• July 4, 2025

Okukyaayibwa n’okugaanibwa, ki ekisinga okuluma?

 Okukyaayibwa n’okugaanibwa, ki ekisinga okuluma?

Okukyaayibwa.

Okukyaayibwa, kwekubeera mu mukwano n’omuntu ate oluvvanyuma omuntu oyo nakukyawa. Ayinza okukuwa ensonga lwaki akukyaaye oba obutakuwa nasirika busirisi, oba nakubulako bubuzi nga nebw’okuba amasimu ge tagaddamu.

Kiruma nnyo okukyaayibwa omuntu gw’oyagala, naye waliwo emikisa mingi nti oluvvanyuma osobola okwerabira omuntu oyo, ate obulamu nebugenda mu maaso n’abantu abalala.

Okugaanibwa.

Okugaanibwa, kwekugwa mu mukwano n’omuntu nogeezako okumutegeeza oba okumutuukirira, naye nakugaana nti takwagala. Omuntu akugaanye asobola okukuwa ensonga lwaki akugaanye oba obutakuwa nga tayagala mumalira budde.

Kiruma nnyo okugaanibwa omuntu gwomatira okufa obufi, era kiyinza obutakuvva ku mwoyo anti nga webuuza nti yali nsonga ki eyamuvviirako obutakulabawo.

Mpulira mbu ku ludda lw’abakazi kibaluma nnyo, anti kitwala amaanyi mangi n’obuvvumu okwatulira omusajja nti “mwami gundi nkuyagala!” Mbu bbo abasajja kyangu nnyo, kubanga kiri mu butonde omusajja okuyimiriza omukyala nabaako byamugamba… Bwamusiima nga bagenda mu maaso, bwamugaana ng’omusajja yeyongerayo ng’anoonya omulala.

Wano wenjagalidde mpulire endowooza yo gwe mukwano gwaffe atugoberera, nti ku byombi ki ekisinga okuluma.

Ekibuuzo.

Okukyaayibwa n’okugaanibwa, ki ekisinga okukutula omutima?

Endowooza yo ngirindiridde n’essanyu lingi mu kabangirizi akali wansi (comment setion)

Webale nnyo mukwano!

Digiqole ad

Related post

3 Comments

  • Kuganibwa kiruma. Kubanga gwe obera omaze oksalawo nti omuntu yakukolera olunaku.

  • Nze ngamba nti okukyaayibwa omuntu gwobadde naye mumukwano awatali nsonga kyekisinga okuluma kubanga omuntu Oyo oba omwewadde nnyo era nga omumanyiiko binji ebitagenda kusanguka mumutima gwo
    Nga nebwogezaako omwelabire era oba oli awo nga omujjukidde….ate nga yye aba takyaliwo nga nebwogezaako okwegumyaa, owulira nga waliwo ekikubulakooo…,…bino nno bibeerawo nga omuntu wali omwagala ebyaddala 😔😔😔

  • Naye ate okugaanibwa omuntu gwewegwanyiza Kilala nnyo
    Kubanga ebiseera ebisingà kiba kikuyambako okufuna omuntu omutuufu agwaanira omutima gwo
    Naddala eri ffe abakazi, omusajja bwomutuukilira n’omutegeeza nti omwagala, oluusi akujooga nnyo era nakuwa na kitiibwa…..
    Nolwensonga eyo kino tekiluma nnyo nga kukyayibwa. Kuba n’omuntu Oyo oba tolina bijjukizo gyaali,

    Kale nno mubyonna, obulamu bwo busigala Bugenda mumaaso

Leave a Reply to Makula Mariam Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *