Omuwala ow’omulembe tebamulya bwongo.

Abawala ab’omukwano nga basanyufu okubeerako awamu.
Wali omulabyeko. Ebyaddala yali mukwano gwo nfa nfe.
Mugenda mwembi okukyakala. Ku beach mubeerayo babiri. Essimu zamwe zijjula ebifaananyi ku misinde gya mazaalibwa ga Kabaka. obugoye obw’omulembe mubulonda babiri. Ne luli ng’omulenzi amukyaaye wamubererawo. Bwewali otebereza okubeera ne Covid-19, yeyakuleteranga eby’okweyoteza.
Ensi ye yakyuka bweyafuna omulenzi gwayagala.
Ayinza okuba nga yamukulaga omulundi gumu wakiri, naye awo webyakoma. Takyagenda nawe ku beach. Ebifaananyi byemwekubisanga buli mwaka ku misinde gya mazaalibwa ga Kabaka, myaka ebiri kati nga temukyabyekubya. Obugoye obulungi abulonda na mulenzi we. Ebintu byonna byemwakolanga ababiri, byafuuka lufumo. N’okutegeera nti walwala oli ku kitanda, yalabira ku kafaananyi mugandawo keyateeka ku Facebook era nakusindikira “bambi ng’olabye.”
Ku mukutu gwe ogwa facebook ajjuzizako bifaananyi bya mulenzi we omupya. Bali bemulisa banange! Babo ku kalwere, babali ku KK beach e Gaba, babali ku Shoprite e lugogo balya Ice cream, n’ebirala bingi nga byonna obirabira ku mukutu gwe ogwa facebook. “Kenny musajja mulungi, yangulidde ekimuli.” byebibeera mu bubaka bwatimba.
Naye ekirungi nti yetimba ku sosomediya, oba olyawo wandirowoozeza nti yafa. Omusajja yamusensera nakwerabirira ddala. Takyalina kyakwetaaza okuvva lweyasisinkana Kenny.
Obwo mbuyita bunafu. Si bunafu nti tasobola kusitula kaddomola ka bikopo ebisatu naye, okuleka omusajja namukyusa buli kimu okutuuka okwerabira abamubererawo nga tanafuna musajja oyo, kika kya bunafu nakyo kiri awo.
Omuwala ow’omulembe takyaawa mukwano gwe kubanga afunye omulenzi omupya. Omuwala ow’omulembe teyerabira mazalibwa ga mukwano gwe kubanga yafuna omulenzi. Omuwala ow’omulembe tasindikira mukwano gwe “ng’olabye bambi” ku facebook mbu kubanga takyalina budde okuvva lweyafuna omulenzi.
Omuwala ow’omulembe teyerabira kyaali wadde afunye omulenzi omusufu.
Omuwala ow’omulembe abeera amanyi ki kyali, era nga kyaali tekisinzira ku musajja gwayagala. Abeera akimanyi bulungi nti mu bulamu osobola okwagala omuntu wadde nga temwagala bifaanagana. Mu butuufu omuwala ow’omulembe takiriza nkolagana gyalina n’omulenzi we ate okumwawukanya ne mukwano gwe bwebaludde. Abeera amanyi bwabakwasaganya.
Abawala abakiriza abalenzi okubasensera mu ngeri eberabiza buli kimu eky’emabega, bebo abakola buli kimu okusobola okufaanagana n’abalenzi bebagala. Omulenzi ayagala firimu za kikomando, olwo naye ng’avva ku firimu z’obwongo zeyanyumirwanga. Omulenzi anyumirwa nnyo okunywa amalwa ng’ali bwaise eri mu kimombasa, nga n’omuwala mbu naye kati bimunyumira.
Omuwala ow’omulembe takyuusa byagala kubanga ayagala kwenkana n’okufaanana omulenzi gwayagala. Abawala ab’omulembe babeerako bokka. Kinyuma okubeera n’omuntu gwoyagala, naye si buli kadde nti talina kukuvva ku lusegere.
Abawala abamu tebagala kuvva wali ba Adam baabwe, olwo neberabira abantu abalala okuli n’emikwano gyebalina okuvva wansi ddala.
Omuwala ow’omulembe teyesiba ku mulenzi gwayagala buli kadde. Olumu amwegobako okusobola okutondawo omwaganya buli omu nafuna akadde akake ng’omuntu. Si buli kiro nti agenda ku kimala mu muzigo gw’omulenzi gwayagala, wakiri okutuusa nga batandise okubeera bonna mu butongole.
Omuwala ow’omulembe agenda nakyakalako ng’ali n’emikwano gye, si buli mukolo nti alina okubeerako n’omulenzi we. Olw’okuba nti abeera amanyi kyayagala, kyovva olaba nga teyerabira mikwano gye; olumu agenda nabo nebanyumirwa nga bwegwalinga. Tayagala bya kwemulisa buli wantu nga bwalina omulenzi ow’akabi.
Okugenda okukyakalako n’omulenzi we kinyuma era kyakabi. Naye bwebamala akaseera nga teberabyeko, lwebasisinkanye kibeera kipya. Kibawa akadde okunyumya buli omu byalabye mu kaseera webatabadde bombi.
Omuwala ow’omulembe ayagala musajja wa mulembe.
Nga nekisinga mu byonna, omuwala ow’omulembe ayagala musajja wa mulembe. Omusajja atagenda kufuna bbuba kubanga omuwala gwayagala ayambadde akateteeyi akalungi ng’alina walaga. Omusajja atagenda kutandika kulowooza bingi kubanga omuwala gweyalina yayendera ku beach bweyaliyo n’emikwano gye. Amwesiga era amukiririzaamu nti wa mulembe. Tamusuubira kumala gakyuka awagire Manchester United kubanga ayagala ku musanyusa. Era omusajja oyo abeera amanyi bulungi nti omuwala gwayagala tagenda kweyisako ng’ayagala ebyo byatayagala ku lulwe.
Naye, era kisoboka omuntu nayiga okwagala ekintu kyeyali tayagala ku lw’omuntu omulala. Nkirinako obukakafu.
Omusajja ow’omulembe anyumirwa nnyo okuwagira omuwala gwayagala atukirize ebirooto bye. Tagezako ku mukyuusa kuvva kw’ebyo byayagala okutukiriza. Era tamukyuusa kuvva ku mikwano gye kubanga ayagala kumufuga nga muddu we atavva waka. Omusajja ow’omulembe ate nga mulungi eri omwala gwayagala, tamukyayisa mikwano gye.
Mpoozi era, kyangu omuwala oyo okusuulawo omusajja gwabadde ayagala singa akizuula nti omusajja oyo si wamulembe; ng’ayagala kumutambuliza ku ntoli ze, awali n’okumusuuza mikwano gye.
Bino byonna bizingirwa mu kintu kimu: Omuwala ow’omulembe amanyi kyayagala mu bulamu. Asobola bulungi okukwasaganya omulenzi we, ate nasigaza mikwano gye awatali kugyeyawulako. Ayagala nnyo musajja we naye ekyo tekimujjako ddembe lyakusigala ng’akiririza mu byabadde ayagala nga tebanasisinkana.

1 Comment
Ok