• July 3, 2025

Olumu obulamu tebutambula nga bwetwagala.

 Olumu obulamu tebutambula nga bwetwagala.

Abasinga tukula twegomba okubeera abagagga, nga tulina buli kimu kyetwandiyise ekirungi. Naye oluusi obulamu bugaana okutambula nga bwetubeera twagala. Ku myaka emito ebirooto bibeera bisavva era nga tetuloota bintu bya nnaku. Teri mwana asabirira kukola mirimu gya wansi mu bukulu bwe, naye bikyuuka bukyuusi nga tukula netutandika okusala ku byetwali tweyagaliza. Eyali ayagala okubeera dokita, newesaanga ng’oli mumativu mu kukola guno na guli ku kyaalo.

Bantu batono nnyo ababeera ekyo kyebaali baloota okuvva mu buto. Naye ekyo ssi ky’ekikulu mu bulamu. Nyamba oteeke omukono gwo mu kifuba okuwulira entunnunsi. Olina ky’owulira? Obwo bwe bulamu.

Omutima gwo gukyakola butassa okusobola okukuuma ng’oli mulamu, kati totandika kwesalira musango nga webalira mu balemereddwa. Wandiba wooli ssi woyagala, naye ekirungi oli mulamu. Bangi abafuna ebyo byebaali bagala, nga naye kati z’embuyaga ezikuunta.

Waliwo akaseera ka buli kimu mu bulamu buno. Waliwo akaseera k’okukaaba, okukungubaga, okunyiiga, okwenyamira…. Naye waliwo n’akaseera k’okuseka, okunywegera, okuzina, n’okunyumirwa buli ekyo ekireeta essanyu gyetuli. Kati bwoba okyaali eyo nga wekuumidde mu kwenyamira nti era nze maama….. y’essaawa otaggulule endowooza zo.

Ebintu 14 byoteekeddwa okukuumira mu bwongo nga toneraba ng’eyalemwa.

  • 1- Oli wa bbeeyi nnyo n’okusinga kyooli ku mubiri.

Olina obwongo (kutegeera), omwoyo, mpozzi n’omutima. Kyonna kyooli ku ngulu, ekyo kisawo busawo ekitanyonyola kyooli munda. Omuntu akwagala ebyaddala, asinziira kwekyo kyooli munda so ssi kyolabika ku ngulu. Wandiba oli mulungi ku ngulu, era nga buli akulabako ayagala akusemberere…. Naye bameka abasigala wooli oluvvanyuma lw’okutegeera ekyo kyooli munda?

Faayo okulongoosa ekyo kyooli munda, kubanga kyekitegeeza kyooli mu byaddala. Obulungi obukuli ku ngulu, leka bubeere ne munda mu ggwe. Ku ngulu wandirabika ng’atalina kyolina, naye kasita munda mu ggwe oli wa bbeeyi okusinga ekyo abantu kyebakulabako ku ngulu.

  • 2- Okyasobola okukola kyonna kyoyagala.

Singa okola entegeka ennungi era noteeka amaanyi mu ebyo byoyagala, awatali kubuusabuusa ojja kutuuka ku buwanguzi. Kiyiinza obutabeera kyangu era nga kyanditwala akadde n’okutoba ebitagambika, naye kijja kukuwa essanyu okimanya nti okukola obutawera kikuyambye okutuuka ku birungi byewalootanga.

  • 3- Gwe wekka asobola okweewa essanyu erituukiridde,

Komya okulowooza nti omuntu agenda kuvva eri ajje akusanyuse. Era komya okulinda obuggagga obungi nti olyoke osanyuke. Ne mu nsi y’ebyobugaga essanyu libulamu. Gwe wekka asobola okupiima essanyu lyo, era nga gwe ekka asobola okulitonda okuvva mu buntu obutono ennyo.

  • 4- Ebizibu bibeerako n’eddagala eribigonjoola.

Waliwo ebizibu ebitutomera netuwulira ng’abatasobola ku bivvunuka. Njagala okubemu akafaananyi ku bizibu byewasisinkanako mu kaseera akamu mu bulamu bwo obw’emabega, obulamu tebwali bawangu.

Ne ku mulundi guno njagala okikole mukwano gwange. Kakana. Ssa ekikkowe. Lowooza. Fumitiriza. kola entegeka. Noonya eddagala etuufu ku kizibu ekyo kyenyini. Nzikiririzaamu ku kino nti nera osobola okukikola.

  • 5- Ddala ebizibu byo binenne nnyo ekitiisa, oba kati nawe obiteekamu katemba?

Bikomye nawe. Tomala maanyi go nga weralikirira ebitalina makulu. Kituufu okwerakirira kya buntu, naye bwekigenda e wala kifuuka kya bulabe.

  • 6- Siima abo abakubeererawo.

Obulamu bubeera bwangu ng’olina omuntu oba abantu abakufaako. Tekinetaagisa kukugamba nti oteekeddwa okusiima abo abakubeererawo mu kadde ng’ensi yo eyimiridde.

  • 7- Toliiwo kusanyusa balala.

Sosomediya ejjuddeko balimba. Era ng’olunaku lwolikeera n’okitegeera, lwe lunaku lwolikomya okweyisa mu ngeri gyosuubira nti etuukana n’abalala. Tokola bintu ng’oyagala kwefuula simanyanga wa kabi, nedda. Kola ebyo ebikuwa essanyu ku mutima. Muntu wange tokola kyotayagala.

  • 8- Byonna byokola bikole ku lulwo.

Bwoba okyagala, kikole. Bwekiba kikusanyusa, kikole. Bwekiba kikuleetera okuwulira obulungi, kikole. Bwekiba kikuzaamu amaanyi, kikole. Kola kyonna kyoyagala okukola….. Oli mukwano gwange y’ensonga lwaki nkuwagira okole byonna ebiziimba essanyu mu mutima gwo.

  • 9- Nawolovvu tafiira ku bbala limu.

Obulamu bujjudde ebyewunyisa. Leero ssanyu, enkya nnaku. Leero nnaku, enkya ssanyu.

Wandibeera mu bizibu ebitagambika, naye jjukira nti enkuba nebwetonnya etya gumala ne gwaaka. Waade ng’oyita mu kadde akazibu leero, olw’enkya ojja kuseka singa oba ojjukidde namba nnya (4) wagulu.

  • 10-Okulemererwa tekitegeeza nti y’enkomerero yo.

Wandiremererwa mu kyoyagala okumala emirundi nga 100, era nga muli owulira oyagala kuwanika. Tewali buzibu mukwano. Naye bwoba toyagala kuwanika era nga muli okimanyi nti oteekeddwa okusigala ng’ogezaako. Nkuwagira obutawanika, era nga tekinaggwa okutuusa nga gwogambye nti kiwedde.

  • 11- Okimanyi nti olina abantu abakwagala, kati ggwe lwaki teweyagala ng’omuntu?

Tutera okubeera n’enkola y’okweraba ng’abatalina muwendo mu bulamu oluvvanyuma lw’okulemererwa mu mbeera emu oba endala. Tukola ebyo ebiraga nti tetukyeyagala era nga tetusiima ekyo kyetuli. Ekibuuzo kiri nti, bwekiba ddala ng’olina abo abakulabamu omuwendo era nga bakwagala, lwaki ggwe teweyagala n’okwerabamu omuwendo?

  • 12- Obulamu ssi buzibu nga bwetutera okukitwala.

Singa tugezaako okulaba ebintu mu butuufu bwabyo, tekisoboka kuba nti gwe obulamu obubwo bujjudde bibi byerere. Tula wansi okakkane, obale ebirungi ebikulukutira mu bulamu bwo…. Kino kijja kukuleetera okumanya nti obulamu bubeeramu ebibi n’ebirungi.

  • 13- Toli wekka alina ebizibu.

Ku nsi kuno ffenna tuli mu lugendo. Kituufu, abamu obulamu bubanguyira, ate nebukaluba okukira ejjinja ku balala. Omuntu omu omugezi yagamba nti omusana gwakira abalungi n’ababi. Bwegutyo bweguli nti ebizibu bituuka ku buli muntu. Kyoba osinga okumanya, kwekubeera nti buli muntu alina kyayitamu ng’akiraba ng’ekigaanye ku luuyi lwe. Toli wekka abonabona, ffenna tuyita mu mbeera ez’okutoba mu ngeri emu oba endala. Kwatiriramu…. bwetonnya ewuwo, ne mubalala etonnya.

  • 14- Ensobi zikolebwa bantu.

Mukama yebazibwe nti toli kibajje oba ekikulekule okuvva mu bwengula. Oli muntu, omuntu asobya, naye tekitegeeza nti tosobola kutereza nsobi zo notandika bugya! Okusobya ky abuntu naddala singa osobola okutegeera ensobi zo nga bukyaali. Situka ekubeko enfuufu, tandika bugya mukwano gwange.

Digiqole ad

Related post

5 Comments

  • Nze ndowooza Biteekeddwa kuba na 15, kuba ne Katonda Ali omu ku nsonga ezo

  • Oli mutuufu nnyo mkn gwange
    Obulamu bwensi Eno businga Ku ekyo kyetulowooza
    Oluusi tufuna okutya naddala nga tuli mu kaseera akazibu netutandika “banandaba batya”,
    Ebizibu biri buli wamu…….n’abasirise babeera tebali bulungi lwakuba kwegumyaa

  • Nze nzikirize nti buli ekibaawo kibeera nensonga…..ate Mpaawo kitakya,
    nolwekyo tubeera tulina okuguma kubanga yye katonda abeera ne plan oluusi nga esinga ne ku ekyo Kye tulowooza
    Wabula nga bwewagambye nti tuyige okusiima abo abatubeelerawo mu mbeera embi oba mu nnaku zaffe embi….. kubanga ssi bangi abasigalawo nga tufunye ebizibu 😒😒…Anti munno mu kabi ye munno ddala!!

    • Era munange ssi buli omu nti asobola okukubeererawo. Y’ensonga lwaki kyandibadde kya buvunaanyizibwa okusiima abo betulaba nti babaddewo nnyo ku lwaffe. Abantu abamu bakiraba nga eky’okusaaga naye ate mwatu kya muwendo nnyo singa obeera okikoze okuva ku ntobo y’omutima.

      Kati nange kantwale omukisa guno okukwebaza olw’ebiddibwamu byonna ku mboozi zenzize mpandiika…. Makula mukwano nkubalirako ku birowoozo byange… Naye njakukusiima mu ngeri esingako wano!

  • Itís difficult to find educated people for this topic, however, you seem like you know what youíre talking about! Thanks

Leave a Reply to Makula Mariam Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *