Engeri enyangu ey’okwegobako omuwala akulemeddeko.

Fenna tukimanyi nti okwawukana n’omuntu bwemubadde mwagalana sikyangu. Naddala singa wabeera tewali nsonga y’amaanyi. Kituufu nti osobola okukoowa omuntu olw’okuba ofunye omulala, naye amazima si kyabuntu gwe kuvva eri nomuvvumavvuma kubanga oyagala akuvvire oba akaabe nga bwasiiba ebibye.
Kati obeera olina kukikola otya? Oyinza otya okukyanguya ate nga tomuleetedde bulumi busukiridde? Muleke yegobe akuvvire.
Tomugoba, gwe wejjeko obuvvunanyizibwa wakiri wefuule nti gwe asinze okukosebwa mu byonna, nti tobadde mweteefuteefu kwawukana naye.
Ogenda kukikola otya? Wandirowooza okukola eky’obusiru ekisingayo gamba ng’okwenda asobole okukwata, oba okumenya omutima gwe mu ngeri yonna esoboka. Naye watya ng’asazewo okusonyiwa?
Tomenyeka n’ebyo byonna oluusi nga bisobola obutakola.
Abawala bazibu. Omukwano si mwangu kutebereza. Okumumenya omutima n’oguleka bulele tekimugaana kusigala ng’akwagala. Lwaki omenya omutima gwe ate asigale ng’akwagazisa bubajjobajjo? Sirowooza nti wandyagadde okusigala naye ng’ali munaku etagambika kubanga wali ogezako okumwejjako. Oyo si nnyoko nti alina okubererawo mu mbeera zonna.
Musindikirize ng’okola ebitakusuubirwamu. Yogera ng’olya eno emere bweyika okuvva mu kamwa, yingira obuliri nga tonaabye, sula mu mikwano gyo nga tomutegezeza, ebyo byonna n’ebirala bisobola okumuleetera okugamba nti “ono nedda simusobole.”
Oyagala kumwejjako mu bwangu ddala nga bwekisoboka? Gezako bino wamanga.
- Beera mukoddo. Omusajja atagaba atama. Omuwala omukooye ate okyamuwa ssente! Olowoza agenda kuvvaako atya? Ssente n’omukazi balinga balongo. Omuwala bwotandika okumuma ssente wadde ng’akimanyi nti ozirina, oyo mubale nti agenze. Mutwale mu kibuga, gula buli kyewetaaga nga gwe omuntu, gulira baganda bo abali mu kyaalo, lekawo sente ezimu. Tobako ky’omugulira wadde nga akusabye ekintu eky’enusu 500/=. Munagenda okutuuka ewaka, yamaze dda okulowooza ku ki ekiddako.
- Mu buli ky’okola, towuliriza kyakugamba. Buli lw’omulaba ng’alina ekintu eky’omugaso kyateesa, gwe tomuwa budde. Mulage nti byayogera tebikukwatako era tebirimu magezi. Bwagezako okuleeta emboozi gyasuubira nti ejja kusanyusa, wefuule nnyo bize ku ssimu yo. Oli na wa ddembe okusituka n’otambula nga tanamaliriza byayogera. Bwomulaba ng’anyiize oba n’akaaba, muwambatire omusirise ng’eno bwolaba omupiira ku ssimu yo. Nkukakasa nti ajja kutandika okufuna ekirowoozo ekyokubiri.
- Kola ebinyiiza byokka. Abakazi balina ebintu byebatayagala kulaba bbaawe oba omulenzi we ng’abikola naddala mu bantu. Mulinde ng’aleese mikwano gye oba baganda be ewaka, fuuwa omukka oguwunya ebiruma abateesi, kuba empiyi awatali aluleeta, oba nyiza eminyira ate osimuze esaati, mwana wa Taata ojja kubeera ku mulamwa ng’otukiriza ebirooto byo.
