• February 7, 2026

Omusajja omulungi tayagalika!

 Omusajja omulungi tayagalika!

Bwenjogera ku musajja omulungi, mbeera sitegeeza musajja eyakula obulungi, alina amaaso amalungi oba ng’alina olususu olulungi! Omusajja omulungi takola bintu birungi eri abalala okusobola okuyitibwa omulungi, akola byakola okusinziira kuntegeera ye ey’obuntu ate nga nnungamu.

Omusajja omulungi afuba okulaba ng’ebikolwa bye bitambulira wamu n’ebyo byayita ebituufu okusinziira bwalaba. Takola bintu byangu, oba ebimuyisa mu mbeera nga takalubiriddwa, oba ebyo byasinga okwagala okukola ng’omuntu; akola ebyo byamanyi nti bituufu okukolebwa ku lw’abalala.

Omusajja omulungi talikulimba olw’okuba tayagala kukulumya, oba okukufuula ow’enjawulo ekitali kituufu. Amazima gali nti ajja kukola ebikunyiiza, naye togenda kumunyigira kubanga ojja kukiraba gwe mwenyini nti abadde mutuufu okubikola.

Omusajja omulungi y’oyo agenda okukwata essimu y’omuwala gweyali ayagala wakati nga muli mu kikolwa ky’omukwano. Kino akikola kubanga abeera akimanyi bulungi nti omuwala gweyali ayagala alina obuzibu bw’okwenyamira, era nga teyandimukubidde ssimu singa abeera tali mu buzibu. Olw’okuba musajja mulungi, ajja kudduka mangu amuyambe kubanga buvvunaanyizibwa bwe, wadde ng’abeera akimanyi nti gwe gwalina mu kadde ako ogenda kunyiiga.

Omusajja omulungi agenda kukulembeza mikwano gye, n’enganda ze nga tanaba kwerowoozaako. Asobola okukeera nakitegeera nti abantu bafaako ennyo bo tebamufaako, naye ekyo tekigenda kumugaana kusigala ng’abafaako , kubanga ye musajja mulungi.

Omukazi ow’omukisa asobola okutegeera omusajja omulungi era nabeera naye mu mukwano, talirumwa wadde okunyiiga, mazima ddala nga nsonga nabaki eyandimuleetedde okunyigira omusajja omulungi bwatyo? Omukazi yenna ng’akimanyi bulungi nti tuli mu nsi ejjudde obulimba, okufuna omusajja omulungi nga mwesiimbu kibeera kya mukisa munene nnyo.

Okubeera n’omusajja omulungi oluusi kiyiinza obutabeera kyangu, naye ate mu ksieera ekiwaanvu ky’ekirabo ekisinga obulungi mu nsi y’omukwano. Omusajja omulungi bwaba asobola okulumirirwa abalala, kati tebereza ku gwe gwayita “muntu wange!” Omusajja omulungi abeera wa njawulo mu buli kimu, ng’oluusi y’ensonga lwaki osigala omunoonya wakati mu kibiina ky’abantu abangi.

Omusajja omulungi akukyuusa: ojja kubeera mu ssanyu nga munyumya ebintu eby’amakulu, era mu mutwe gwo ojja kukitegeera nti byonna abikola lwa mukwano omulungi gwalina eri gwe n’okwagala okumanya endowooza yo ku bintu ebitali bimu. Ng’ojjeeko ebintu ebimu byakola notanyumirwa wakati ng’atuukiriza ekyo ekimufuula omulungi, omusajja omulungi talikeera nakweralikiriza nti bayiinza okumukubbako …. Kubanga gwe naye mubeera mu bire byeyawanika ebuziba!

Nga n’olwokuba kizibu okunyigira omusajja omulungi okumala akabanga akanene, n’okumukyaawa nti omwerabire kikubeerera kizibu. Ogenda kutuula ku meeza yo owandiike ebyo byoyita ebibi ku ye, ngeri yakwebuzabuza nga toyagala kumusindikira “wasuze otya ssebo?” Kubanga toyagala musajja oyo omulungi kuwulira bubi olw’embeera gyeyakuteekamu eyakuleetera obutamwerabira__ nga kati emyezi gitambudde!

Ekyo kyeyali tayagala owulire kubanga musajja mulungi, nawe ekyo kyewali tosobola kwewala kuwulira kubanga musajja mulung …

Ekituufu kiri nti okufuna omusajja omulungi kikaluba, okumukuuma nekissukka okukaluba, okufiirwa omu oyo gw’ofunye tekisoboka __ kizibu okukimanyiira, kizibu okukikiriza, ate nga kizibu ddala okumujja mu birowoozo.

Digiqole ad

Related post

2 Comments

  • Omusajja Oyo bwatyo bwoba nga omufunye tomutanga kubanga kibeera kirabo kyamaanyi okuva ERI katonda
    Ensangi zino abantu abasinga befaako bokka na bokka …..era bwosanganga omuntu eyelekereza ebimuwa essannyu n’afa Nekubalala awo Oyo abeera wanjawulo era kibeera kirabo okuva ERI katonda kubanga ate bwekituuka kuggwe nga olina kyomwetaaza….nebwobeera tomugambye yye aba ajja kukitegeera era asitukiremu amangu ddala….so tebasangika munange

    • Kituufu nga bwogambye nti tebasaangika… Era besiimye abo ababalina era nebategeera kyebalina nti kyamuwendo.

Leave a Reply to Makula Mariam Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *