• July 4, 2025

Olumwa kyotalabyeko?

 Olumwa kyotalabyeko?

Naye admin, lwaki abakyala balina nnyo akajanja? Wano ku mulirwano omukazi yatabuse ne bba, nga amuteebereza okuba n’omukyala omulala ebbali. Kazaala bulwa ye Joyce abadde aludde ng’amupokera ebigambo nga bba bwassussiza okubaliga.

Eggulo ndowooza byeyamugambye byamutabangudde nnyo, anti byamutanudde nagenda abuukira bba eyabadde yakadda okuva ku mulimu, teyamuganyiza nakuyingira nyumba awo ku mulyango wennyini nga nenanyini lugambo tanasegula kigere. Baalwanye omukyala alangira bba obwenzi, omusajja bweyagezezako okumubuuza gyabijja, ko ye kwekumutegeza nga Joyce eyabadde ayimiridde awo nti y’ensibuko yabyo. Omukazi yakaabye nga bwamubuuza nti “naye mazima ddala nsonga ki ekwagaza nalongo atunda muwogo?”

Joyce yalabye biri bityo nagamba ntayi awanyu wewawo, yayagadde amalemu omusubi naye omusajja namulabukirira mangu namubaka, namuyisamu empi awo nga bbiri ssatu, nga bwamubuuza ekimuzunziza mu maka gaabwe n’ekigendererwa kyokubatabula!? Joyce yabadde akyayongerwa empi, landiloodi yeyaze nataasa. Ekyo nno omusajja kyeyakoze, nze nakisanyukidde. Singa nno landiloodi teyaze,nebankubira ka Joyce okukamalamu olugambo olwo.

Omwami yasibidde wa nabakyala natwalayo ensonga ye bakome ku Joyce okutabula amaka ge. Naye wama admin labayo, kigasa ki okulwanira omusajja ku nsonga gyotanaba kukakasa, ate n’omukazi alwanira omusajja nze musaasira, kubanga abasajja bonna kyenkana mpisa yabwe okwenda, mukama akukwatirako owuwo nayenda nga takulaze. Ye ku mulembe guno bakyalwanira abasajja? Nze kyesirabyeko tekinnuma.

Eyo y’emboozi y’omusomi waffe ng’agamba nti ye kyatalabyeko tekimuluma.

Ekibuuzo:

Nawe kyotalabyeko tekiruma, oba gwe ogendera ku lugero “atabubira nsiko ye taliira?”

Kozesa akabangirizi (comment section) otuwe kyolowooza.

Digiqole ad

Makanga Abubakar

https://gpraxy.com

Related post

1 Comment

  • Obuzibu buli bumu nti abakazi tuli banjawulo nga n’abasajja bwebatafaanagana mu nneyisaa,
    Nze nzikiriza nti eby’omukwano biba bya babiri 🤗 era olugambo nebigambo ebikwatagana n’amaka gamwe byonna bibeera bya kutabula…… jjukira omutabizi ajja nga muyambi…bwomuwa obudde bwo owulirize byagamba owunzuka ofiiriddwa eddya…..amaka gafugibwa bantu babiri kubanga era mwekwaana bwa babiri😇😇

Leave a Reply to Makula Mariam Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *