Towuliriza byakugamba _ goberera byakola.
“Ebikolwa bisinga ebigambo” eno esobola okuba enjogera naye ate ntuufu nnyo. Omusajja asobola okukubulira nga bwakwagala ennyo, naye ate ng’ebikolwa bye bitegeeza kirala. Waliwo abasajja abamu nga bwekituuka mukwetonda, afukamira ne wansi naye ate era naddamu nakola ensobi yemu. Ojja ku musanga ng’alina ebigambo ebiwomerera ng’omubisi gw’enjuki naye ate nga talina kyategeeza ku byonna byayogedde.
Genderera bino wammanga.
1. Ebigambo obugambo tebirina makulu.
Ajjakusobya akwetondere nga bwatakitegeezeza kulumya era mbu otegeeza kya muwendo mu bulamu bwe, naye bwanaaba tagoberedde kwetonda kwe, ajjakuddamu ensobi eyo yenyinni. Tobeera musiru kumala gawuliriza byakugamba.
2. Kyangu okusubiza naye tajjukira byakusubiza.
Omusajja akwagala abeera ajjukira buli kyayogedde nawe. Ka kibe kubako kyakusubiza teyerabira kubanga oli kitundutundu ku bulamu bwe. Okugeza bwasubiza okutwalako awakyakalirwa, abeera yesunga olunaku olwo. Omusajja nga takwagala, buli kadde abeera ne by’okwewolereza nga bweyerabidde.
3. Byakola bitegeeza ekyo kyawulira gyoli.
Bwaba atuuka kikeerezi buli lwemutegeeka okugendako okukyakala, oba nga yerabira okuddamu obubaka bwo ku ssimu, kitegeeza kinenne okusinga byakugamba mbu akwagala nnyo. Omuntu akwagala yoyo afaayo gyooli era nga tasobola kumala gabuusa maaso bubaka bwo.
4. Yandibeera n’obugambo obunyuma mu matu.
Yandikuwandikira obubaka obuli ng’omubisi gw’enjuki, naye ekyo tekitegeeza ku mukubira ngalo buli ssaawa. Enakku zino omutimbagano gujjudeko obubaka obulungi okuvva mubawandiisi abalungi. Genderera, yandikoopa obwo nakutengula omutima ng’ebirowozo bye n’omutima biri walala.
5. Ebigambo ebisusuuta byangu okukozesa nga tebirina makulu.
Omusajja ow’okumalira obudde abeera n’ebigambo ebirungi byasobola okukozesa nakukuumira wakwagala. Agenda kukakasa nti ebigambo bye bikuwumbirira mu ngalo ze obutazivvamu. Bwotabeera mugezi nomusimatuka, ogenda kugwa mu mutego gwe ate akakase nti omutima aguleka mu bitundutundu.
6. Kyangu okulagaajala notafaayo ku bikolwa bye ng’ebigambo byakugamba kye kikulu.
Tobeera musiru atasobola kusengejja bigambo bye. Bwofaayo ennyo ku bi ki byakola, ojja kumanya muntu kika ki gw’oli naye. Omukatooliki alina wagambira nti “akabonero akokungulu, kategeeza akabonero akomunda.” Byayogera bitwale naye bigate kubyakola ofune ekituufu kyawulira gyooli.
7. Kirungi okubeera ekyo kyoli. Era si kibi wadde.
Omusajja omutuufu alina okwagala okwaddala tatera kwogera byoyagala kuwulira buli kadde. Abeera w’amazima nga mwesimbu mu buli kyagogera. Tapalapalannya olwokuba ayagala okusanyusa, abeera ayagala kisinga wakati wamwe.
4 Comments
I love thisπππ
Hehe. Webale Jay
Kino nkyagadde. Webale!
Webale kukyagala ka braza.