• November 22, 2024

Sikusuubiramu mukwano gwa lubeerera.

 Sikusuubiramu mukwano gwa lubeerera.

Siri muwala akiririza mu mukwano ogw’olubeerera. Kirabike tontegeedde bulungi! Kyentegeeza, omutima gwange gumementeddwa enfunda eziwera, nga kati kizibu gyendi okukiririza mu mukwano ogutaliiko kkomo. Mu kaseera kamu naliko omuwala omuto alina esuubi nti kisoboka okufuna omukwano ogw’olubeerera, naye amazima gali nti, si kyangu kufuna mukwano nga gwetusoma mu bitabo. Omukwano ogw’edda ogwogerwako mu bitabo kirabike ba jjajjaffe bazaawa nagwo. Ensaangi zino, kizibu okufuna omuntu bwemweyagala ekyenkanyi.

Ki ekinjogeza bino byonna? Bwembeera mu mukwano nawe, sikusuubira kunjagala bbanga lyonna. Eryo esuubi lyanzigwaamu dda nnyo. Kyenkusuubiza nga tuli ffembi, gwe mukwano ogutaliiko bbala ate nga gwa bbugumu. Nkusuubiza ekisinga okuvva gyendi kubanga nkimanyi nti tetugenda kubeerawo bbanga lyonna. Nkitwala nti omukwano gwaffe gujja kubeera gwa bbugumu nga gwookya, okutuuka olunaku olwo lwegunafuuka evvu. Naye nga gukyayookya, njakukola ekisinga okulaba nti nguwa omuliro ogugusobozesa okusigala nga gubuguma.

Njakukuzaamu amaanyi mu biseera eby’enaku gyooli. Njakukwata omukono gwo ngunyweeze mu biseera ng’owulira nti ensi ekufundiridde. Njakubeera kiddukiro mwowulirira emirembe. Njakubeera ekyo kyosinga okuyayaanira mu nsi y’omukwano. Njakukuwa emirembe gyonna gyewetaaga nga nkola ebyo ebitebeenkeza emeeme yo. Sikusuubiramu bugagga, kasita ontwala ng’ekitundutundu ekimu ku mubiri gwo. Nkusuubira okunjagala mu mazima n’obwesiimbu ng’ompa ekitiibwa nga mukwano gwo asiinga mu nsi eno. Njagala ombeererewo, onkwate onyweeze mu biseera ng’ebirooto ebyentiisa bibutikidde obulamu bwange. Nkusuubiza nti ssi gwe ateekeddwa okuntaasa mu kufa, oba nti tunyuke obulamu bw’ensi nga tuli babiri. Obulamu bw’ensi bweba nnyanja, sagala tubbire ffembi okutuusa nga tussiza ogusemba. Njagala tuseeyeyeze ku lyato ly’obulamu nga tuli mu mukwano omungi. Njagala buli omu abeererewo munne, nga twezaamu amaanyi, ng’awagaanye tusinziira ffembi era netuvvunukawo.

Bambi tonnimba mukwano gwa lubeerera. Nyonoonye obudde bungi ku bantu abansuubiza okubaawo lubeerera, kumbe nga baali ba kaseera buseera. Ekituufu kiri nti, kya busiru omwana w’omuntu okukusuubiza “lubeerera.” Omuntu tavvunaanibwa ku biki obulamu byebuleeta. Kati nkusuubiza okukwagala ennyo singa ekyalubeerera tukyerabira.

Nkimanyi bulungi nti lunaku lumu olikwata ekkubo n’ogenda nga sikyamanyi na bikufaako. Kyenjagala kwekuba nga twejjukira n’omukwano omungi ku nkomerero y’olugero lwaffe.

Tulina enaku ntono nnyo ng’ababiri mu mukwano. Kati leka tweyagale nga bwekisoboka mu busobozi bwaffe. Twagalane nnyo mu kaseera ketulina ng’ababiri. Omukwano gwaffe omulungi mu kadde akalungi kano ketulinawo, gutemagane mu mitima gyaffe. Omanyi lwaki nkusaba bino byonna? Ye lubeerera gwendaba wakati waffe!

Digiqole ad

Related post

2 Comments

  • Bituufu Nnyo…….
    Anti byangu okwogera naye okutuukiriza awo weewali obuzibu
    Ab’e nnaku zino akwagala ate ggwe obeera tomwagala ate nga gwoyagala agamba akwagala……tebiri balanced

    • Naye olaba Makula mukwano ffe abekalubiriza ensonga z’omukwano. Bwoba okitegedde nti gundi akwagala kufa na kuwona, lwaki tositula omutima n’ogumukwasa, novva mu kulonkera atakwagala.
      Nawulirako omuntu omu ng’agamba nti okubeera n’omuntu gwotayagala nga wadde ye akwagala, bulumi bwerere. Mbu ate okubeera negwoyagala nga takwagala kiringa kubeera mu geyeena. Ekitegeeza nti byonna ssi byangu!

      Ebigambo ebyo nga bwembiromboze bisoboka. Ekisinga okuvvako akabasa, kwekufuna omuntu ng’olowooza nti ateekeddwa okubeerawo ebbanga lyonna! Nga bwetukimanyi nze nawe nti ssi kyangu kufuna muntu akwagala bbanga lyonna, katusanyukire kyetufuna kati mu kaseera kano kennyini. Eby’enkya bya nkya. Oba maziga gabeere… hahaha

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *