Osobola okulwanira omuntu gwoyagala?

Okulwanira omusajja nwanira akatogo mu lumbe.
tamanyiddwa.
Mba mpitayita eyo mu kiteezi, anti nange ntawuka nnyo, ye owange mba butazunga eno emboozi nandigigye wa?
Mpitayita, nsayirira engere nva kulambula ku bamanye mu kitundu, nempulira ennyota n’enjala nga binzita, kwekyaama mbuuze wenyinza okufuna ekadda eri omumwa, bennabuuza tebaali babi nga bandagirira ekirabo ky’emmere ekimu ekyaali obusukka kkubo, kyenva nsayirira nensala ekkubo nenkyesogga.
Nyini kifo yali mukyala munyumya era ng’ayaniriza abantu, ye abaffe, ani akola mu kirabo ky’ebyokulya nga tayaniriza bantu? Olwatuula nensabirawo obutunda, awo nno ndyoke ndowooze ku kyenjagala okulya okusinziira ku nsawo yange. Tebankola bubi nabo nebansimba egiraasi.
Munda mu kirabo nasangamu abami babiri abaali banyumya emboozi, ng’omu agamba, mukyala we yamukwatidde mu bwenzi era nakuba bubi nnyo omukyala oli gweyamusanze naye, ng’essaawa eyo mukyala we yabadde atemeza mabega wa mitayimbwa.
Omwami yabadde akyayongerayo emboozi, omukyala nannyini kirabo kwekumusala ekirimi, “ddala ku mulembe guno, omukazi ategeera olwanira otya omusajja? Ye abaffe munno batuuse okumukuba nga gwe ssenkulu oliwa? Era lwakubuuza, ddala oyinza okusigalawo nga gimaze okuwunya? Nkakasa wabadde omaze okuteekako kakokola tondeka nnyuma.” Ebyo byebyabadde ebigambo by’omukyala.
Yayongeddeko nti “nze ow’engabi sirwanira musajja aga nnyabo omugenzi. Nze okulwanira omusajja, nwaniramu akatogo ku lumbe.”
Emboozi yabadde mpaanvu naye owange, naalaba mumpita wa lugambo! Awo nze nno kwekufunawo omulamwa, era nga y’emboozi gyembaleetedde bannywanyi nga mbuuza, nti “wamma ddala omuntu gwoyagala osobola okumulwanira? Oba nawe olinga oli ow’engabi, mbu ye wakiri alwaniramu akatogo ku lumbe!”
Ekibuuzo:
Abaami n’abakyaala, osobola okulwanira omuntu gwoyagala?
Mukwano gwange kozesa akabangirizi akali wansi (comment section) tukubaganye ebirowoozo ku nsonga eno.
Webale nnyo!
