyaali kiwedde. Buli gumu gwakomawo mpolampola era ngenda okuwulira nga Tonny akwatakwata anoonya galubindi ze. Nasituuka nenzijja wenali nzitadde, nenzimuwa nazambala.
Yakyuka nantunulira okumala eddakiika nga ziizo awatali kuvaamu kigambo. Nalaba omukwano mu maaso ge. Kyeyava yekaza mu ngeri y’okusaagirira mbu “okimanyi nti nkufunisiza olubuto?” Ko nze “webale Taata mwana” netuseka ffembi.
Nga tumaliriza ffembi okunaaba, nalina okudda e wange nga sisobola kusula wuwe. Nga tuyimiridde wabweru twakafuluma, Tonny yankwata omukono nantunulira mu maaso. Bino tebyalimu kusaaga yadde okwekoza nga buli kumu kiva ku ntobo ya mutima. “Getu nkwagaliza kirungi kyokka mu nsi eno.” Enkeera ku mulimu twali mu mbeera yabulijjo. Enaku ezaddirira, twasigala tulabagana. Omukwano gweyongera okukula wakati waffe. Twanyumyanga nnyo okusinga nebwegwali nga tetunatandika bya kwagalana okwa ddala. Twanyumyanga ku biseera by’omumaaso naye nga tetugenda wala yadde okukola entegeka zonna ez’obufumbo. Mu butuufu omukwano gwaffe tegwalimu bukuusa yadde ebigendererwa ebisinga ku kyetwagabananga ababiri.
Olumu nalowoozanga ku butya obulamu bwebuyinza okubeera singa tufuuka mwaami na mukyala. Nalowoozanga ku baana betuyinza okuzaala era bayinza kufaanana ani ku ffembi. Eky’enaku, Tonny talina lunaku n’olumu lweyaleeta ku mboozi y’okuzaala oba okutandika okubeera ffembi. Nalinda akyogereko naye talina lunaku lweyakyogerako.
Emyeezi gyatambula nga tuli ku mulimu. Buli kimu kyaali bulungi, nga Tonny akola bulungi emirimu gye, nange bwentyo ku gyange. Obulamu bwanyumira nga ndi mu kampuni eno kubanga nasobola okusisinkana abantu abalungi bangi, nga ne Erick mwe yajjira. Erick yalina kampuni gyakolera wano mu Uganda, naye nga munna Kenya.
Mu kitundu eky’okubiri, ngenda kulaga engeri ERICK gyeyakyuusa omutima gwa Getu, nagwa mu mukwano omulundi ogw’okubiri ate nga ne Tonny yali akyaliwo.
2 Comments
But ladies oba mwabaki
hehehe… Ate mu ngeri ki?