• July 4, 2025

Omwagalwa wo gwewaleka e Uganda nogenda ku kyeeyo, tomubalirako nnyo!

 Omwagalwa wo gwewaleka e Uganda nogenda ku kyeeyo, tomubalirako nnyo!

Lwaki? Mboozi ya musomi waffe.

“Nali manyi e waka nalekayo munnange, naye ndabika nalowooza bukyamu”

Admin gyebaleko, nkusaba okweke enfaanana yange n’amanya gange. Nalina munnange bwetwali twagalana, nga tukolagana wakati mu mukwano ogutagambika. Era nga abasomi bo abazze bakuwandiikira, naffe(Nze ne munnange) tubadde ssi bubi okutuuka lweyakantemye juuzi nti ali mu mukwano ne mukwano gwange.

Byatandika bwebiti, nga nkyaali e Uganda, nalaba ng’omulimu gwenkola tegugenda kutusobozesa kumala byetaago byaffe. Awo nze kwekufuna ekirowoozo era nenkiyitiramu munnange nti lwaki sigenda ku kyeeyo nenkola ssente ezitegerekeka, oba oli awo tunatandikira awo netupanga ekiddako.

Ekirowoozo kyenaleeta kwalinga kusereza ligenda mugga, kuba olwakimugamba, yantegeeza nga bweyali yayagala dda okukingamba naye nga talina bwakyanjuluza mu maaso gange. Yasanyuka nnyo era nange nasanyuka olwokussa ekimu ng’enkuyege nze ne munnange.

Ekyaddirira kwaali kunoonya wa wetutandikira, era teyali mubi nantegeeza nga bwalina muganda we ng’alina kampuni emu mwakola ng’etwala abantu e bulaaya okukuba e kyeeyo. Twakanya era netusalawo okutuukirira muganda we atubulire wa wetulina okutandikira.

Ebbanga teryali ddene, olugendo lwange lwali lutuuse. Nga bwomanyi nti enaku zino ebintu byanguwa nnyo singa oba olina omumanye mu kitongole kyonna ng’obadde wetaagamu obuyambi, nange eby’okugenda ku kyeeyo byanyanguyira olw’okubeera ne mulamu wange eyali akola mu kampui etwala abantu ku kyeeyo.

Olunaku lwenyini olw’okulinnya ennyonyi nga lutuuse, munnange yamperekera okutuuka ku kampuni wetwali tugenda okusinziira tusimbule nze n’abakozi abalala abaali bagenda ku kyeeyo. Nga tuli mu lugendo okugenda ku kampuni, munnange namutegeeza nga bwenali mwagala ennyo, era nga sirikola kintu kyonna kumenya mukwano gwaffe. Naye yansuubiza okunkuumira omukwano okutuusa lwendidda.

Nga tutuuse ku kampuni, namuyita erinnya lye, era nemugwa mu kifuba nga musaba obuterabira birubirirwa byaffe wakati mu mukwano. Ylinnya emotoka okudda e waka era naffe oluvvanyuma twasimbula okwolekera ekisaawe ky’enyonyi. Nze nagenda ndi musanyufu nnyo olw’obwesigwa bwenali ndabye mu maaso ga munnange, era nga ndi mukakafu nti alininda okutuusa lwendidda.

Ekyeeyo kyagenda bulungi era endagaano yange nagimalako mirembe nga sitataganyiziddwa mu mbeera ya bulamu. Munnange twaali tuwuliziganya kumpi buli lunaku, anti sosomediya obimanyi nawe. Bwenatuula nembalabalamu ku ssente zenali nsobodde okukunganya, nakiraba nti zaali tezitumala kukola byetwateesa okukola ne ne munnange. Nasalawo okuzza endagano yange obugya anti omukisa gwaliwo. Kino nakikola simaze kwebuuza ku munnange, naye nali manyi nti asobola okutegeera ebigendererwa by’okuzza endagaano obugya.

Olwegulo nga tunyumya namutegeeza nga bwenali nzizizza endagaano obugya nga ndi wakumalayo emyaka ebiri emirala. Munnange mu kunziramu yakantema nga bweyali takirinako buzibu, anti mbu yali agudde mu mukwano ne mukwano gwange Paul, era nga baali mu ntegeka za kwanjula. Kino kyankuba wala, naye nensooka okulowooza nti kirabika munnange asaaga, ekyanzigya enviiri ku mutwe by’ebigambo byeyayongereza ku mboozi, “wamma sigalira ddala eyo anti emirimu gyakuwasa, nze ne Paul gutusaza mu kabu.”

Banange natya ensi! Nenewuunya ekitonde ekikazi ku nsi. Ffe abaalina omukwano omulungi, abanyumyanga kumpi buli lunaku nga nekisinga obukulu twekubiriza obutakemwa! Iyiii, yandibadde mulala nga ssi mukwano gwange Paul! Kumbe twanyumyanga ankeneka bukenesi, oba oli awo n’olumu yalinga mu kifuba kya Paul nga nze ndi eno munyumiza entula obugenyi! Mpulira ng’abakazi bantamye bubi nnyo.

Bwoleka omukazi e Uganda nogenda ku kyeeyo, oyo manya nti okumusaanga n’obutamusaanga, ssi nakindi nga bamutwala dda nga gwe atanaba kukimanya.

Eyo y’emboozi y’omusomi waffe omu, eyamenyese omutima oluvanyuma lwa mukyala we okuganza mukwano gwe, nga ye ali ku kyeeyo ategana ku lw’ebiseera byomumaaso ebitangaavu.

Ekibuuzo:

Ddala kituufu nti omwagalwa wo gwewaleka e waka nogenda ku kyeeyo tolina kumubalirako nnyo?

Kozesa akabangirizi (comment section) tugabane ku ndowooza yo.

Webale nnyo!

Digiqole ad

Makanga Abubakar

https://gpraxy.com

Related post

2 Comments

  • Kituufu tolina kumubalirako nnyo….. abantu bakyuuka buli kadde
    Olaba omukazi oba omusajja bamutwaala osula naye munyumba……! Teebereza gwewaleka emabega emyaka emingi nogenda otobe ne duniya
    Bwosalawo okugobelera ebirooto byo, totunula mabega otala afiya ekijja kijje kubanga…..Oyo bwabeera owuwo akulinda, naye atali wuwo era bamutwaala nebwoba wooli mumaka…….nze Nina endowooza egamba nti buli ekibaawo kibeera nensonga…..! Ate era kibeera Kya kuyiga mu bulamu bwaffe🤗🤗

  • Hello to every single one, it’s actually a nice for me to visit this website, it
    contains valuable Information.

Leave a Reply to Makula Mariam Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *