Omuwala.

Omuwala yalaba omusajja ku Facebook.
Yakebera ebifaananyi bye okusobola okumanya ebimukwatako, era nakizuula nti musajja wa mulembe ddala avvuga Range Rovers Sport 2016.
Yamusindikira obubaka ng’amusaba babeere ba mukwano. Omusajja yakiriza era naye namusindikira obubaka nga’amubuuzako.
Omuwala yasanyuka nnyo era neyegomba nti lumu singa basisinkana awantu.
Katonda w’abanaku teyebaka, omusajja yamusaba basisinkanemu basobole okunyumya ebisingawo.
Omuwala yayambala legging omutali kawale ka munda. Yekuba akawoowo ak’omulembe, nga yezigudde ebisanyusa amaaso.
Omusajja yamutwala ku Serena Hotel ne bafuna eky’emisana. Baalya buli kirungi era banywa buli kyebaali betaaze.
Baafuna akaseera akasufu. Omusajja namuweweeta mu nviiri, namutunula mu maaso nga bwamweenyereketa ebinyuma.
Omuwala yagwa mu mukwao n’omusajja ng’era omusiru bwakola.
Alinga gweyali amanyiridde ebbanga nga buli kimu kimukyamukiriza.
Omusajja yamutwala ewuwe mu bwaguuga bw’enyumba nga yonna ejjudde amatiribona.
Omusajja yamuleetera okuwulira ng’ali mu gulu bweyamusaba agalamire ku buliri ng’eno bwamunywegera.
Yanyumirwa byonna ebyamukolebwa wadde nga yali akimanyi nti kyaali kikyamu okumala gesiga omusajja gwatamanyi buvvo n’obuddo.
Yamusaba bakozese obupiira, omusajja yamugamba nti kikerezi kuba tabulinawo.
Omuwala yakiriza awatali kulowooza ku bulamu bwe.
Omusajja yamutegeeza nga bwamwagala okukamala, era n’omuwala natakirumamu nga bwamwagala ennyo.
Oluvvanyuma nga bamaze okukola byebakola, omusajja yagenda mu fumbiro namufunirayo egilaasi y’amazzi.
Yamuyambako okunywa amazzi, omuwala nawulira nga wanjawulo nnyo.
“Yandiba nga y’ono mukama gweyantegekera.” Omuwala nga bwalowooza.
Omuwala yayambala engoye ze era omusajja namutwala mu motoka okutuuka awasangibwa Taxi.
Omusajja yamunywegera ku tama namugamba “nfunye akadde akalungi.”
Yamubalira omuddiddi gw’ensimbi nagumuwa, omuwala yasanyuka nagamba “mu bwangu ddala tujja kulabagana.”
Omusajja teyaddamu. Taxi yasimbula omuwala nagenda.
Ng’omuwala ali mu Taxi, akamwenyumwenyu nga kamubugaanye ku matama nga jjukira omusajja bwebabadde.
Omuwala yatuuka ewaka nasindikira omusajja obubaka nti atuuse, naye omusajja teyamuddamu.
Omuwala yalowooza nti oba teyabulaba, nasindika obulala nabwo teyabuddamu.
Enaku ezaddirira, omuwala yagenda okulaba ng’omusajja takyaali mu mikwano gye ku facebook, n’essimu y’omusajja nga teyitamu.
Ebiseera byatambula. Omuwala yatandika okusubwa buli kimu ekyaliwo wakati waabwe.
Okumusubwa kyaali kitono ku kyeyali ayolekedde.
Yatandika obutewulira bulungi; nga munafu mu mubiri, akozze aggwaawo, tayagala kulya, ate ng’alina n’amabwa mu kamwa.
Yagenda mu ddwaliro era nebamukebera.
Eddakiika ezadako, omusawo yajja nakamutema nga bweyailna akawuka ka sirimu.
“Ate batya musawo?” Nga tategeera musawo byamugambye.
Byamusobera era yatya nnyo ng’alaba ensi emufundiridde.
Yatula wansi ku taka ng’esuubi limuweddemu.
Yatunula ku gulu mu bire n’asaba essaala ez’akaama.
Yekungaanya natambula paka waka, nafuna omuguwa gw’embuzi neyetugira mu mutuba.
Eyo yeyali enkomerero ye.
Muwala gwe oba mukazi gwe asomye ebyo wagulu, tobeera ng’omuwala oyo eyalaba omusajja ku facebook nagwa mu mukwano naye ogw’ekisiru.
Bulijjo fuganga okuyayaana kw’omubiri gwo. Lekera awo okwagala eby’amangu, Olina emikono ebiri nga n’oyo omusajja gwewegomba ku facebook, mu kubo oba ku TV… Kozesa emikono gyo otuuke ku byewegomba.
Beera omuwala gwewandyagadde okuba muwala wo.

2 Comments
Eeh.
Anti bwebagala eby’enfuna eby’amangu.
Wabula mwana gwe
Twongere nebirala