- Bwoba obeera naye ewaka, mukozese ng’omuddu atasasiirwa. Beera muntu muzibu nnyo ow’amateeka agatamenyebwa. Wefuule watabbu ng’omutuma buli kimu ne kyatasobola. Okugeza; omusanze afumbye amatooke amanyige, musabe ag’eminwe. Olugoye lwewabaddemu ekiro, lumusabe ku makya nti lwoyagala okukoleramu. Zukuka ssaawa mwenda ogw’ekiro omusabe akufumbireyo obumere obulye nti owulira ofa enjala. Ewaka tomukiriza kulaba buzannyo ku telefayina, muterewo eteeka nti alina kulaba UBC yokka. Bwalivva ewuwo nti kagendeko e waabwe, ayinza obutadda ng’awonye omusajja omuzibu.
- Bwoba onywa omwenge nga ye tagunywa, wekole obusolosolo bwonna. Fuba okulaba nga buli lwodda ewaka obeera otamidde ekigenze ewala. Wekoze ebya bazonto byonna, tokiriza kunaaba kuabanga enyumba yiyo, fuluuta nnyo mu buliri ate nga bwomusuubiza okumufulumya ebweru… Mu bwangu ddala ajja kuvviira otakirize ekibumba kyo obutalwala lwa mwenge.
- Mulinde nga muli kwegaddanga, omuyite erinnya lyeyali muganzi wo. Abakazi batera okugumira byonna, naye abasinga obungi tebagala kukitegeera nti omusajja gwayagala alina omukazi eyamusigala ku mwoyo. Era bwonakola kino okumala enfunda eziwera, ajja kutuuza bulungi nti munange “weraba bigaanye. Sigaza Milly gw’osula olowooza.” Oli wa ddembe okumuwooyawooya naye nga bwomunyonyola nga bwotalikyaawa muwala oyo.
- Muvveko mangu nga muli mu kikolwa (mwegaddanga) kaaba amaziga ng’olina enaku ku mutima. Ekintu kyanasooka okukola ng’akulabye, ajja kukwata akunyweze nga bwakubuuza ekituusewo. Kino kikole emirundi egiwera, ajja kulowooza nti oliko empewo zewamwe nga tabisobole kuzaala baana mu musajja nga gwe.
- Mulage nti gwe oyagala kuwasa abakazi abasukka mu babiri. Omuwala akugamba nti “wakiri nimba okusinga okungamba amazima agamenya omutima gwange.” Kati singa obeera n’omuwala naye n’omulaga nti gwe okyanoonya wadde nga naye tonamuwasa, ajja kugwamu amaanyi alowooze nti takumala bumazi.
- Beera wa bbuba gyaali. Omukazi yenna anyumirwa okumwagala ennyo ng’omuwubira ekisaanye. Naye singa okisusa n’otuuka okumukuumira mu nyumba obutafuluma, sisuubira nti kisagala kikyaali kya kwenyumirizaamu gyaali. Mugobeko buli muntu, mujjeko essimu ye omenye layinizi ze, ate oluvvanyuma omukakase nga bw’omwagala ennyo nga toyagala kumulaba na muntu yenna. Bwaali asigala ewuwo ng’omuggulidde, oyo omanyanga nti oli wakumwekulirako Mulago.
- Kale, ekisembayo. Mutuuze wansi, mubulire mu ngeri ey’obwetoowaze ate ng’omusaamu ekitibwa, nti muwala musufu atalina tabbu nti naye si gwe alina okuba omusajja we ebbanga lyonna. Muwe akadde konna keyetaaga okusobola okutegeera ky’omugamba. Muwambatire singa aba akaaba. Ddamu ebibuuzo bye mu bwesimbu. Musuubize nti ojja kubeerawo ng’alina ekigaanye, tukiriza kyeweyamye ate togezako kuganza ku mikwano gye wadde ow’oluganda lwe. Beera musajja mwesimbu ku lw’omukwano gwemubaddemu. Eno y’engeri yokka etasobola kugwa butaka.

2 Comments
Webale 🙏🙏🙏🙏. Oli mukuggu mukuwandiika oluganda.
Tulaba anawandiisi banji abalunji naye gwe oli wanjawulo kubanga owandiika lulimi Luganda. Webale nyo
Namba emu kankolera. Lol