• July 4, 2025

Sagenderera kumenya mutima gwo.

 Sagenderera kumenya mutima gwo.

Nsonyiwa.

Ndi mukakafu nti oninako obusungu wadde nga sikusuubira kuba ng’oninako obukyaayi.

Mu kaseera kano sisobola kuzuula bigambo bituufu byenyinza kukozesa. N’ensonga empandiisa bino byonna wano nyiinza obutasobola kuginyonyola. Oba oli awo mpulira ng’alina omusango. Kale omuntu ayinza atya okugaana omusajja asobola okukola kyonna ku lw’omuwala gwayagala?

Ndi mukakafu nti omuwala yenna, yandyegombye okubeera mu kifo kyange. Mazima omusajja ng’amanyi kanfankunali wo kumpi ebitundu 70% naye nga mwetegefu okukubererawo! Omusajja asobola okuwolereza mu kibiina ky’abantu abangi. Omusajja eyandikoze kyonna okutuuka ku ntobo y’omutima gwo. Omusajja eyandikomyewo emirundi gyonna wadde ng’omugobye emirundi egitabalika.

Sisobola kugamba nti nali sikulowoozako. Ne leero nkulowooza nnyo muntu wange naye si mu ngeri gyewali oyagala nkulowoozeko. Amazima gali nti n’olumu nakubyanga obufaananyi ku butya bwetwandibadde nga tuli wamu. Twandibadde n’amaka amalungi, ng’okusaba ku makya n’ekiro teeka kubanga manyi nti oyagala nnyo katonda. Obudde nga buwungeera twanditambudde babiri netukomawo ewaka nga buzibidde ddala. Wandinyambyeko okukola dduyiro anti ng’okimanyi ddala nti sagala kubeera na mubiri gumalako mirembe. Enkuba ng’etonnye, twandigizanyiddemu anti ng’omanyi nti njagala nnyo ebinziza obuto. Twandilabye filimu zonna ezinyuma, nga nkusikiriza ovve ku filimu gyolaba tusome akatabo kensubira nti kagisinga okunyuma. Ne birala bingi nnyo bye twandinyumiddwa nga tuli babiri (omwaami n’omukyala). Singa nagezaako okusika omutima gwange, twandikitute ku ddala eddala. Naye munange nalemererwa.

Lwaki nakuyiwa?

Okusalawo kwonna kwenakola, temwalimu kigendererwa kya kukulumya. Mu butuufu sakuyiwa nti lwakuba wali tongwaana, oli musajja wa mulembe omukazi yenna gweyandyegombye okumalirako ebirowoozo bye.

Sakuyiwa nti lwakuba neraga nga bwoze okinteekako nedda munange. Natya nti nali sisobola kukwagala nga bwewali ogwaanira.

Era sakuyiwa nti lwakuba nalina enteekateeka z’okuddira eyali muganzi wange. Bwenta mba ntadde naye, nina obulumi bwenasigaza ku mutima gwange olw’omuntu omu.

Muli natya nti obulumi bwenakuumira ku mutima gwange, nga bwaali busobola okuvvaayo ate ne bukutomera ate nga tolina musango. Ye nga lwaki nkuteekako obulumi bwotalinamu mukono? Omuwala eyamenyeka omutima yandisobodde atya okuddamu okwagala era neyesiga omuntu yenna? Lumu wangamba nti oli mwetegefu okulinda ebbanga lyonna, naye nga lwaki oninda ku bawala bonna abali mu nsi eno? Nze saali mugandalanda w’abawala abalungi, era muli nina esuubi nti olisisinkana ansinga. Nsiima okufaayo n’obutakoowa byewayolesa ng’oninda. Mu butuufu waninda naye nalina okukikomya nga sagala ogende mu maaso n’okwonoona obudde bwo. Nzijjukira bwewansuubiza nti ojja kulwanirira omukwano gwaffe. Nkimanyi nti wali ojjakukikola, naye nze nali sagala kubanga sirina mbeera yakeyagaliza ekissusse.

Mu butuufu nali sagala ogende mu maaso nakutereza nsobi zenakola. Mbu otungirire ebiwundu byenafuna ate nga si gwe wabintuusako. Nga sagala kukuttika musalaba gwange. Nkimanyi bulungi nti wanjagala, naye nakola ki? nakumenya omutima bwenakugamba nti lekera awo okuninda. Kyanuma okukikugamba, naye nali nteekeddwa munange nga sagala oyonoone biseera byo ku muntu atalizza mukwano.

Nkwebaza essimu zewankubiranga ekiro netunyumya, netuseka, ng’onerabiza byonna ebinuma ku mutima. Nkwewunyako kimu nti essimu ezisinga nagaananga okuzikwata, naye ng’ate lwengikute era tombuuza wadde okundaga obusungu. Mu butuufu wanjagala webale.

Nzijjukira obubaka bwewamperezanga ku watisaapu; obuyimba, obubaka obw’amaloboozi, obufananyi, mu butuufu ogwaana omuntu asobola okwerabira byonna eby’emabega. Omuwala atagwangako mu mukwano ate oluvvanyuma nebamuyiwa. Wandeetera okwerabamu ebiruma wadde nga nali nesibye mu mangazamba g’omukwano ogutalibeera. Nandibadde nakyemalira okukugamba oninde okutuuka lwendibeera omwetegefu. Mbu oninde okutuusa lwendyezuula!

Manyi nti tekimala naye era ngenda kukikugamba: NSONYIWA NNYO. Nsonyiwa nnyo munange omukwano gwo nagutwala ntyo. Nsonyiwa okukuwa esuubi eritaaliyo. Nsonyiwa okukuumira mu mukwano ogutalimu kigendererwa kyonna. Nsonyiwa obutagezaako kyensobola. Nsonyiwa okubeera omutitiizi bwenti. Kyensinga okusabirira nti ofune omuwala alikunaazako obulumi bwowulira ku mutima. Nsaba ofune omuwala alikwagala nga bwogwaanira. Omuwala gwoligamba nti “nkwagala.” nakuddamu nti “nze asinga” so si omuwala gwoligamba nti “nkwagala” nakuddamu nti “nange ntyo.” nga bwenatera ng’okukuddamu. Nsaba ofune essanyu ly’omukwano kubanga oligwaana.

Teweralikira ku lwange nti oba ngenda kumalako ntya ebiseera byange ebisigadde. Omuyimbi omu yayimba nti “tozanyisa obudde.” Njakukola kyonna ekisinga okwesindika mu maaso n’okulaba ebintu nga bwebitekeeddwa okuba. Njagala kukutegeeza nti obadde kitundutundu ku lugendo lw’obulamu bwange, era ng’onyambye okulengera ebirungi ensi byentegekedde. Webale akadde ketumaze nga tuli ba kyapiri.

Ndisigala nkulowoozako, wadde nga manyi nti tosobola kukitegeera wadde okukikiriza.

Nkwagaliza kisinga munange.

Werabirire!

Digiqole ad

Related post

2 Comments

  • Eno story ekaabya nadala nga ekusanze nga waliko mu mbeera nga eyo

    • Nzikiriza nti bangi baali babeddeko mu mbeera eno. Webale Erick dia okusoma ate notekawo comment. Nsiima munange.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *